1Awo Peetero ne Yokaana bwe baali bagenda mu Yeekaalu mu kusaba okwʼessaawa omwenda,
2ne wabaawo omusajja eyazaalibwa nga mulema gwe baasitulanga ne bateekanga bulijjo ku mulyango gwa Yeekaalu oguyitibwa Omulyango Omulungi, okusabiriza.
3Awo bwe yalaba Peetero ne Yokaana nga bagenda okuyingira mu yeekaalu nʼabasaba ensimbi.
4Ne bamwekaliriza amaaso, Peetero nʼalyoka amugamba nti, “Tutunuulire!”
5Nʼabatunuulira ngʼasuubira okuweebwayo akantu.
6Naye Peetero nʼagamba nti, “Effeeza ne zaabu sibirina, naye ka nkuwe ekyo kye nnina. Mu linnya lya Yesu Omunnazaaleesi Golokoka, otambule!”
7Awo Peetero nʼakwata omulema ku mukono ogwa ddyo nʼamuyimusa, amangwago ebigere byʼomusajja nʼobukongovvule ne bifuna amaanyi,
8nʼabuuka nʼayimirira nʼatandika okutambula! Nʼayingira nabo mu Yeekaalu ngʼatambula era nga bwʼabuuka ngʼatendereza Katonda.
9Abantu bonna ne baamulaba ngʼatambula, era ngʼatendereza Katonda,
10ne bamutegeera nga ye wuuyo eyatuulanga ku mulyango gwa Yeekaalu oguyitibwa Omulyango Omulungi ngʼasabiriza, ne bawuniikirira era ne beewuunya nnyo olwʼekyo ekimutuuseeko.
11Awo omusajja eyali omulema bwe yali ngʼakyekutte ku Peetero ne Yokaana abantu bonna ne badduka okujja we baali ne bakuŋŋaanira mu kisasi kya Sulemaani, nga basamaaliridde.
12Awo Peetero bwe yabalaba nʼagamba abantu nti, “Abasajja Abayisirayiri, kiki ekibeewuunyisa? Era lwaki mututunuulira ngʼabagamba nti Obulungi bwaffe nʼobuyinza bwaffe bye bitambuzza omusajja ono?
13
14naye mmwe ne mwegaana omutuukirivu era omutukuvu, ne musaba babateere omutemu.
15Bwe mutyo ne mutta aleeta obulamu; oyo ye Katonda yamuzuukiza mu bafu, era ffe bajulirwa.
16Olwʼokukkiriza mu linnya lye, omusajja ono, mwenna gwe mulaba era gwe mumanyi aweereddwa amaanyi mu linnya lye, era okukkiriza mu ye kwe kuwadde omusajja ono obulamu obutuukiridde nga mwenna bwe mulaba.”
17“Kale kaakano, abooluganda, mmanyi nga kye mwakola mwakikola mu butamanya, era nʼabakulembeze bammwe nabo bwe batyo.
18Kyokka Katonda yali atuukiriza ebyo bannabbi bonna bye baayogera nti Kristo we ateekwa okubonaabona mu ngeri eyo.
19Noolwekyo mwenenye, mukyuke, mulyoke mugibweko ebibi byammwe,
20mulyoke muwummulire mu maaso ga Mukama, naye abaweereze Yesu, ye Kristo eyalangirirwa gye muli edda,
21eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa ekiseera nga kituuse ebintu byonna ne bizzibwa obuggya Katonda bye yayogerera edda mu bannabbi be abatukuvu.
22
23
24“Ne bannabbi bonna okuviira ddala ku Samwiri nʼabo abaamuddirira bonna abaayogera nabo baalangirira olunaku luno.
25
26Bwʼatyo Katonda bwe yalondawo okubatumira Omuweereza we abawe omukisa, buli omu ku mmwe ngʼakyuka okuva mu bibi bye.”