Ebikolwa by'Abatume 28:1-31 LGCB2014 - Bible AI

1Awo bwe twamala okutuuka obulungi ku lukalu ne tulyoka tutegeera nti Tuli ku kizinga Merita.

2Bannansi bʼoku kizinga baatulaga ekisa kingi ekitali kya bulijjo, ne bakuma omuliro ne twota, kubanga obudde bwali bwa butiti nga nʼenkuba etandise okutonnya.

3Pawulo yali akuŋŋaanyizza akaganda kʼobuku, naye yali akassa ku muliro, omusota ogwʼobutwa ennyo ne guva mu buku obwo ne gweripa ku mukono gwe.

4Bwe baalaba ekintu ekireebeeta ku mukono gwa Pawulo ne bagambagana nti, “Ddala oyo mutemu. Newaakubadde ngʼennyanja yagiwonye, naye era omusango gukyamulondoola teguumuganye kulama!”

5Naye Pawulo omusota nʼagukunkumulira mu muliro nʼatabaako kabi konna.

6Abantu ne balindirira balabe bwʼatandika okuzimba oba okugwa eri afiirewo, naye bwe baalindiririra ebbanga eddene nga tebamulabako kamogo, ne baddamu okwerowooza, ne bagamba nti, “Oyo katonda!”

7Waaliwo ennimiro okuliraana nʼolubalama lwʼennyanja we twali, nga ya Pabuliyo eyali omukulu wʼekizinga ekyo. Awo nʼatwaniriza mu maka ge nʼatusembeza nʼatulabirira okumala ennaku ssatu.

8Mu kiseera ekyo kitaawe yali mulwadde omusujja ngʼalimu ekiddukano kyʼomusaayi. Pawulo nʼagenda gyʼali nʼamusabira, nʼamussaako emikono nʼamuwonya!

9Ekyo bwe kyabaawo, nʼabalwadde abalala bonna ku kizinga abaalina endwadde ne bajja gyʼali ne bawonyezebwa.

10Ne batuwa ebirabo bingi, era ekiseera kyaffe ekyʼokusaabala ku nnyanja bwe kyatuuka, ne batuleetera ebintu bingi ku kyombo bye twali twetaaga okukozesa mu lugendo lwaffe.

11Oluvannyuma lwʼemyezi esatu ne tulyoka tusitula. Twagendera mu kyombo ekyʼe Alegezanderiya ekiyitibwa Abooluganda Abalongo. Kyali kyewogomye awo ku kizinga okumala obudde bwonna olwʼobutiti.

12Ne tusooka okugoba mu Sirakusi, ne tumalawo ennaku ssatu.

13Bwe twava awo ne twetooloola ne tutuuka e Regio. Oluvannyuma lwʼolunaku lumu ne tujjirwa empewo eva obukiikaddyo bwa bugwanjuba, olunaku olwaddirira ne tutuuka e Putiyooli.

14Wano twasangawo abooluganda, ne batusaba tubeere nabo ennaku musanvu. Bwe twava awo ne tutuuka e Ruumi.

15Abooluganda abaali eyo bwe baawulira ebyatutuukako, ne bajja okutusisinkana mu Katale ka Apiya ne ku Bisulo Ebisatu. Pawulo bwe yabalaba ne yeebaza Katonda era nʼaguma omwoyo.

16Bwe twatuuka mu Ruumi Pawulo nʼakkirizibwa okubeera yekka, kyokka ngʼabeera nʼomuserikale amukuuma.

17Awo nga wayiseewo ennaku ssatu, Pawulo nʼayita abakulembeze bʼAbayudaaya. Bwe baakuŋŋaana nʼayogera nabo nti, “Abasajja baganda bange, Abayudaaya bankwatira bwereere mu Yerusaalemi, ne bampaayo mu Baruumi, so nga sirina kyʼensobezza ku bantu, wadde ku mpisa zʼabajjajjaffe wadde obulombolombo.

18Abaruumi ne bampozesa, era ne baagala okunta, kubanga tebaalabawo musango gwe nzizizza gunsaanyiza kufa.

19Naye Abayudaaya bwe baagaana okukkiriza ensala eyo, ne mpalirizibwa okujulira ewa Kayisaali, newaakubadde nga saaliko kye mpawaabira bantu ba ggwanga lyange.

20Noolwekyo mbayise wano tumanyagane era twogeraganye. Olwʼessuubi lya Isirayiri, kyenvudde nsibibwa nʼolujegere luno.”

21Ne bamuddamu nti, “Tetufunanga ku bbaluwa ziva mu Buyudaaya nga zikwogerako, wadde baganda baffe okubaako bye batutegeeza ku ggwe nga bibi.

22Kyokka twagala okuwulira ebirowoozo byo ku kibiina ekyo, kubanga tumanyi nti Buli wamu teriiyo gwʼowulira ngʼakyogerako bulungi.”

23Awo ne bategeka olunaku, era ku olwo abantu ne bajja bangi, mu kifo we yasulanga. Nʼabannyonnyola ngʼajulira obwakabaka bwa Katonda, nʼabategeeza ku Yesu, nga byonna abyesigamya ku mateeka ga Musa ne ku bannabbi. Yatandika ku nkya nʼamala akawungeezi.

24Abamu ne bakkiriza bye yayogera, naye abalala ne batakkiriza.

25Awo nga balemeddwa okukkiriziganya, Pawulo nʼabasiibuza ebigambo bino nti, “Mwoyo Mutukuvu yali mutuufu bwe yayogera eri bajjajjammwe ngʼayita mu nnabbi Isaaya nti,

26‘Genda eri abantu bano obagambe nti, Okuwulira muliwulira, naye temulitegeera nʼokulaba muliraba naye temulyetegereza.

27 Kubanga omutima gwʼabantu bano gugubye. Nʼamatu gaabwe gazibikidde, nʼamaaso gaabwe gazibiridde. Si kulwa nga balaba nʼamaaso gaabwe, ne bawulira nʼamatu gaabwe, ne bategeera nʼemitima gyabwe, ne bakyuka okudda gye ndi, ne mbawonya.’

28“Noolwekyo mumanye nti Obulokozi obuva eri Katonda buweereddwa Abaamawanga era bajja kubuwuliriza.”

29Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, Abayudaaya ne bagenda nga bawakana nnyo bokka na bokka.

30Awo Pawulo nʼamala emyaka ebiri miramba ngʼasula mu nnyumba ye gye yeepangisiza, era nʼayanirizanga buli eyajjanga okumulaba.

31Nʼabuuliranga obwakabaka bwa Katonda, era nʼayigirizanga ebigambo bya Mukama waffe Yesu Kristo mu lwatu nga tewali amuziyiza.

article>