Ebyabaleevi 13:1-59 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Mukama nʼagamba Musa ne Alooni nti,

2“Omuntu yenna bwʼanaabanga nʼakazimbye ku lususu lwʼomubiri gwe, oba awabutuse, oba awali akatulututtu, ne wafaanana ngʼawali endwadde eyʼebigenge, aleetebwenga eri Alooni kabona, oba eri omu ku batabani be bakabona.

3Kabona anaakeberanga ekifo ekyo awazimbye ku lususu, bwʼanaasanganga ngʼobwoya obuli awo awazimbye bufuuse bweru, ate nga awalwadde wennyise okusinga olususu lwʼomubiri gwʼomuntu oyo, ngʼolwo ebyo bigenge. Kabona bwʼanaamalanga okumukebera anaalangiriranga nti Omuntu oyo si mulongoofu.

4Naye awazimbye bwe wanaabanga walungudde, naye nga tewennyise okusinga olususu lwʼomubiri gwe, ate nga nʼobwoya mu wazimbye awo tebufuuse bweru, kabona anaasibiranga omuntu oyo omulwadde mu kalantiini okumala ennaku musanvu.

5Ku lunaku olwʼomusanvu kabona anaakeberanga omuntu oyo; bwʼanaasanganga ngʼawazimbye teweeyongedde, era nga nʼobulwadde obwo tebusaasaanye ku lususu, anaayongeranga okumusibira mu kalantiini ennaku endala musanvu.

6Ku lunaku olwʼomusanvu kabona anaddangamu okumukebera, kale bwʼanaasanganga ngʼobuzimbu tebukyalabika nnyo, era obulwadde obwo nga tebusaasaanye ku lususu, anaamulangiriranga nti Mulongoofu; kubanga kubadde kubutuka bubutusi. Omuntu oyo anaayozanga engoye ze, era anaabanga mulongoofu.

7Naye okubutuka okwo bwe kunaasaasaananga ku lususu oluvannyuma lwʼokweyanjula eri kabona amulangirire nti mulongoofu, anaateekwanga okuddayo eri kabona yeeyanjule buto.

8Kabona anaamukeberanga, bwʼanaasanganga ngʼokubutuka kusaasaanye ku lususu ku mubiri, kabona anaamulangiriranga nti Si mulongoofu; ngʼebyo bigenge.

9“Omuntu yenna bwʼanaakwatibwanga ebigenge, anaaleetebwanga eri kabona.

10Kabona anaamukeberanga, bwʼanaasangangawo obuzimbu obweru ku lususu nga bwerusizza nʼobwoya, era awazimbye nga waliwo nʼennyama yʼomubiri erungudde,

11ebyo binaabanga bigenge ebyʼolutentezi ku lususu lwʼomubiri gwʼomuntu oyo, era kabona anaamulangiriranga nti Si mulongoofu. Taasibibwenga mu kalantiini, kubanga amaze okutegeererwawo nga bwʼatali mulongoofu.

12“Naye singa ebigenge bisaasaana ku lususu ne bituuka wonna wonna okuva ku mutwe gwʼomuntu oyo okutuuka ku bigere nga kabona bwʼasobola okulaba,

13kale kabona anaakeberanga omuntu oyo; bwe kinaazuulibwanga ngʼebigenge bibunye omubiri gwʼomuntu oyo gwonna, anaamulangiriranga nga bwʼali omulongoofu; kubanga omubiri gwe gwonna gufuuse mweru, oyo mulongoofu.

14Naye ku lususu lwʼomuntu oyo bwe kunaalabikangako ennyama erungudde taabenga mulongoofu.

15Kabona anaakeberanga ennyama eyo erungudde, nʼamulangirira nga bwʼatali mulongoofu. Ennyama erungudde si nnongoofu, kubanga bigenge.

16Naye singa ennyama erungudde ekyuka nʼefuuka enjeru, omuntu oyo anajjanga eri Kabona.

17Kabona anaamukeberanga, bwʼanaazuulanga ngʼolususu olulwadde lufuuse lweru, anaalangiriranga omulwadde oyo okuba omulongoofu; bwʼatyo anaabanga mulongoofu.

18“Omuntu bwʼanaabanga alwadde ejjute ku lususu lwe, naye ne liwona,

19kyokka mu kifo awaali ejjute ne wajjawo obuzimbu obweru oba akatulututtu akatwakaavu, wasaana walagibwe kabona.

20Kabona anaakeberangawo, bwʼanaasanganga nga wennyise okusinga olususu, nga nʼobwoya bwawo bufuuse bweru; kale kabona analangiriranga omuntu oyo nga bwʼatali mulongoofu. Obwo bulwadde bwa bigenge ebifulumidde awo awaali ejjute.

21Naye kabona bwʼanaakeberangawo, nʼasanga ngʼobwoya obuliwo si bweru, ate nga tewennyise okusinga olususu era nga tewakyalabika nnyo, kale kabona anaasibanga omuntu oyo mu kalantiini okumala ennaku musanvu.

22Naye obulwadde obwo bwe bunaasaasaananga ku lususu, kale kabona analangiriranga omuntu oyo nti Si mulongoofu, ebyo nga bigenge.

