1Waaliwo omusajja erinnya lye Ananiya ne mukyala we Safira, nʼatunda ebibye
2ne yeeterekerako ku muwendo, mukazi we naye ngʼamanyi, nʼaleetako kitundu butundu nʼakiteeka ku bigere byʼabatume.
3Naye Peetero nʼagamba Ananiya nti, “Ananiya, lwaki Setaani ajjudde mu mutima gwo, nʼokulimba nʼolimba Mwoyo Mutukuvu ne weeterekerako ku muwendo gwʼennimiro?
4Teyali yiyo? Era bwe yamala okutundibwa, teyali mu buyinza bwo? Lwaki ekikolwa ekyo kikujjidde mu mutima gwo? Tolimbye bantu wabula olimbye Katonda.”
5Ananiya olwawulira ebigambo ebyo nʼagwa eri nʼafiirawo! Bonna abaawulira ebyo ne bakwatibwa entiisa ya maanyi.
6Abavubuka ne bayimuka ne bamuzinga, ne bamutwala ne bamuziika.
7Bwe waali wayiseewo essaawa nga ssatu, mukyala we naye nʼayingira, kyokka nga tategedde bibaddewo.
8Peetero nʼamubuuza nti, “Mbuulira, omuwendo guno gwe gwo gwe mwaggya mu nnimiro gye mwatunda?” Omukyala nʼaddamu nti, “Yee, gwe guugwo.”
9Awo Peetero nʼamugamba nti, “Lwaki mwateesezza okukema Omwoyo wa Mukama? Laba, ebigere byʼabo abaziise balo biri ku mulyango naawe bagenda kukutwala.”
10Amangwago nʼagwa wansi ku bigere bya Peetero nʼafiirawo. Abavubuka bwe baayingira ne bamusanga ngʼafudde ne bamutwala ne bamuziika okuliraana bba.
11Entiisa eyʼamaanyi nʼebuna Ekkanisa yonna na buli muntu eyawulira ebigambo ebyo.
12Abatume ne baba nʼomwoyo gumu ne bakuŋŋaananga mu kisasi kya Sulemaani, ne bakola ebyamagero bingi mu bantu.
13So ne wataba nʼomu ku balala eyayaŋŋanga okubeegattako, newaakubadde ngʼabantu bonna baabasiima nnyo.
14Abakkiriza bangi abasajja nʼabakazi ne beeyongeranga okwegatta ku Mukama waffe.
15Abantu ne baleeta abalwadde baabwe ku nguudo zʼomu kibuga, ne babagalamizanga ku butanda ne ku bikeeka, ekisiikirize kya Peetero kibatuukeko ngʼazze.
16Ebibiina ne biva mu bibuga ebiriraanye Yerusaalemi, ne baleeta abalwadde nʼabaaliko baddayimooni, bonna ne bawonyezebwa.
17Awo Kabona Asinga Obukulu, nʼabo abaali naye abʼomu kibiina kyʼAbasaddukaayo ne bajjula obuggya.
18Ne bakwata abatume ne babateeka mu kkomera lyʼabantu bonna.
19Naye mu kiro, malayika wa Mukama nʼajja nʼaggulawo enzigi zʼekkomera nʼabafulumya,
20nʼabagamba nti, “Mugende muyimirire mu Yeekaalu mutegeeze abantu bonna ebigambo ebyʼobulamu buno.”
21Bwe baawulira ebyo ne bayingira mu Yeekaalu mu matulutulu, ne bayigiriza.
22Naye abaweereza bwe baatuuka mu kkomera tebaabasangamu. Ne bakomawo ne bategeeza Olukiiko Olukulu
23nga bagamba nti, “Tusanze enzigi zʼekkomera nga nsibe nʼabakuumi bonna nʼabaserikale nga bayimiridde ku nzigi; naye bwe tuziggudde, tetusanzeemu muntu nʼomu.”
24Awo omukulu wʼabaserikale ba Yeekaalu awamu ne bakabona abakulu bwe baawulira ebyo ne basamaalirira nga beewuunya ebintu ebyo gye binaakoma.
25Omuntu omu nʼajja nʼabategeeza nti, “Abasajja be mwasibye mu kkomera bali eri mu Yeekaalu bayigiriza bantu.”
26Awo omukulu wʼabaserikale ba Yeekaalu, nʼagenda nʼabaserikale ne babaleeta, si lwa maanyi, nga batya abantu okwegugunga nʼokukuba abaserikale amayinja.
27Awo abatume bwe baaleetebwa, ne bayimirira mu maaso gʼOlukiiko Olukulu, Kabona Asinga Obukulu nʼababuuza
28ngʼagamba nti, “Tetwabalagira obutayigirizanga mu linnya eryo; naye laba mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe, era mumaliridde okutuleetako omusaayi gwʼomuntu oyo.”
29Naye Peetero nʼabatume ne baddamu nti, “Kitugwanira okugondera Katonda okusinga okugondera abantu.
30Katonda wa bajjajjaffe yazuukiza Yesu, gwe mwatta nga mumuwanise ku muti.
31Oyo Katonda nʼamugulumiza okubeera Omulangira era Omulokozi, abeerenga ku mukono gwe ogwa ddyo, okuwa Isirayiri omukisa ogwʼokwenenya nʼokusonyiyibwa ebibi.
32Ffe ne Mwoyo Mutukuvu Katonda gwʼawa abo abamugondera tuli bajulira ba bigambo ebyo.”
33Awo abʼOlukiiko bwe baawulira ebigambo ebyo ne bajjula obusungu bungi nʼokwagala ne baagala okubatta.
34Naye omu ku abo abaali mu Lukiiko Olukulu, Omufalisaayo erinnya lye Gamalyeri, eyali omuyigiriza wʼamateeka era nga nʼabantu bamussaamu nnyo ekitiibwa, nʼalagira abatume bagira bafulumizibwa ebweru.
35Nʼalyoka agamba banne abʼomu Lukiiko nti: “Abasajja Abayisirayiri, mwegendereze nnyo abasajja abo ne kye mugenda okubakolako.
36Emabegako waaliwo omusajja erinnya lye Syuda, yasituka era nʼalowoozesa abantu nti Muntu mukulu, era abantu ngʼebikumi bina ne bamugoberera; naye yattibwa abaali bamugoberera ne basaasaana ne bikoma awo.
37Oyo bwe yavaawo ne wasituka Yuda Omugaliraaya mu biseera ebyʼokubala abantu. Abantu bangi ne bamugoberera, kyokka bwe yattibwa, abagoberezi be ne basaasaana ne bataddayo kuwulikikako.
38Noolwekyo kye ŋŋamba kye kino nti, Abasajja bano mubaleke bagende! Kubanga, obanga enteekateeka eno yʼabantu ejja kukoma.
39Naye obanga biva eri Katonda, temuyinza kubaziyiza, kubanga mujja kuba nga mulwanyisa Katonda.” Ne bamuwulira.
40Abatume ne bayitibwa, bwe baamala okukubibwa ne balabulwa obutaddayo kwogera mu linnya lya Yesu, ne babata.
41Abatume ne bava mu Lukiiko nga basanyuka kubanga baasaanyizibwa okukwatibwa ensonyi nʼokubonaabona olwʼErinnya.
42Awo ne bayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku ne mu maka gʼabantu, nga babuulira Yesu.