1Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,
2
3Kabona anaafulumanga nʼagenda ebweru wʼolusiisira nʼakebera omuntu oyo. Awo bwʼanaasanganga ngʼobulwadde bwʼebigenge
4kabona anaalagiranga okuleetera omuntu oyo agenda okufuulibwa omulongoofu, ebinyonyi bibiri ebiramu ebirongoofu, nʼomuti omwerezi, nʼoluwuzi olumyufu, nʼezobu.
5Kabona anaalagiranga okuttira emu ku nnyonyi ziri ebbiri waggulu wʼamazzi amalungi agali mu luggyo.
6Anaddiranga ennyonyi ennamu, awamu nʼomuti omwerezi, nʼoluwuzi olumyufu, nʼezobu, byonna ebyo nʼabinnyika mu musaayi gwʼennyonyi enettirwanga waggulu wʼamazzi amalungi.
7Anaamansiranga omusaayi emirundi musanvu ku oyo omulwadde wʼebigenge agenda okufuulibwa omulongoofu; era anaamulangiriranga nti Mulongoofu. Ekinyonyi kiri ekiramu, kabona anaakirekanga nʼekibuuka nʼekigenda.
8Omuntu oyo anaabanga agenda okufuulibwa omulongoofu anaayozanga engoye ze, nʼamwako enviiri ze, nʼanaaba mu mazzi, nʼabeera mulongoofu. Ebyo nga biwedde anaayingiranga mu lusiisira, naye ajjanga kumala ennaku musanvu ngʼasula bweru wa weema ye.
9Ku lunaku olwʼomusanvu omuntu oyo anaayongeranga okumwa ku mutwe gwe enviiri ze zonna, anaamwangako nʼebirevu bye, nʼebisige bye, nʼobwoya obulala bwonna obumwebwa. Ate anaayozanga engoye ze, nʼanaaba omubiri gwe gwonna mu mazzi, bwʼatyo nʼafuuka mulongoofu.
10“Ku lunaku olwʼomunaana anaaleetanga abaana bʼendiga abalume babiri abataliiko kamogo, nʼomwana gwʼendiga omuluusi nga gwa mwaka gumu ogwʼobukulu, nʼaleeterako nʼobuwunga obulungi obwʼemmere eyʼempeke obuweza kilo ssatu obwʼekiweebwayo, ngʼabutabudde mu mafuta, nʼaleeterako nʼebbakuli yʼamafuta agʼomuzeeyituuni eweza desimoolo ssatu eza lita.
11Awo kabona owʼokulangiriranga omuntu oyo okuba omulongoofu, anaamuleetanga, awamu nʼebiweebwayo bye, awali Mukama Katonda mu mulyango gwʼEweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.
12Awo kabona anaddiranga omu ku baana bʼendiga omulume nʼaguwaayo awamu nʼepakuli yʼamafuta agʼomuzeeyituuni, ngʼekiweebwayo olwʼomusango, anaabiwuubanga ngʼekiweebwayo eri Mukama Katonda ekiwuubibwawuubibwa.
13Omwana gwʼendiga ogwo anaaguttiranga mu kifo ekitukuvu, ekiweebwayo olwʼekibi nʼekiweebwayo ekyokebwa we bittirwa. Okufaanana ngʼekiweebwayo olwʼekibi, ekiweebwayo olwʼomusango nakyo kinaabanga kya kabona; nga kitukuvu nnyo.
14Awo kabona anaatoolanga ku musaayi ogwʼekiweebwayo olwʼomusango nʼagusiiga ku lukugiro lwʼokutu okwa ddyo okwʼoyo anaabeeranga azze okufuulibwa omulongoofu, ne ku kinkumu ekyʼengalo eyʼomukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja ekyʼoku kugulu kwe okwa ddyo.
15Kabona anaddiranga ku mafuta agʼomuzeeyituuni agʼomu pakuli nʼagafukako mu kibatu kyʼomukono gwe ogwa kkono,
16anannyikanga olunwe lwe olwa ddyo mu mafuta agʼomuzeeyituuni agali mu kibatu kyʼomukono gwe ogwa kkono, nʼamansira nʼolunwe lwe ku mafuta agʼomuzeeyituuni emirundi musanvu awali Mukama Katonda.
