Ebikolwa by'Abatume 8:1-40 LGCB2014 - Bible AI

1Sawulo yali omu ku abo abaawagira okuttibwa kwa Suteefano. Era ku lunaku olwo okuyigganya Ekkanisa ne kutandika nʼamaanyi mangi nnyo mu Yerusaalemi. Abakkiriza bonna, okuggyako abatume, ne basaasaanira mu Buyudaaya ne mu Samaliya.

2Abantu ba Katonda ne baggyawo Suteefano ne bamutwala ne bamuziika mu kwaziirana okungi.

3Naye Sawulo nʼakolerera okuzikiriza Ekkanisa; nʼagenda buli wantu ngʼakwata abasajja nʼabakazi nʼabatwala mu kkomera.

4Naye abakkiriza abadduka mu Yerusaalemi ne bagenda mu buli kifo nga babuulira Enjiri ya Yesu.

5Awo Firipo, nʼalaga mu kimu ku bibuga bya Samaliya nʼabuulira abantu Enjiri ya Kristo.

6Ebibiina ne bimuwuliriza nnyo kubanga abantu bonna baalaba ebyamagero bye yakola.

7Baddayimooni bangi ne bava ku bantu nga bwe baleekaana; abaali bakoozimbye nʼabalema bonna ne bawonyezebwa;

8ekibuga ne kijjula essanyu.

9Waaliwo omusajja erinnya lye Simooni eyali omufumu omwatiikirivu mu kibuga omwo era nga yeewuunyisa nnyo abantu bonna mu Samaliya. Yeeyogerangako nti Muntu mukulu era wa kitiibwa.

10Era abantu bangi abʼekitiibwa nʼabatali ba kitiibwa baamwogerangako nti, “Omusajja oyo ge maanyi ga Katonda agayitibwa, ‘Amangi.’”

11Ne bamussangako nnyo omwoyo olwʼebyobufuusa bye yakolanga.

12Naye bwe bakkiriza obubaka bwa Firipo ngʼabuulira ku bwakabaka bwa Katonda nʼerinnya lya Yesu Kristo abasajja nʼabakazi ne babatizibwa.

13Awo ne Simooni yennyini nʼakkiriza era nʼabatizibwa, nʼagobereranga Firipo buli gye yalaganga; era ebyamagero Firipo bye yakolanga, Simooni nʼabyewuunya nnyo.

14Awo abatume abaali mu Yerusaalemi bwe baawulira ngʼabantu mu Samaliya bakkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero ne Yokaana.

15Bwe baatuuka ne basabira abakkiriza bano abaggya bafune Mwoyo Mutukuvu,

16kubanga yali tannaba kubakkako, kubanga baali babatizibbwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu kyokka.

17Awo Peetero ne Yokaana ne bassa emikono gyabwe ku bakkiriza abo, ne bafuna Mwoyo Mutukuvu.

18Simooni, Omufumu, bwe yalaba ngʼabantu bafunye Mwoyo Mutukuvu olwʼabatume okubassaako emikono kyokka, kyeyava atoola ensimbi aziwe abatume bamuguze obuyinza obwo.

19Nʼabagamba nti, “Mumpe obuyinza obwo, buli gwe nnassangako emikono gyange afune Mwoyo Mutukuvu!”

20Naye Peetero nʼamugamba nti, “Ensimbi zo zizikirire naawe olwʼokulowooza nti Ekirabo kya Katonda kiyinza okugulibwa obugulibwa nʼensimbi.

21Mu nsonga eno tolinaamu mugabo kubanga omutima gwo si mulongoofu mu maaso ga Katonda.

22Noolwekyo weenenye ekikolwa ekyo ekibi weegayirire Mukama, oboolyawo Katonda ayinza okukusonyiwa ebirowoozo byo ebyo ebibi.

23Kubanga ndaba nga mu mutima gwo mujjudde obuggya, era oli muddu wa kibi.”

24Simooni nʼabeegayirira nti, “Munsabire eri Mukama ebintu ebyo bye mwogedde bireme okuntuukako.”

25Awo Peetero ne Yokaana bwe baamala okubuulira ekigambo kya Katonda nʼobuvumu, ne basitula okuddayo mu Yerusaalemi, nga bagenda babuulira Enjiri mu bibuga bingi bye baayitangamu mu Samaliya.

26Awo malayika wa Mukama nʼagamba Firipo nti, “Kwata ekkubo eriraga mu bukiikaddyo, eriva e Yerusaalemi nga liyita mu ddungu okugenda e Ggaaza.”

27Firipo nʼakwata ekkubo eryo. Mu kiseera ekyo waaliwo omusajja Omwesiyopya mu kkubo eryo ngʼava mu kusinza e Yerusaalemi. Yali mulaawe nga mukungu mu lubiri lwa Kandake, kabaka omukazi owa Esiyopya, era ye yali omuwanika we omukulu.

28Yali atudde mu ggaali lye ngʼaddayo ewaabwe nga bwʼasoma ekitabo kya nnabbi Isaaya.

29Awo Mwoyo Mutukuvu nʼagamba Firipo nti, “Semberera eggaali eryo oligendereko.”

30Firipo nʼadduka nʼatuuka ku ggaali, nʼawulira Omwesiyopya ngʼasoma mu kitabo kya nnabbi Isaaya. Nʼamubuuza nti, “Byʼosoma obitegeera?”

31Omwesiyopya nʼaddamu nti, “Nnaabitegeera ntya nga sirina abinnyinnyonnyola?” Nʼasaba Firipo ayingire mu ggaali lye batuule bombi.

32Ekyawandiikibwa kye yali asoma nga kigamba bwe kiti nti: “Yatwalibwa ngʼendiga egenda okuttibwa. Ngʼomwana gwʼendiga bwe gusiriikirira nga bagusalako ebyoya, naye bwʼatyo teyayasamya kamwa ke.

33 Yajoogebwa nʼatalamulwa mu bwenkanya. Ani alyogera ku bazzukulu be? Kubanga ekiseera kye ekyʼobulamu bwe ku nsi kyakoma!”

34Omulaawe kwe kubuuza Firipo nti, “Nnyinnyonnyola, munnange, nnabbi gwʼayogerako; yeeyogerako yekka oba ayogera ku mulala?”

35Awo Firipo nʼatandika nʼEkyawandiikibwa ekyo nʼamubuulira Enjiri ya Yesu Kristo.

36Bwe baali bagenda ne batuuka awali amazzi, omulaawe nʼagamba nti “Laba amazzi! Kale lwaki sibatizibwa?”

37Awo Firipo nʼamugamba nti, “Oyinza okubatizibwa, bwʼoba ngʼokkiriza nʼomutima gwo gwonna.” Omulaawe nʼaddamu nti, “Nzikiriza nga Yesu Kristo Mwana wa Katonda.”

38Awo nʼalagira omugoba wʼeggaali lye okuyimirira, ne bakka mu mazzi, Firipo nʼamubatiza.

39Bwe baava mu mazzi amangwago Omwoyo wa Mukama nʼatwala Firipo, Omulaawe nʼataddayo kumulaba nate, naye nʼatambula olugendo lwe ngʼajjudde essanyu.

40Naye Firipo nʼalabikira mu Azoto, nʼagenda ngʼabuulira Enjiri mu bibuga byonna ebyʼomu kitundu ekyo okutuukira ddala e Kayisaliya.

rticle>