1Awo Peetero ne Yokaana baali bakyayogera eri abantu, bakabona, nʼomukulu wʼabakuumi ba Yeekaalu nʼAbasaddukaayo ne bajja gye bali,
2nga basunguwadde nnyo okuwulira nga Peetero ne Yokaana bayigiriza abantu, ku bwa Yesu, okuzuukira mu bafu.
3Ne bakwata Peetero ne Yokaana, naye olwokubanga obudde bwali buyise ne babaggalira mu kkomera okutuusa enkeera.
4Kyokka abantu bangi ku abo abaali bawuliriza abatume ne bakkiriza, era omuwendo gwʼabasajja bokka abakkiriza ne guba ngʼenkumi ttaano!
5Enkeera, abafuzi nʼabakulembeze bʼAbayudaaya, nʼabannyonnyozi bʼamateeka ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi.
6Baali ne Ana Kabona Asinga Obukulu, ne Kayaafa, ne Yokaana, ne Alegezanda nʼabalala bangi abaalina oluganda ne Kabona Asinga Obukulu.
7Awo abatume bombi ne baleetebwa ne basimbibwa mu maaso gʼOlukiiko. Ne bababuuza nti, “Buyinza ki oba linnya lyʼani kwe musinzidde okukola kino?”
8Awo Peetero bwe yajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu nʼagamba nti, “Abafuzi, nʼabakulembeze bʼabantu,
9obanga tubuuzibwa nsonga eyʼomusajja eyawonyezeddwa,
10mutegeere mmwe mwenna nʼabantu bonna mu Isirayiri, omusajja ono ayimiridde mu maaso gammwe mu linnya lya Yesu Kristo Omunnazaaleesi, gwe mwakomerera naye Katonda nʼamuzuukiza, era kaakano mulamu.
11
12Tewali mu mulala yenna bulokozi, era tewali linnya ddala na limu mu mannya gonna agaaweebwa abantu, wansi wʼeggulu, mwetugwanira okulokolebwa.”
13Awo abʼOlukiiko bwe baalaba obuvumu bwa Peetero ne Yokaana, ate nʼokutegeera ne bategeera nga tebaasoma, era nga si batendeke, ne beewuunya nnyo, ne bategeera ngʼabasajja abo baabeeranga ne Yesu.
14Era bwe baalaba omusajja eyawonyezebwa ngʼayimiridde nabo, nʼekyʼokubaddamu ne kibabula.
15Ne babalagira okugira nga babeera wabweru Olukiiko lubakubaganyeko ebirowoozo.
16Abʼolukiiko ne beebuuzaganya nti, “Abasajja bano tubakole tutya? Kubanga tetuyinza kwegaana ekyamagero ekyʼamaanyi ekikoleddwa mu bo; buli muntu yenna mu Yerusaalemi akitegedde.
17Naye engeri gye tunaaziyizaamu ebigambo byabwe okwongera okusaasaana kwe kubalabula nʼamaanyi baleme kuddayo kwogera na muntu yenna ku linnya lya Yesu.”
18Ne babayita bakomewo mu Lukiiko, ne babalagira baleme kuddayo nate kwogera ku linnya lya Yesu.
19Naye Peetero ne Yokaana ne baddamu nti, “Mmwe muba musalawo obanga kituufu mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe okusinga okuwulira Katonda.
20Tetuyinza butayogera ku bintu bye twalaba, nʼebigambo bye twawulira.”
21Awo Olukiiko bwe lwamala okwongera okubatiisatiisa ne lubaleka ne bagenda, kubanga baabulwa kwe banaasinziira okubabonereza ne batasasamaza bantu. Kubanga abantu bonna baali bagulumiza Katonda olwʼekyo ekyabaawo.
22Omusajja eyawonyezebwa yali assussa mu myaka amakumi ana.
23Awo Peetero ne Yokaana bwe baateebwa ne baddayo eri bannaabwe ne bababuulira byonna bakabona abakulu nʼabakulembeze bʼAbayudaaya bye baabagamba.
24Bonna bwe baabiwulira ne bayimusiza wamu amaloboozi gaabwe nʼomwoyo gumu eri Katonda ne basaba nti, “Ayi Mukama, Omutonzi wʼeggulu nʼensi nʼennyanja ne byonna ebibirimu,
25ggwe Kitaffe wayogerera ku bwa Mwoyo Mutukuvu mu kamwa kʼomuweereza wo, Dawudi bwe yagamba nti:
26
27Kubanga baakuŋŋaanira mu kibuga. Kerode ne Pontiyo Piraato, awamu nʼAbamawanga, nʼAbayisirayiri, beegatta okulwanyisa Omuweereza wo Omutukuvu Yesu gwe wafukako amafuta,
28ne bakola ebyo omukono gwo nʼokuteesa kwo bye kwateekateeka edda okubaawo.
29Ne kaakano, Ayi Mukama, wulira okutiisatiisa kwabwe; owe abaddu bo obuvumu babuulire ekigambo kyo,
30golola omukono gwo owonye, nʼobubonero nʼebyamagero bikolebwenga mu linnya lyʼOmuweereza wo Omutukuvu Yesu.”
31Awo bwe baamala okusaba, ekifo mwe baali bakuŋŋaanidde ne kinyeenyezebwa, bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ne babuulira ekigambo kya Katonda nʼobuvumu.
32Abakkiriza bonna baalina omwoyo gumu nʼomutima gumu; nga tewali agamba nti Kino kye nnina kyange ku bwange, wazira nga bonna bagabanira wamu.
33Awo abatume ne babuulira nnyo nʼamaanyi mangi ku kuzuukira kwa Mukama waffe Yesu, era bonna ne bajjula ekisa kingi.
34Mu bo temwali baali mu kwetaaga, kubanga abo abaalina ettaka oba amayumba, baabitundanga, ensimbi ezivudde mu bye batunze
35ne bazireeta ku bigere byʼabatume bagabireko buli muntu ngʼokwetaaga kwe bwe kwalinga.
36Awo Yusufu, Omuleevi abatume gwe baatuuma Balunabba (amakulu gaalyo nti Atereeza emitima gyʼabantu) eyazaalibwa e Kupulo,
37nʼatunda ennimiro ye, ensimbi ezaavaamu nʼazireeta ku bigere byʼabatume.