23Naye obuzimbu bwe bunaasigalanga mu kifo kimu ne butasaasaana, eyo eneebanga nkovu ya jjute, era kabona anaalangiriranga omuntu oyo nti Mulongoofu.

24“Singa wabaawo ku lususu lwʼomuntu awayidde omuliro, awo awali ennyama eyidde ne wazimba, ne wafuuka watwakaavu oba weeru,

25kabona anaakeberangawo, obwoya bwawo bwe bunaabanga bufuuse bweru, ate nga walabika ngʼawennyise okusinga olususu, ebyo nga bigenge bye bifulumye ku lususu oluyidde. Kabona anaalangiriranga omuntu oyo nti Si mulongoofu; ebyo binaabanga bigenge.

26Naye kabona bwʼanaakeberanga awo awayidde, nʼasanga ngʼobwoya obuliwo si bweru, era nga tewennyise kusinga lususu, naye nga tewakyalabika nnyo, kabona anaasibiranga omuntu oyo mu kalantiini okumala ennaku musanvu.

27Ku lunaku olwʼomusanvu kabona anaamukeberanga, kale bwʼanaasanganga ngʼobulwadde busaasaana ku lususu, kabona anaamulangiriranga nti Si mulongoofu; ebyo nga bigenge.

28Naye obulwadde bwe bunaasigalanga mu kifo ekimu ne butasaasaana ku lususu, era ngʼawazimbu tewakyalabika nnyo, buno bunaabanga buzimbu obuleeteddwa omuliro ogwayokyawo; kale kabona anaamulangiriranga nti Mulongoofu; kubanga eyo yʼenkovu ku lususu awaayokebwa omuliro.

29“Omusajja oba omukazi bwʼanaalwalanga ebbwa ku mutwe oba ku kalevu,

30kabona anaakeberanga ebbwa eryo, bwe linaabanga lyennyise okusinga olususu, nga nʼobwoya obulirimu bwa kyenvu ate nga bwa matalaga; kale kabona anaamulangiriranga nti Si mulongoofu; eryo nga lye bbwa erisiiwa, nga bye bigenge ebyʼoku mutwe oba ebyʼoku kalevu.

31Kabona bwʼanaakeberanga ebbwa erisiiwa, nʼasanga nga teryennyise kuyisa lususu, ate nga mu lyo nga temuliimu bwoya buddugavu, kale kabona anaasibiranga omuntu oyo alina ebbwa erisiiwa mu kalantiini amalemu ennaku musanvu.

32Ku lunaku olwʼomusanvu kabona anaakeberanga ebbwa eryo, bwʼanaasanganga ngʼokusiiwa tekusaasaanye, ate nga mu bbwa temuliimu bwoya bwa kyenvu, era ngʼawasiiwa tewennyise kusinga lususu,

33omuntu oyo asaananga amwebwe okuggyako awo awalwadde wokka; ate kabona anaamusibiranga mu kalantiini ennaku endala musanvu.

34Ku lunaku olwʼomusanvu kabona anaakeberanga awo awasiiwa, okusiiwa bwe kunaabanga tekusaasaanye ku lususu, ate nga tewennyise kusinga lususu, kale, kabona anaalangiriranga omuntu oyo nga bwʼali omulongoofu; era omuntu oyo anaayozanga engoye ze nʼabeera mulongoofu.

35Naye okusiiwa bwe kunaasaasaananga ku lususu ngʼamaze okulongooka,

36kabona anaayongeranga okumukebera, bwʼanaasanganga ngʼokusiiwa kusaasaanye ku lususu, kabona taanoonyenga bwoya bwa kyenvu mu bbwa eryo; omuntu oyo si mulongoofu.

37Naye mu kulaba kwa kabona, okusiiwa bwe kunaabanga tekweyongedde, nga nʼobwoya obwa kyenvu bukuze mu bbwa, olwo ngʼokusiiwa kuwonye, era omuntu oyo nga mulongoofu era kabona naye anaamulangiriranga nti Mulongoofu.

38“Omusajja oba omukazi bwʼanaabanga nʼobutulututtu obweru ku mubiri gwe,

39kabona anaamukeberanga, bwʼanaasanganga ngʼobutulututtu bweruyeru, okwo kuba kubutukabutuka okuyiise ku lususu lwʼomuntu oyo, ye aba mulongoofu.

40“Omusajja bwʼanaakuunyuukangako enviiri ze ku mutwe gwe zonna, anaabeeranga kyemwa, naye nga mulongoofu.

41Era omusajja bwʼanaakuunyuukangako enviiri ze ezʼomu maaso nga ku kyenyi, oyo anaabanga wa kiwalaata ekyʼomu bwenyi, kyokka nga mulongoofu.

42Naye mu mutwe omutali nviiri oba mu kiwalaata ekyʼomu bwenyi bwe munaabangamu akafo akalwadde ebbwa nga kalungudde keeruyeru nga kalimu obumyufumyufu, ebyo nga bigenge bye bifulumye mu mutwe ogutaliimu nviiri oba mu kiwalaata ekyʼomu bwenyi.

