Ebyabaleevi 1:1-17 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Mukama nʼayita Musa, nʼayogera naye ngʼasinziira mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu. Nʼamulagira nti,

2“Yogera nʼabaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Omuntu yenna mu mmwe bwʼaneeteesanga okuleeta ekiweebwayo eri Mukama, anaaleetanga ekiweebwayo kya nte ngʼagiggya mu kiraalo kye, oba endiga oba embuzi ngʼagiggya mu kisibo kye.’

3“Ekiweebwayo bwe kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa[1] nga kiva mu kiraalo kyʼente, anaawangayo seddume etaliiko kamogo. Anaagyereeteranga nʼagiweerayo ku mulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, kiryoke kikkirizibwe eri Mukama.

4Omuntu aleese ekiweebwayo ekyo ekyokebwa anaakwatanga omutwe gwakyo, era kinakkirizibwanga ku lulwe kiryoke kimutangiririre olwʼebibi bye.

5Seddume eyo anaagittiranga mu maaso ga Mukama; era batabani ba Alooni, bakabona, banaddiranga omusaayi gwayo ne baguwaayo eri Mukama nga bagumansira ku kyoto okwebungulula enjuuyi zonna ezʼekyoto ekiri awo okumpi nʼomulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.

6Awo ekiweebwayo ekyo ekyokebwa anaakibaagangako eddiba, nʼakitemaatemamu ebifi.

7Batabani ba Alooni, kabona, banaakumanga omuliro mu kyoto, ne batindikira bulungi enku ku muliro ogwo.

8Awo batabani ba Alooni, bakabona, banaategekanga bulungi ebifi ebyo, nga nʼomutwe nʼamasavu babitaddeko; banaabissanga ku nku ezikoledde omuliro ku kyoto.

9Eyaleese ekiweebwayo ekyo anaanaazanga nʼamazzi ebyʼomu lubuto nʼamagulu; ebyo byonna kabona anaabyokyanga ku kyoto ngʼekiweebwayo ekyokebwa, ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.

10“Ekinaaleetebwanga okuba ekiweebwayo ekyokebwa bwe kinaavanga mu kisibo, oba ndiga oba mbuzi, omuntu oyo anaawangayo ennume etaliiko kamogo.

11Anaagittiranga ku luuyi olwakkono olwʼekyoto mu maaso ga Mukama, era batabani ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ezʼekyoto okukyebungulula.

12Anaagitemaatemangamu ebifi; era kabona anaategekanga bulungi ebifi ebyo, nga nʼomutwe nʼamasavu abitaddeko, nʼabissa ku nku ezikoledde omuliro ku kyoto.

13Eyaleese ekiweebwayo ekyo anaanaazanga nʼamazzi ebyʼomu lubuto nʼamagulu; ebyo byonna kabona anaabiwangayo, nʼabyokya ku kyoto, nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro, ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.”

14“Ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama bwe kinaabanga ekyʼennyonyi, omuntu anaaleetanga ekiweebwayo ekyʼamayiba oba ekyʼenjiibwa ento.

15Kabona anaaleetanga ennyonyi eyo ku kyoto nʼaginyoola omutwe nʼagukutulako, nʼagwokya ku kyoto; omusaayi gwayo anaagukenenuliranga mu mbiriizi zʼekyoto.

16Anaagiggyangamu ekisakiro kyayo nʼebikirimu, nʼakisuula ku ludda olwʼebuvanjuba olwʼekyoto mu kifo awayiyibwa evvu.

17Anaagikwatanga ebiwaawaatiro nʼagiyuza; kyokka taagiryebulirengamu ddala. Anaagyokeranga ku nku ezikoledde omuliro mu kyoto; nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>