Ebyabaleevi 10:1-20 LGCB2014 - Bible AI

1Awo olwatuuka, batabani ba Alooni, Nadabu ne Abiku ne beetwalira buli omu ekyoterezo kye, ne bateekamu omuliro, ne bassaako obubaane, ne bawaayo eri Mukama Katonda omuliro ogutali mutukuvu, ne basobya ekiragiro kye.

2Omuliro ne guva eri Mukama ne gubookya, ne bafiira awo mu maaso ga Mukama Katonda.

3Awo Musa nʼagamba Alooni nti, Kino Mukama Katonda kye yayogerako bwe yagamba nti, Alooni nʼasirika busirisi.

3“ ‘Nzija kweyolekanga nga bwe ndi omutukuvu eri abo abansemberera, era nassibwangamu ekitiibwa abantu bonna.’ ”

4Awo Musa nʼayita Misayeri ne Erizafani, abaana ba Wuziyeeri kitaawe omuto owa Alooni, nʼabagamba nti, “Mujje wano musitule emirambo gya baganda bammwe mugiggye wano awatukuvu mugitwale ebweru wʼolusiisira.”

5Bwe batyo ne bajja ne basitula baganda baabwe abo nga bwe baali bayambadde ne babatwala ebweru wʼolusiisira nga Musa bwe yabagamba.

6Awo Musa nʼagamba Alooni, ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani ba Alooni, nti, “Mmwe temusumulula nviiri zammwe okuzita ne zireebeeta era temuyuza byambalo byammwe nga mukungubaga, kubanga muyinza okufa, nʼobusungu bwa Mukama Katonda buyinza okubuubuukira abantu bonna. Naye baganda bammwe, ye nnyumba yonna eya Isirayiri, babakaabire abo Mukama Katonda bʼazikirizza nʼomuliro.

7Era temuva ku mulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, temulwa kufa; kubanga muliko amafuta agʼomuzeeyituuni ga Mukama Katonda agʼokwawula.” Ne bakola nga Musa bwe yabalagira.

8Awo Mukama Katonda nʼagamba Alooni nti,

9“Ggwe ne batabani bo bwe muyingiranga mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu temunywanga wayini oba ekyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza; bwe mulikikola temulirema kufa. Eryo linaabanga tteeka eryʼenkalakkalira ne mu mirembe gyonna egigenda okujja.

10Mwawulengamu ebitukuvu nʼebyabulijjo, ebirongoofu nʼebitali birongoofu;

11era kibasaanidde okuyigirizanga abaana ba Isirayiri amateeka gonna Mukama Katonda gʼabawadde ngʼagayisa mu Musa.”

12Awo Musa nʼagamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani ba Alooni abaali basigaddewo, nti, “Mutwale ekiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke ekyasigaddewo ku biweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda nga si kizimbulukuse, mukiriire okumpi nʼekyoto kubanga kitukuvu nnyo.

13Mukiriire mu kifo ekitukuvu, kubanga gwe mugabo gwo, era gwe mugabo gwʼabatabani bo, nga guva ku kiweebwayo eri Mukama Katonda ekyokebwa; bwe ntyo bwe ndagiddwa.

14Naye ekifuba ekiwuubibwa nʼekisambi ekiweebwayo munaabiriira mu kifo kyonna kye munaalaba ekirongoofu; mubirye, ggwe ne batabani bo ne bawala bo bʼoli nabo; kubanga bibaweereddwa ngʼomugabo gwammwe, ggwe nʼabaana bo, nga biva ku biweebwayo olwʼemirembe ebiweereddwayo abaana ba Isirayiri.

15Ekisambi ekiweereddwayo nʼekifuba ekiwuubibwa, binaaleetebwa awamu nʼamasavu agʼoku biweebwayo ebyokebwa, ne biwuubibwawuubibwa nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa awali Mukama, era kinaabeeranga mugabo gwo awamu ne batabani bo emirembe gyonna; nga Mukama Katonda bwʼalagidde.”

16Awo Musa nʼabuuliriza ebyali bifudde ku mbuzi eyʼekiweebwayo olwʼekibi, nʼavumbula nga baagyokezza dda, nʼanyiigira batabani ba Alooni abaali basigaddewo, Eriyazaali ne Isamaali, nʼababuuza nti,

17“Lwaki ekiweebwayo ekyo olwʼekibi temwakiriiridde, wali awatukuvu? Kitukuvu nnyo. Kyabaweereddwa kiryoke kiggyiseeko abantu bonna ebibi byabwe, nga mmwe mubatangiririra awali Mukama Katonda.

18Ngʼomusaayi gwayo bwe gutaatwaliddwa munda mu Kifo Ekitukuvu, embuzi eyo ddala mwandigiriiridde awo awatukuvu nga bwe nabalagira.”

19Awo Alooni nʼaddamu Musa nti, “Laba, olwa leero bawaddeyo eri Mukama Katonda ekiweebwayo olwʼebibi byabwe nʼekiweebwayo kyabwe ekyokebwa; naye era ebintu nga bino ne bingwako. Mukama Katonda yandisanyuse singa leero ndidde ekiweebwayo olwʼekibi?”

20Awo Musa bwe yawulira ebigambo ebyo nʼamatira.