Ebikolwa by'Abatume 27:1-44 LGCB2014 - Bible AI

1Awo bwe kyasalibwawo tusaabale ku nnyanja tugende mu Italiya, Pawulo nʼabasibe abalala ne bakwasibwa omuserikale omukulu wʼekitongole kyʼabaserikale ekikumi, erinnya lye Yuliyo, eyali owʼomu kibinja kya Kayisaali Agusito.

2Ekyombo ekyʼe Adulamutiyo ekyali kinaatera okuseeyeya ku lubalama lwa Asiya; ne tusitula nga ne Alisutaluuko Omumakedoni owʼe Sessaloniika ali naffe.

3Ku lunaku olwaddirira ne tugoba ku mwalo gwʼe Sidoni, Yuliyo nʼakolera Pawulo ekyʼekisa nʼamukkiriza nʼagenda ku lukalu eri mikwano gye ne bamusembeza.

4Bwe twasitula, empewo nʼetufuluma mu maaso, ne tusaabala ne tuyita ku mabbali ga Kupulo.

5Bwe twamala okuva mu nnyanja wakati ne tuyita ku lubalama lwa Kirukiya ne Panfuliya, ne tugoba ku mwalo Mula ogwʼe Lukiya.

6Eyo omukulu wʼekitongole nʼalabawo ekyombo ekyali kiva mu Alegezanderiya nga kiraga mu Italiya, nʼatusaabaza omwo.

7Twamala ennaku nnyingi ngʼennyanja yeefuukudde, nga tugenda mpola, ne tusemberera olubalama lwʼe Kunido mu buzibu bungi naye ne tuteeyongerayo mu maaso ngʼomuyaga gutuyitiridde, ne tusala ne tugenda ku luuyi olumu olwa Kuleete nga tuva ku mwalo gwa Salumone.

8Ne tusaabala mu buzibu bungi ne tuyita ku lubalama okumpi nʼekifo ekiyitibwa Emyalo Emirungi ekiriraanye ekibuga Laseya.

9Bwe waayitawo ebbanga ddene, nʼobudde nga butandise okwonoonekera ddala, era nga kyakabi okwolekera olugendo, ate era nga nʼekisiibo kyayita dda, Pawulo nʼabawa amagezi,

10ngʼagamba nti, “Bassebo, ndaba nti olugendo lujja kubeeramu emitawaana nʼokufiirwa kungi, si kwa bintu byokka nʼekyombo, naye nʼobulamu bwaffe.”

11Naye omukulu wʼekitongole nʼawalirizibwa okugondera amagezi gʼomugoba wʼekyombo ne nannyini kyo okusinga Pawulo bye yayogera.

12Olwʼokubanga omwalo tegwali mulungi okwewogomamu mu kiseera kyʼobutiti, abasinga obungi kyebaava basemba ekyʼokweyongerayo, nga basuubira nti obanga kisoboka tutuuke e Foyiniiki, we baba bamala ekiseera ekyʼobutiti ku mwalo gwa Kuleete ogwali gutunuulidde obukiikaddyo nʼebugwanjuba, nʼobukiikakkono nʼebugwanjuba.

13Mu kiseera ekyo empewo nʼefuluma mu bukiikaddyo nga nzikakkamu, ne balowooza nti kye baali bagenderera bakifunye ne basikayo ennanga ne bagendera kumpi nʼolukalu lwa Kuleete.

14Naye waali tewannayita bbanga ddene, omuyaga ogwʼamaanyi ennyo oguyitibwa Ewulakulo, ne gukunta nʼamaanyi mangi nnyo.

15Ne gufuuwa ekyombo ne kiva mu kkubo lyakyo, ne kitayinza kwolekera muyaga, ne tuguleka ne gututwala nga bwe gwayagala.

16Oluvannyuma ne tuyita ku mabbali gʼakazinga akayitibwa Kawuda, mu kutegana,

17 ne tukwata akaato akeeyambisibwa mu kabenje, ne bakasibira okwo nʼemiguwa okwetooloola ekyombo, ne bakanyweza. Olwʼokutya nti Ekyombo kiyinza okuwagamira mu musenyu gwa Suluti, kyebaava bassa ettanga eddene ne baleka ekyombo ne kitwalibwa omuyaga.

18Olunaku olwaddirira omuyaga ne gweyongera amaanyi, abalunnyanja ne batandika okusuula mu nnyanja ebintu ebyali mu kyombo.

19Ne ku lunaku olwokusatu ne bakwata ebintu ebikola ku kyombo ne babisuula mu nnyanja.

20Ne tumala ennaku nnyingi nga tetulabye ku njuba wadde emunyeenye, gwo omuyaga nga gutuzunza nʼamaanyi gaagwo gonna; olwo essuubi lyaffe lyonna eryʼokuwona ne lituggweeramu ddala.