17Kabona anaddiranga agamu ku mafuta agʼomuzeeyituuni aganaabanga gasigadde mu kibatu kye nʼagasiiga ku lukugiro lwʼokutu kwʼoyo anaabeeranga azze okufuulibwa omulongoofu, ne ku kinkumu kyʼengalo eyʼomukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja ekyʼoku kugulu kwe okwa ddyo, ngʼagasiiga kungulu ku musaayi ogwʼekiweebwayo olwʼomusango.
18Kabona anaddiranga amafuta agʼomuzeeyituuni aganaabanga gasigadde mu kibatu kye nʼagasiiga mu mutwe gwʼoyo ajja okufuulibwa omulongoofu, nʼamutangiririra awali Mukama.
19Kabona anaawangayo ekiweebwayo olwʼekibi, atangiririre oyo atali mulongoofu ajja okufuulibwa omulongoofu. Oluvannyuma kabona anattanga ekiweebwayo ekyokebwa,
20nʼakiwaayo ku kyoto awamu nʼekiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke. Bwʼatyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo, nʼafuuka mulongoofu.”
21“Naye omuntu oyo bwʼanaabanga omwavu ngʼebyo byonna tabisobola, anaaleetanga omwana gwʼendiga omulume gumu okuba ekiweebwayo olwʼomusango, ne kiwuubibwa okumutangiririranga, okwo nʼagattirako ne kimu kya kkumi ekya efa
22nʼamayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri, ngʼokufuna kwe bwe kunaamusobozesanga; emu eneebanga ya kiweebwayo olwʼekibi, endala nga ya kiweebwayo ekyokebwa.
23Ebyo byonna ebyʼokumufuula omulongoofu anaabireetanga eri kabona ku lunaku olwʼomunaana, ku mulyango gwʼEweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, awali Mukama.
24Kabona anaddiranga omwana gwʼendiga ogwʼekiweebwayo olwʼomusango, nʼepakuli yʼamafuta agʼomuzeeyituuni, nʼabiwuuba nga kye kiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa awali Mukama.
25Kabona anattanga omwana gwʼendiga ogwʼekiweebwayo olwʼomusango; nʼaddira ogumu ku musaayi ogwʼekiweebwayo olwʼomusango, nʼagusiiga ku lukugiro lwʼokutu okwa ddyo okwʼoyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu, era ne ku kinkumu ekyʼengalo eyʼomukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja ekyʼoku kugulu kwe okwa ddyo.
26Kabona anaafukanga agamu ku mafuta mu kibatu kyʼomukono gwe ogwa kkono,
27nʼamansira nʼolunwe lwe olwa ddyo agamu ku mafuta ago agali mu kibatu kyʼomukono gwe ogwa kkono, emirundi musanvu awali Mukama.
28Era kabona anaasiiganga agamu ku mafuta agʼomuzeeyituuni agali mu kibatu kyʼomukono gwe ku lukugiro lwʼokutu okwa ddyo okwʼoyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu, ne ku kinkumu ekyʼengalo eyʼomukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja ekyʼoku kugulu kwe okwa ddyo, ngʼagasiiga kungulu ku musaayi ogwʼekiweebwayo olwʼomusango.
29Kabona anaddiranga amafuta agʼomuzeeyituuni aganaabanga gasigadde mu kibatu kye, nʼagasiiga ku mutwe gwʼoyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu, okumutangiririra eri Mukama.
30Era anaawangayo, ngʼobusobozi bwe gye bunaakomanga, amayiba oba enjiibwa ento,
31ekinyonyi ekimu ngʼekiweebwayo olwʼekibi nʼekyokubiri ngʼekiweebwayo ekyokebwa, ngʼagattirako nʼekiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke. Kabona anaamutangiririranga oyo anaabanga azze okufuulibwa omulongoofu eri Mukama.
32Ago ge mateeka aganaagobererwanga omuntu omugenge anaabanga tasobola biweebwayo ebya bulijjo, alyoke afuuke omulongoofu.”
33Mukama nʼagamba Musa ne Alooni nti,
34“Bwe muliyingira mu nsi ya Kanani gye mbawadde okugirya, ne musanga nga ntadde ebigenge mu emu ku nnyumba ezʼomu nsi eyo,
35kale, oyo anaabanga nannyini nnyumba eyo anajjanga nʼategeeza kabona nti, ‘Mu nnyumba yange mufaanana ngʼomuli obulwadde.’