43Kale kabona anaakeberanga omuntu oyo, bwʼanaasanganga ngʼakafo ako awalwadde ebbwa era awazimbye mu mutwe oguweddemu enviiri oba mu kiwalaata ekiri mu bwenyi, nga kalungudde era nga weeruyeru nga kalimu obumyufumyufu, nga walabika ngʼebigenge bwe biba nga biri ku lususu olwʼomubiri,

44omuntu oyo anaabanga mugenge, nga si mulongoofu. Kabona anaamulangiriranga nga bwʼatali mulongoofu, olwʼobulwadde obwo mu mutwe gwe.

45“Omuntu anaalwalanga ebigenge anaayambalanga engoye njulifu, nʼenviiri zʼoku mutwe gwe anaazirekanga ne zikula ne ziduumuuka, anaabikkanga ku mumwa gwe ogwʼengulu nʼatambula nga bwʼaleekaana nti, ‘Siri mulongoofu! Siri mulongoofu!’

46Ebbanga lyonna omuntu lyʼanaamalanga ngʼalina obulwadde obwo anaabeeranga si mulongoofu. Anaasulanga yekka mu nnyumba ye ebweru wʼolusiisira.

47“Obulwadde bwʼebigenge bwe bunaalabikanga mu byambalo byʼomusajja oba ebyʼomukazi, ebyambalo ebyo nga bikoleddwa mu byoya byʼendiga oba mu bafuta oba maliba,

48oba mu nfunyiro ne mu ntabiro zʼebyambalo byʼebyoya byʼendiga, oba mu bafuta oba mu maliba, oba mu kyambalo ekya buli ngeri yonna ekitungiddwa mu maliba;

49era obulwadde obwo bwe bunaalabikanga nga bwa langi ya kiragalalagala oba myufumyufu, nga buli mu kyambalo oba mu nfunyiro oba mu ntabiro zaakyo, oba mu kyambalo kyonna ekitungiddwa mu maliba; obwo nga bulwadde bwa bigenge, era bunaalagibwanga kabona.

50Kabona anaakeberanga obulwadde obwo, anaasibiranga ekintu ekyo omuli obulwadde mu kalantiini okumala ennaku musanvu.

51Ku lunaku olwʼomusanvu kabona anaakeberanga obulwadde obwo. Bwʼanaasanganga ngʼobulwadde obwo bauaasanye mu kyambalo, mu nfunyiro oba mu butungiro oba mu maliba, oba mu kyonna ekitungiddwa mu maliba, ngʼamanya ngʼobulwadde obwo bwa bigenge ebitta nʼomuntu; ekyo ekyambalo nga si kirongoofu.

52Kabona anaayokyanga ebyambalo ebyo, obanga obulwadde buli mu nfunyiro oba mu ntabiro ezʼebyambalo ebya bafuta oba ebyʼebyoya byʼendiga, oba ebirala byonna ebitungiddwa mu maliba, kubanga obwo bwe bulwadde bwʼebigenge ebittira ddala. Ebyambalo ebyo binaayokebwanga mu muliro.

53“Kabona bwʼanaabanga akebedde ekyambalo ekirimu obulwadde, nʼasanga nga tebusaasaanye mu kyambalo, ne mu nfunyiro zaakyo, oba ne mu ntabiro, oba ne mu kyonna ekitungiddwa mu maliba,

54kale kabona anaalagiranga ne bayoza ekyambalo ekyo omuli obulwadde, nʼayongera okukisibira mu kalantiini ennaku endala musanvu.

55Awo kabona anaakeberanga ekyambalo ekyo ekyoze, bwʼanaasanganga ngʼerangi yʼakafo awali obulwadde tekyuse, newaakubadde ngʼobulwadde tebusaasaanye, ekyambalo ekyo nga si kirongoofu. Mukyokyanga mu muliro, awali ebigenge ne bwe wanaabanga mu kyambalo mu maaso oba mu mabega gaakyo.

56Naye kabona bwʼanaakeberanga nʼasanga nga bwe bamaze okwoza ekyambalo, akafo ako awali obulwadde tekakyalabika nnyo, akafo ako anaakayuzangamu mu kyambalo ekyo, oba mu ddiba oba mu kiruke kyonna ekyambalwa.

57Naye obulwadde obwo bwe bunaalabikanga nate mu kyambalo, oba mu kyambalo ekyʼeddiba oba ekiruke, nga busaasaanye, kale munaayokyanga mu muliro ekyambalo ekyo omuli obulwadde.

58Naye mu kyambalo kyonna, oba ekyambalo ekyʼeddiba oba ekiruke, obulwadde bwe buggwangamu nga kimaze okwozebwa, kale kinaayozebwanga omulundi ogwokubiri, ne kiba kirongoofu.”

59Eryo lye tteeka eryʼobulwadde bwʼebigenge mu byambalo byʼebyoya byʼendiga, oba linena, oba ebiruke obulusi, oba ebitunge mu maliba mu ngeri ezitali zimu, erinaasinziirwangako okulangirira obanga ekyambalo kirongoofu oba si kirongoofu.