1Awo Kabona Asinga Obukulu nʼabuuza Suteefano nti, “Ebyo bwe biri bwe bityo?”
2Suteefano nʼaddamu nti, “Baganda bange ne bakadde bange, mumpulirize! Katonda owʼekitiibwa yalabikira jjajjaffe Ibulayimu ngʼakyali mu Mesopotamiya, nga tannaba kulaga mu Kalani.
3
4“Bwʼatyo nʼava mu nsi yʼAbakuludaaya nʼabeera mu Kalani, okutuusa kitaawe bwe yafa. Awo Katonda nʼamuleeta wano mu nsi eno mwe tuli kaakano,
5
6
7
8Era nʼamuwa okukomolebwa ngʼakabonero akʼendagaano. Awo lbulayimu nʼazaala lsaaka, nʼamukomola ngʼawezezza ennaku munaana ezʼobukulu. Isaaka nʼazaala Yakobo, ne Yakobo nʼazaala bajjajjaffe ekkumi nʼababiri.
9“Bajjajja abo ne bakwatirwa Yusufu obuggya, ne bamutunda mu Misiri. Naye Katonda yali naye,
10nʼamuwonya mu kubonaabona kwonna era nʼamuwa ekisa nʼamagezi mu maaso ga Falaawo, ye kabaka wʼe Misiri. Falaawo nʼamuwa okufuga Misiri yonna era nʼamukwasa okulabirira byonna ebifa mu lubiri lwe.
11“Awo enjala nʼegwa mu Misiri yonna ne mu nsi ya Kanani, nʼereetera bajjajjaffe okubonaabona ennyo kubanga baali tebalina we baggya mmere.
12Yakobo bwe yawulira nga mu Misiri eriyo eŋŋaano nʼatumayo bajjajjaffe, omulundi gwabwe ogwasooka.
13Ku mulundi ogwokubiri Yusufu ne yeeyanjulira baganda be era nʼayanjulira Falaawo baganda be.
14Bwʼatyo Yusufu nʼatumya kitaawe, Yakobo, era nʼabʼennyumba ya kitaawe bonna be bantu nsanvu mu bataano.
15Bwʼatyo Yakobo nʼajja e Misiri era nʼafiira eyo ne bajjajjaffe.
16Oluvannyuma baaleetebwa e Sekemu mu ntaana Ibulayimu gye yali aguze omuwendo gwʼeffeeza, ku batabani ba Kamoli mu Sekemu.”
17“Ekiseera kyʼekisuubizo bwe kyagenda kisembera, Katonda kye yasuubiza Ibulayimu, abantu ne beeyongera ne baala mu Misiri.
18
19Kabaka oyo nʼasalira eggwanga lyaffe amagezi, nʼabonyaabonya bajjajjaffe, ngʼabasuuza abaana baabwe abawere baleme okuba abalamu.”
20“Mu biseera ebyo ne Musa nʼazaalibwa, nʼayagalwa nnyo Katonda. Bakadde be ne bamulabirira mu nnyumba yaabwe okumala emyezi esatu.
21Bwe yalekebwa mu mugga, muwala wa Falaawo nʼamulonda nʼamutwala nʼamulera nga mutabani we.
22Musa nʼayigirizibwa mu magezi gonna agʼAbamisiri, nʼakula nga wʼamaanyi mu bigambo ne mu bikolwa.”
23“Awo Musa bwe yali awezezza emyaka amakumi ana, nʼasalawo mu mutima gwe okukyalirako baganda be, abaana ba Isirayiri.
24Nʼalaba Omuyisirayiri ngʼanyigirizibwa, nʼamutaasa, nʼatta Omumisiri ngʼawoolera eggwanga olwʼoyo eyali anyigirizibwa.
25Musa nʼalowooza nti baganda be banaategeera nga Katonda amutumye okubalokola, naye ne batakitegeera.
26Olunaku olwaddirira nʼalaba abalwana. Nʼagezaako okubatabaganya ngʼabagamba nti, ‘Abasajja lwaki mulwana nga muli baaluganda?’