21Bwe baamala ebbanga nga nʼokulya tebaagala kulya, Pawulo nʼalyoka ayimirira wakati mu bo, nʼabagamba nti, “Abasajja kyabagwanira okumpuliriza obutava Kuleete, kubanga temwandifiiriddwa byammwe bwe muti awamu nʼokulumizibwa!

22Naye kaakano mugume omwoyo! Kubanga tewali nʼomu ajja kufa, wabula ekyombo kyokka kye kijja okuzikirira.

23Kubanga ekiro ekyayise, malayika wa Katonda wange gwe mpeereza, yayimiridde we ndi,

24nʼaŋŋamba nti, ‘Totya, Pawulo, kubanga kikugwanira okuyimirira mu maaso ga Kayisaali owozesebwe, era laba, Katonda akuwadde obuvunaanyizibwa ku abo bonna bʼoli nabo mu kyombo.’

25Noolwekyo mugume omwoyo! Kubanga nzikiriza Katonda nga mu ngeri yonna kijja kuba nga bwe kyaŋŋambiddwa.

26Naye kitugwanidde okusuulibwa ku kizinga.”

27Mu kiro ekyʼekkumi nʼebina embuyaga bwe yali etuwuuba eno nʼeri mu Nnyanja Aduliya, mu ttumbi abalunnyanja ne bateebereza nti Olukalu luli kumpi.

28Ne bapima ne balaba ngʼobuwanvu bwʼamazzi okukka wansi buli mita amakumi asatu mu musanvu. Bwe waayitawo akabanga ate ne bapima ne basanga nga mita amakumi abiri mu musanvu.

29Bwe baatya okutomera enjazi ku lubalama ne basuula ennanga nnya emabega, ne basabirira obudde okukya.

30Abamu ku balunnyanja ne bateesa okwabulira ekyombo ne bassa akaato akeyambisibwa mu kabenje, nga beefuula ngʼabagenda okusuula ennanga mu maaso gʼekyombo.

31Naye Pawulo nʼagamba omukulu wʼekitongole nʼabaserikale be nti, “Mwenna temujja kuwona okuggyako ngʼabasajja bano basigala ku kyombo.”

32Awo abaserikale ne basala emiguwa egyali gikutte akato, ne bakaleka ne kagwayo.

33Awo obudde bwali bunaatera okukya, Pawulo ne yeegayirira buli muntu alye ku mmere, ngʼabagamba nti, “Leero lunaku lwa kkumi na nnya nga mulindirira nga temulidde, ate era mukyeyongera obutalya.

34Noolwekyo mubeeko ke mulya, kubanga ekyo kye kijja okubalokola so tewaabe nʼomu ku mmwe anaavibwako luviiri lwe ku mutwe gwe.”

35Awo Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, nʼaddira omugaati, ne yeebaza Katonda mu maaso gaabwe bonna, nʼamenya omugaati nʼalya.

36Amangwago buli omu nʼatandika okulya ku mmere.

37Abaali ku kyombo bonna awamu baali ebikumi bibiri mu nsanvu mu mukaaga.

38Bonna bwe baamala okulya nga bakkuse, ne basuula eŋŋaano mu nnyanja okwongera okuwewula ku kyombo.

39Awo obudde bwe bwakya ne batalaba lukalu naye ne balengera ekikono kyʼennyanja nga kirina ekibangirizi ekyʼomusenyu ku lubalama, ne baagala bagobye okwo ekyombo.

40Ne bakutula amasika, ne bagaleka mu nnyanja, ne basumulula emiguwa egikwata enkasi ne bawanika ettanga eryʼomu maaso gʼekyombo empewo eryoke ekitwale mu maaso, ne balyoka boolekera olukalu.

41Naye ekyombo ne kyeggunda mu musenyu engezi ebbiri we zaali zisisinkana, ekitundu ekyʼomu maaso ne kiwagamira mu musenyu nga tekinyeenya, ekyʼemabega ne kisigala wabweru waggulu, ngʼamayengo agʼamaanyi gakikuba, era ne kitandika okumenyekamenyeka.

42Abaserikale ne bateesa batte abasibe bonna, si kulwa nga bawuga ne batuuka ku lukalu ne babomba.

43Naye olwokubanga Yuliyo yayagala okuwonya Pawulo, amagezi ago nʼagagaana. Awo nʼalagira buli muntu asobola okuwuga awuge alage ku lukalu,

44nʼabo abatasobola kuwuga bagezeeko okweyambisa ebitundutundu byʼembaawo ebyali bimenyese ku kyombo. Awo buli muntu nʼatuuka bulungi ku lukalu nga taliiko kamogo.

article>