Ebikolwa by'Abatume 9:1-43 LGCB2014 - Bible AI

1Mu kiseera ekyo Sawulo yali aswakidde ngʼayigganya abayigirizwa ba Mukama waffe ngʼabatiisatiisa okwagala okubatta, nʼatuukirira Kabona Asinga Obukulu,

2nʼamusaba awandiikire abʼomu makuŋŋaaniro agʼomu Damasiko ebbaluwa, ngʼebasaba bakolagane naye mu kuyigganya abakkiriza bonna abasajja nʼabakazi bʼalisanga eyo, abasibe mu njegere, alyoke abaleete e Yerusaalemi.

3Awo Sawulo bwe yali atambula ngʼanaatera okutuuka e Damasiko, amangwago ekitangaala ekyʼamaanyi ennyo okuva mu ggulu ne kimwakako okumwetooloola.

4Nʼagwa wansi, nʼawulira eddoboozi nga limugamba nti, “Sawulo! Sawulo! Onjigganyiza ki?”

5Sawulo nʼabuuza nti, “Ggwe ani, Mukama wange?” Eddoboozi ne limuddamu nti, “Nze Yesu gwʼoyigganya!

6Kale yimuka ogende mu kibuga onootegeezebwa kyʼosaanidde okukola.”

7Abasajja abaali ne Sawulo ne bayimirira nga basobeddwa nʼekyokwogera nga kibabuze kubanga baawulira eddoboozi ngʼeryʼomuntu naye nga tebalaba ayogera.

8Sawulo bwe yayimuka wansi nʼagezaako okutunula naye ngʼamaaso ge tegalaba. Era baamukwata bukwasi ku mukono okumuyingiza mu Damasiko.

9Nʼamalayo ennaku ssatu nga talaba era nga talya mmere wadde okunywa amazzi okumala ebbanga eryo lyonna.

10Mu Damasiko mwalimu omuyigirizwa ngʼayitibwa Ananiya. Mukama nʼayogera naye mu kwolesebwa nʼamuyita nti, “Ananiya!” Nʼaddamu nti, “Nze nzuuno, Mukama wange.”

11Mukama nʼamugamba nti, “Genda ku luguudo oluyitibwa Olutereevu, onoonye ennyumba yʼomuntu omu erinnya lye Yuda, omubuuze Sawulo owʼe Taluso. Ali eyo kaakano ngʼasaba, kubanga

12mmulaze mu kwolesebwa omuntu ayitibwa Ananiya ngʼajja gyʼali era ngʼamussaako emikono okumusabira amaaso ge galabe.”

13Ananiya nʼagamba nti, “Naye Mukama wange, nga mpulidde ebintu ebitali birungi bingi nnyo omuntu oyo byʼakoze abakkiriza abali mu Yerusaalemi.

14Era tuwulira nti Yafuna nʼebbaluwa okuva eri Kabona Asinga Obukulu, ngʼemuwa obuyinza okukwata buli mukkiriza yenna ali mu Damasiko!”

15Naye Mukama nʼamugamba nti, “Ggwe genda okole kye ŋŋambye. Kubanga Sawulo mmulonze okutwala erinnya lyange eri Abaamawanga ne bakabaka, era nʼeri abaana ba Isirayiri.”

16Era nnaamulaga nga bwʼateekwa okubonaabona ku lwʼerinnya lyange.

17Bwʼatyo Ananiya nʼagenda nʼayingira mu nnyumba Sawulo mwe yali nʼamussaako emikono nʼamugamba nti, “Owooluganda Sawulo, Mukama waffe Yesu eyakulabikira mu kkubo ngʼojja antumye gyʼoli, oddemu okulaba era ojjuzibwe Mwoyo Mutukuvu.”

18Amangwago ebintu ebyali ngʼamagamba ne bigwa okuva ku maaso ga Sawulo nʼasobola okulaba, nʼayimirira nʼabatizibwa.

19Nʼalya emmere nʼafuna amaanyi. Nʼabeera wamu nʼabakkiriza mu Damasiko okumala ennaku eziwerako.

20Amangwago Sawulo nʼatandika okubuulira mu makuŋŋaaniro ku Yesu nti Yesu Mwana wa Katonda.

21Bonna abaamuwulira ne beewuunya, ne beebuuza nti, “Si yʼono eyayigganyanga ennyo abagoberezi ba Yesu mu Yerusaalemi? Ate twawulira nga yeesonga eyamuleeta abakwate abatwale eri bakabona abakulu.”

