Ebyabaleevi 12:1-8 LGCB2014 - Bible AI

1Mukama nʼagamba Musa nti,

2“Abaana ba Isirayiri bagambe nti, ‘Omukazi bwʼanaabanga olubuto, nʼazaala omwana nga wabulenzi, omukazi oyo taabenga mulongoofu okumala ennaku musanvu, okufaanana nga bwʼatabeera mulongoofu ngʼali mu kiseera kyʼokulwala kwʼabakazi okwa buli mwezi.

3 Ku lunaku olwʼomunaana omwana oyo omulenzi anaakomolebwanga.

4Ate omukazi anaalindanga ne wayitawo ennaku amakumi asatu mu ssatu alyoke atukuzibwe olwʼomusaayi ogwamuvaamu ngʼazaala. Taakwatenga ku kintu ekitukuvu wadde okuyingiranga mu watukuvu okutuusa ngʼennaku zʼokutukuzibwa kwe ziweddeko.

5Naye bwʼanaabanga azadde omwana wabuwala, omukazi taabenga mulongoofu okumala wiiki bbiri, nga bwʼabeera ngʼali mu kiseera kye ekyʼokulwala kwʼabakazi okwa buli mwezi. Ate anaalindanga ennaku nkaaga mu mukaaga alyoke alongoosebwe olwʼomusaayi ogwamuvaamu ngʼazaala.

6“ ‘Ennaku zʼomukazi oyo ezʼokutukuzibwa bwe zinaggwangako, bwʼanaabanga azadde omwana mulenzi oba muwala, anaaleetanga eri kabona ku mulyango gwʼEweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, omwana gwʼendiga oguwezezza omwaka gumu obukulu okuguwaayo ngʼekiweebwayo ekyokebwa, ngʼenjiibwa ento oba ejjiba ngʼekiweebwayo olwʼekibi.

7Kabona anaabiwangayo eri Mukama okutangirira omukazi oyo; bwʼatyo anaabeeranga mulongoofu olwʼomusaayi ogwamuvaamu ngʼamaze okuzaala.

7“ ‘Ago ge mateeka agakwata ku mukazi anaazaalanga omwana owoobulenzi oba owoobuwala.

8 Bwʼanaabanga tasobola kuwaayo mwana gwa ndiga, anaaleetanga bibiri bibiri ku bino: enjiibwa ento bbiri oba amayiba abiri, ekimu nga kyʼekiweebwayo ekyokebwa nʼekirala nga kyʼekiweebwayo olwʼekibi. Mu ngeri eno kabona anaamutangiririranga, bwʼatyo nʼafuuka mulongoofu.’ ”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>