1Agulipa nʼagamba Pawulo nti, “Okkirizibbwa okuwoza ensonga zo.” Awo Pawulo nʼagolola omukono gwe, nʼawoza nti,
2“Kabaka Agulipa, nnina omukisa okuwoleza mu maaso go leero, nga nnyanukula byonna Abayudaaya bye banvunaana,
3kubanga mmanyi ngʼempisa zʼEkiyudaaya, zonna ozitegeera bulungi. Kyenva nkusaba ompulirize nʼobugumiikiriza.
4“Nayigirizibwa nʼobwegendereza mu mpisa zʼEkiyudaaya okuviira ddala mu buto bwange mu kibuga kyʼewaffe e Taluso ne mu Yerusaalemi, era ne ntambulira mu mpisa ezo obulamu bwange bwonna. Ebyo byonna Abayudaaya bonna babimanyi bulungi.
5Era bammanyidde ebbanga ddene nnyo, singa babadde baagala bandinjulidde, nga ndi munnakibiina ekyʼAbafalisaayo, ekyʼomu ddiini yaffe ekisingira ddala okunonooza mu buli nsonga eyʼEkiyudaaya.
6Kaakano nnyimiridde nga nvunaanibwa, kubanga nnina essuubi mu ebyo Katonda bye yasuubiza bajjajjaffe,
7ebika byaffe ekkumi nʼebibiri bye basuubira okutuukako nga banyiikira okusinza emisana nʼekiro; era olwʼessuubi eryo, ayi kabaka, Abayudaaya kyebavudde banvunaana.
8Kiki ekibalowoozesa nti Tekiyinzika Katonda okuzuukiza abafu?
9“Nze ku lwange nalowooza nti Kiŋŋwanidde okuyigganya erinnya lya Yesu Omunnazaaleesi, nʼobukambwe bungi.
10Bwe ntyo ne mbikola ne mu Yerusaalemi era ne nsiba abatuukirivu bangi mu makomera, era ne mpeebwa nʼobuyinza okuva eri bakabona abakulu; abatukuvu ne bwe battibwanga, nga nkiwagira.
11Ne mu makuŋŋaaniro gonna wonna ne mbasindiikirizanga nga mbawalirizanga okuvvoola, ne mbasunguwaliranga nnyo, ne mbayigganyanga okutuuka ne mu bibuga ebyʼewala.
12“Awo bwe nnali nga ndaga e Damasiko, nga ndagiddwa era nga mpeereddwa obuyinza okuva eri bakabona abakulu,
13nga ndi mu kkubo mu ttuntu, ayi Kabaka, ne ndaba ekitangaala ekyaka okusinga ekyʼenjuba, ne kinjakira ne bannange be nnali ntambula nabo.
14Ffenna bwe twagwa wansi, ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba mu Lwebbulaniya nti,
15Ne mbuuza nti, ‘Ggwe ani Mukama wange?’ Mukama waffe nʼaddamu nti,
16
17
18
19“Bwe ntyo, Ayi Kabaka Agulipa, ne sinyooma kwolesebwa okwo okwava mu ggulu,
20naye ne nsookera ku bʼomu Damasiko, ne nzizaako abʼomu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna, nʼeri Abaamawanga, nga mbategeeza beenenye bakyukire Katonda, era bakolenga ebikolwa ebyʼokwenenya ebisaanira.
21Eyo yʼensonga Abayudaaya kyebaava bankwata nga ndi mu Yeekaalu ne bagezaako nʼokunzita.
22Katonda kyavudde ankuuma okutuusa leero ndyoke nyimirire nga ndi mujulirwa eri abʼekitiibwa era nʼaba bulijjo, nga sirina kirala kye njogera, wabula ebyo bannabbi ne Musa bye baategeeza nga bigenda okujja
23nti Kristo kimugwanira okubonaabona, era abeere omubereberye mu kuzuukira kwʼabafu, alyoke aleetere abantu bano nʼAbamawanga omusana.”
24Awo Pawulo bwe yali akyawoza Fesuto nʼaleekaana mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Pawulo, olaluse! Okusoma ennyo kukusudde eddalu!”
25Pawulo nʼaddamu nti, “Siraluse, Oweekitiibwa Fesuto. Ebigambo bye njogera bya nsonga era bya mazima.
26Era ebintu bino Kabaka Agulipa abitegeera, noolwekyo nnyinza okubimubuulira nga seekomoma. Era nkakasa nga tewali na kimu ku bintu bino kyʼataamanya, kubanga tebyakolerwa mu nkiso!
27Kabaka Agulipa, bannabbi obakkiriza? Mmanyi ngʼobakkiriza.”
28Agulipa nʼagamba Pawulo nti, “Onsendasenda nfuuke Omukristaayo mu kaseera kano akatono bwe kati?”
29Pawulo nʼaddamu nti, “Nsaba Katonda, mu kaseera katono oba mu kiseera kinene, ggwe ne bonna abampuliriza kaakano, bafuuke nga nze, okuggyako enjegere zino ezinsibiddwa.”
30Awo Kabaka, ne gavana ne Berenike, nʼabalala bwe baali batudde, ne basituka ne bafuluma.
31Bwe badda ebbali ne bakkiriziganya ne bagamba nti, “Omusajja ono talina kyʼakoze kimusaanyiza kuttibwa wadde okusibwa mu njegere.”
32Agulipa kwe kugamba Fesuto nti, “Omusajja ono yanditeereddwa singa teyajulira wa Kayisaali.”