36Kabona anaalagiranga ne bafulumya ebintu byonna ebiri mu nnyumba ne babimalamu, nga tannaba kuyingiramu kukebera obulwadde obwo nga bwe buli, si kulwa nga byonna ebiri mu nnyumba biyitibwa ebitali birongoofu. Ekyo nga kiwedde kabona anaayingiranga mu nnyumba nʼagikebera.
37Anaanoonyanga obulwadde we buli; bwʼanaabusanganga ku bisenge byʼennyumba eyo, nga kuliko amabala aga kiragalalagala oba amamyukirivu, era nga galabika gayingidde munda mu mubiri gwʼekisenge,
38olwo kabona anaafulumanga mu nnyumba eyo, nʼagiggala okumala ennaku musanvu.
39Ku lunaku olwʼomusanvu kabona anaakomangawo nʼakebera ennyumba eyo. Bwʼanaasanganga ngʼobulwadde busaasaanidde ku bisenge byʼennyumba eyo,
40kale, anaalagiranga ne basokoola mu bisenge amayinja gonna agaliko obulwadde ne bagasuula ebweru wʼekibuga mu kifo ekitali kirongoofu.
41Era anaalagiranga ebisenge byonna ebyʼomu nnyumba eyo ne bikalakatibwa, ebintu byonna ebikalakatibbwako ne bisuulibwa ebweru wʼekibuga mu kifo ekitali kirongoofu.
42Era banaddiranga amayinja amalala ne bagazimba mu bifo byʼagali agaggyibwamu, ne batabula bulungi omusenyu, ennyumba yonna nʼekubibwa omusenyu.
43“Singa obulwadde buddamu okuzuuka, oluvannyuma lwʼennyumba okugiggyamu amayinja gali, nʼokugikalakata era nʼokugikubako omusenyu omuggya,
44kale, kabona anaagendangayo ne yeetegereza; bwʼanaasanganga ngʼobulwadde busaasaanye mu nnyumba, ngʼebyo bigenge bye biri mu nnyumba, era nga si nnongoofu.
45Anaalagiranga ennyumba eyo nʼemenyebwawo, amayinja gaayo nʼembaawo zaayo nʼomusenyu ogwagikubwako, byonna binaasitulwanga ne bisuulibwa ebweru wʼekibuga mu kifo ekitali kirongoofu.
46Ennyumba eyo bwʼeneebanga tennamenyebwawo, omuntu yenna anaayingiranga mu nnyumba eyo mu kiseera kyʼeneemalanga nga nzigale anaabanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
47Nʼomuntu yenna anaasulanga mu nnyumba eyo oba anaaliirangamu, anaayozanga engoye ze.
48“Naye kabona bwʼanajjanga nʼakebera mu nnyumba eyo ngʼemaze okukubibwako omusenyu, nʼasanga ngʼobulwadde tebwasaasaana; kale, kabona anaalangiriranga ngʼennyumba eyo bwʼeri ennongoofu, kubanga olwo ngʼobulwadde bugenze.
49Okufuula ennyumba ennongoofu kabona anaddiranga ebinyonyi bibiri nʼakabaawo kʼomuti omwerezi, nʼekiwero ekimyufu nʼezobu.
50Anattiranga ekimu ku binyonyi mu mazzi amalungi mu kibya ekyʼebbumba.
51Awo anaddiranga akabaawo kʼomuti omwerezi nʼezobu, nʼekiwero ekimyufu, nʼekinyonyi ekikyali ekiramu, nʼabinnyika mu musaayi gwʼekinyonyi ekyattiddwa ne mu mazzi amalungi, nʼalyoka amansira ennyumba yonna emirundi musanvu.
52Ennyumba anaagifuulanga ennongoofu nʼomusaayi gwʼakanyonyi, nʼamazzi amalungi, nʼakanyonyi akalamu, nʼakabaawo kʼomuti omwerezi, nʼezobu nʼekiwero ekimyufu.
53Awo nʼafulumya ekinyonyi ekiramu ebweru wʼekibuga nʼakiteera eyo ne kibuuka ne kigenda. Mu ngeri eyo anaatangiririranga ennyumba eyo era eneebanga nnongoofu.”
54Ago ge mateeka aganaagobererwanga ku bulwadde bwʼebigenge, omubiri ogusiiwa,
55ebigenge mu ngoye oba mu nnyumba,
56oba okubutukabutuka, oba obutulututtu,
57okusinziirako okutegeera obanga ekintu kirongoofu oba si kirongoofu. Ago ge mateeka ku bigenge.