22Sawulo ne yeeyongera okubuulira nʼamaanyi nʼasirisa Abayudaaya abaali mu Damasiko ngʼakakasa nti Yesu ye Kristo.

23Bwe waayitawo ebbanga, abakulembeze bʼAbayudaaya ne basala olukwe okumutta.

24Sawulo nʼabaako amubuulira ku lukwe lwabwe nga bwe baali bamuteega ku miryango gyʼekibuga emisana nʼekiro bamutemule.

25Awo abayigirizwa ne bamufulumya ebweru wʼekibuga mu kiro nga bamuyisa mu bbugwe, nga bamusizza mu kisero.

26Bwe yatuuka e Yerusaalemi nʼagezaako okwegatta ku bayigirizwa naye bonna nga bamutya, nga tebakkiriza nti mukkiriza.

27Naye Balunabba nʼamuleeta eri abatume nʼabategeeza nga Sawulo bwe yalaba Mukama mu kkubo era nʼayogera nga bwe yabuulira nʼobuvumu mu Damasiko mu linnya lya Yesu.

28Ne balyoka bamukkiriza nʼabeeranga nabo, nʼayitanga nabo era ngʼalya nabo mu Yerusaalemi. Nʼabuuliranga nʼobuvumu erinnya lya Mukama waffe.

29Naye ne wabaawo okuwakana nʼokukubaganya ebirowoozo wakati we nʼAbakerenisiti, ne bagezaako okumutta.

30Kyokka abooluganda bwe baawulira nga Sawulo ali mu kabi bwe katyo ne bamutwala e Kayisaliya ne bamuweereza e Taluso.

31Mu kiseera ekyo Ekkanisa nʼeba nʼemirembe mu Buyudaaya, ne mu Ggaliraaya ne mu Samaliya; ne yeeyongera mu maanyi ne mu muwendo gwʼabantu abakkiriza. Ne bayiga okutya Mukama, era Mwoyo Mutukuvu nʼabasanyusanga.

32Peetero nʼatambulanga mu bifo bingi; era bwe yali ngʼatambula nʼasanga abakkiriza mu kibuga ekiyitibwa Luda.

33Eyo yasangayo omuntu erinnya lye Ayineya eyali akoozimbye ngʼamaze ku kitanda emyaka munaana nga mulwadde.

34Peetero nʼamugamba nti “Ayineya! Yesu Kristo akuwonya. Golokoka weeyalire!” Amangwago nʼawonyezebwa.

35Awo abantu bonna abaabeeranga mu Luda ne mu Saloni ne bakyukira Mukama, bwe baalaba nga Ayineya atambula.

36Mu kibuga Yopa mwalimu omuyigirizwa ayitibwa Tabbiisa, mu Luyonaani ngʼayitibwa Doluka. Yali mukkiriza, bulijjo eyakoleranga abalala ebyekisa nʼokusingira ddala abaavu.

37Mu kiseera ekyo nʼalwala nnyo era nʼafa. Ne bateekateeka omulambo gwe ne bagugalamiza mu kisenge ekya waggulu.

38Naye bwe baawulira nga Peetero ali kumpi awo mu kibuga Luda ne bamutumira abasajja babiri ne bamwegayirira ajje e Yopa.

39Nʼakkiriza. Amangu ddala nga yaakatuuka ne bamutwala mu kisenge ekya waggulu omulambo gwa Doluka gye gwali gugalamizibbwa. Ekisenge kyali kijjudde bannamwandu abaali bakaaba nga bwe balagaŋŋana ebyambalo Doluka bye yali abakoledde.

40Peetero nʼabasaba bonna bafulume, nʼafukamira nʼasaba. Nʼakyukira omulambo nʼayogera nti, “Tabbiisa golokoka.” Tabbiisa nʼazibula amaaso, era bwe yalaba Peetero nʼatuula.

41Peetero nʼamukwata ku mukono amuyambe okuyimuka, nʼalyoka ayita abakkiriza ne bannamwandu, nʼabamukwasa nga mulamu.

42Amawulire ago ne gayitiŋŋana mu kibuga Yopa kyonna era bangi ne bakkiriza Mukama.

43Peetero nʼabeera e Yopa okumala ebbanga ddene, ngʼasula ewa Simooni omuwazi wʼamaliba.

rticle>