Ebikolwa by'Abatume 6:1-15 LGCB2014 - Bible AI

1Awo mu biseera ebyo abakkiriza bwe baagenda beeyongera obungi, ne wabaawo okwemulugunya mu Bakerenisiti ku Baebbulaniya nti Bannamwandu baabwe basosolwa, ne bataweebwa kyenkanyi.

2Awo ekkumi nʼababiri ne bakuŋŋaanya ekibiina kyʼabayigirizwa, ne babagamba nti, “Kirungi ebiseera byaffe tubimalire ku kubuulira Njiri, so si mu kugabanya mmere.

3Noolwekyo, abooluganda, mwerondemu abasajja musanvu, abasiimibwa abantu, ngʼabantu bʼamagezi, era abajjudde Mwoyo Mutukuvu, tubakwase omulimu ogwo.

4Ffe tulyoke twemalire ku kusaba, nʼokubuulira nʼokuyigiriza.”

5Ebigambo ebyo byonna abaakuŋŋaana ne babisiima. Ne balonda Suteefano, omusajja eyali ajjudde okukkiriza ne Mwoyo Mutukuvu, ne Firipo, ne Pulokolo, ne Nikanoli, ne Timooni, ne Pammena, ne Nikolaawo eyava mu Antiyokiya,

6ne babanjula eri abatume. Abatume ne babasabira, ne babasaako emikono.

7Awo ekigambo kya Katonda ne kyeyongera okubuna nʼomuwendo gwʼabayigirizwa ne gweyongera obunene mu Yerusaalemi; era ne bakabona, ekibiina kinene, ne beewaayo okukkiriza.

8Suteefano, ngʼajjudde ekisa kya Katonda nʼamaanyi, nʼakolanga ebyamagero bingi nʼobubonero mu bantu.

9Naye abamu ku bʼomu kuŋŋaaniro abeeyitanga Abalibettino, nʼAbakuleene nʼAbalegezanderiya, nʼAbakirukiya nʼAbasiya, ne bawakana ne Suteefano.

10Kyokka tebaasobola kuwakanya magezi nʼOmwoyo bye yayogeza.

11Kyebaava baweerera abantu nga bagamba nti Twamuwulira ngʼayogera ebigambo ebivvoola Musa ne Katonda.

12Abantu nʼabakulembeze bʼAbayudaaya nʼabannyonnyozi bʼamateeka ne banyiiga nnyo. Ne bakwata Suteefano ne bamuleeta mu Lukiiko Olukulu.

13Abajulizi abʼobulimba ne boogera nti, “Omuntu ono buli kiseera avvoola ekifo kino ekitukuvu nʼamateeka.

14Era twamuwulira ngʼagamba nti Yesu ono Omunnazaaleesi agenda kuzikiriza ekifo kino nʼobulombolombo bwonna Musa bwe yatulekera abukyuse.”

15AbʼOlukiiko bwe baamwekaliriza amaaso, ne balaba amaaso ge ngʼamasamasa ngʼaga malayika!

rticle>