27“Naye oli eyali ayiikiriza munne nʼasindika eri Musa ngʼagamba nti ‘Ani eyakufuula omufuzi waffe era omulamuzi waffe?
28
29Musa bwe yawulira ebyo, nʼadduka nʼagenda abeera mugenyi mu nsi ya Midiyaani, era eyo nʼazaalirayo abaana aboobulenzi babiri.
30
31Musa bwe yakiraba ne yeewuunya. Nʼagenda ngʼasemberera ekisaka yeetegereze, eddoboozi lya Mukama ne limugamba nti,
32
33
34
35
36Oyo nʼabaggyayo ngʼamaze okukola ebyamagero nʼebyewuunyisa, mu nsi yʼe Misiri, nʼabayisa mu Nnyanja Emyufu
37
38Era Musa oyo ye yali ne bajjajjaffe mu ddungu nga bakuŋŋaanye nga malayika ayogera naye ku lusozi Sinaayi, era yaweebwa ebigambo ebyʼobulamu okubitutuusaako.
39“Naye bajjajjaffe baagaana okumugondera, ne bamujeemera, era mu mitima gyabwe ne baddayo e Misiri.
40
41Mu nnaku ezo, ne beekolera ennyana, ne bawaayo ssaddaaka eri ekifaananyi, ne basanyukira ekyo kye beekoledde nʼemikono gyabwe.
42Awo Katonda nʼabavaako, nʼabawaayo okusinzanga eggye eryʼomu ggulu, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya bannabbi nti,
43
44“Bajjajjaffe baatambula mu ddungu nga beetisse Eweema eyʼEndagaano, eyakolebwa nga Katonda bwe yalagirira Musa ngʼefaanana nga bwe yagimulaga.
45Bajjajjaffe bajja bagisituzza abaana baabwe, okutuusa Yoswa lwe yajja nayo okulya ensi yʼabamawanga Katonda be yagobanga mu maaso ga bajjajjaffe. Eweema nʼebeerawo okutuusa ku mirembe gya Dawudi.
46Dawudi nʼasiimibwa Katonda, era nʼasaba azimbire Katonda wa Yakobo ennyumba.
47Naye Sulemaani ye yagizimba.
48“Naye oyo Ali Waggulu Ennyo tabeera mu nnyumba zizimbiddwa bantu. Nga nnabbi bwʼagamba nti,
49
50
51“Mmwe abalina ensingo enkakanyavu, abatakomolebwanga mu mutima wadde amatu, muwakanya Mwoyo Mutukuvu bulijjo; era bajjajjammwe nga bwe baali, nammwe bwe mutyo bwe muli.
52Nnabbi ki bajjajjammwe gwe bataayigganya? Batta nʼabo abaalangirira okujja kwʼOmutuukirivu, gwe mwalyamu olukwe ne mumutta.
53Mmwe mwaweebwa amateeka nga bwe gaalagirwa bamalayika naye ne mutagagondera.”
54Awo abakulembeze bʼAbayudaaya bwe baawulira ebigambo ebyo byonna Suteefano bye yayogera, ne bajjula obusungu bungi ne bamulumira obujiji.
55Naye Suteefano ngʼajjudde Mwoyo Mutukuvu, nʼatunuulira eggulu enkaliriza, nʼalaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ngʼayimiridde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo.
56Nʼabagamba nti, “Laba, ndaba eggulu nga libikkuse, nga nʼOmwana wʼOmuntu ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.”
57Ne baleekaanira waggulu nga bazibikidde amatu gaabwe ne bamweyiwako.
58Ne bamusindiikiriza ebweru wʼekibuga, ne bamukuba amayinja. Abaamukuba ne bassa eminagiro gyabwe ku bigere byʼomuvubuka erinnya lye Sawulo.
59Awo bwe baali bakuba Suteefano amayinja, nʼakoowoola Katonda ngʼagamba nti, “Mukama wange Yesu, twala omwoyo gwange.”
60Nʼagwa wansi ku maviivi nʼakaaba mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Mukama wange, tobavunaana olwʼekibi kino.” Bwe yamala okwogera ekyo, nʼafa.