Ebyabaleevi 15:1-33 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Mukama nʼagamba Musa ne Alooni nti,

2“Mugambe abaana ba Isirayiri nti Omusajja yenna bwʼanaavangamu ebitonnya mu bitundu bye ebyekyama, ebimuvaamu ebyo binaabanga ebitali birongoofu.

3Era lino lyʼetteeka eryʼobutali bulongoofu bwe obuleeteddwa ebyo ebimuvaamu: obanga bitonnya obutasalako, obanga birekeddaawo, bunaabanga obutali bulongoofu mu musajja oyo.

4“Buli kitanda omusajja oyo alina ebimuvaamu kyʼanaasulangako kinaabanga si kirongoofu, ne buli kintu kyʼanaatuulangako kyonna kinaabanga si kirongoofu.

5Omuntu yenna anaakwatanga ku kitanda kyʼomusajja oyo naye anaafuukanga atali mulongoofu okutuusiza ddala akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze nʼokunaaba mu mazzi.

6Omuntu yenna anaatuulanga ku kintu kyonna omusajja oyo alina ebimuvaamu kwʼanaabanga amaze okutuula, anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze nʼokunaaba mu mazzi.

7Era omuntu yenna anaakwatanga ku musajja oyo alina ebimuvaamu, anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze nʼokunaaba mu mazzi.

8Omusajja oyo alina ebimuvaamu bwʼanaawandanga amalusu ku muntu omulongoofu, omuntu oyo anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze nʼokunaaba mu mazzi.

9Era nʼamatandiiko gonna omusajja oyo alina ebimuvaamu kwʼaneebagaliranga ganaabanga agatali malongoofu,

10era nʼomuntu anaakwatanga ku kintu ekirala kyonna ekinaabanga wansi wʼomusajja oyo anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze nʼokunaaba mu mazzi.

11Omuntu yenna, omusajja oyo alina ebimuvaamu gwʼanaakwatangako nga tasoose kunaaba mu ngalo mu mazzi anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze nʼokunaaba mu mazzi.

12Ekibumbe kyonna ekikozesebwa mu maka bwe kinaakwatibwangako omusajja oyo alina ebimuvaamu kinaayasibwanga, na buli ekikozesebwa mu maka ekyʼomuti kinaanaazibwanga mu mazzi.

13“Omusajja anaabanga alina ebimuvaamu bwʼanaafuulibwanga omulongoofu, aneebaliranga ennaku musanvu ezʼokufuulibwa omulongoofu; anaateekwanga okwoza engoye ze nʼokunaaba omubiri gwe mu mazzi amayonjo agakulukuta, bwʼatyo anaafuukanga mulongoofu.

14Ku lunaku olwʼomunaana kinaamusaaniranga okuddira amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri nʼajja awali Mukama mu mulyango gwʼEweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu nʼabikwasa kabona.

15Kabona anaabiwangayo, ekimu nga kye kiweebwayo olwʼekibi nʼekirala nga kye kiweebwayo ekyokebwa. Mu ngeri eyo kabona anaatangiririranga omusajja oyo olwʼebimuvaamu eri Mukama.

16“Omusajja bwʼanaavangamu amazzi gʼobusajja anaateekwanga okunaaba omubiri gwe nʼamazzi, era anaasigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.

17Buli lugoye olwambalwa oba eddiba nga kuliko amazzi gʼobusajja, binaateekwanga okwozebwa mu mazzi, era binaabanga ebitali birongoofu okutuusa akawungeezi.

18Omusajja bwʼaneebakanga nʼomukazi, ne wabaawo amazzi gʼobusajja agafulumizibbwa, bombi banaanaabanga mu mazzi agatukula, era banaabeeranga abatali balongoofu okutuusa akawungeezi.”

19“Omukazi bwʼanaavangamu omusaayi ngʼempisa ye eya bulijjo eya buli mwezi bwʼeba, anaabeeranga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu, ne buli anaamukwatangako anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.

20Mu bbanga eryo ngʼomukazi oyo si mulongoofu buli kintu kyonna kyʼanaagalamirangako kinaabanga ekitali kirongoofu, ne buli kintu kyonna kyʼanaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu.

21Era buli anaakwatanga ku kitanda kye kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, nʼokunaaba mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.

22Buli anaakwatanga ku kintu kyonna omukazi oyo kyʼatuulako, anaateekwanga okwoza engoye ze nʼokunaaba omubiri gwe mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.

23Bwe kinaabanga ekitanda oba ekintu ekirala kyonna omukazi oyo kyʼanaabanga atuddeko, omuntu bwʼanaakikwatangako anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.

24Omusajja bwʼaneebakanga nʼomukazi oyo, omusaayi gwʼomukazi ogumuvaamu ogwa buli mwezi ne gumutonnyako, anaabeeranga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu; nʼekitanda kwʼanaagalamiranga nakyo kinaabanga ekitali kirongoofu.

25“Omukazi bwʼanaavangamu omusaayi okumala ennaku nnyingi mu biseera ebitali ebyo ebya buli mwezi nga bwe kiba bulijjo, oba bwʼanaavangamu omusaayi okumala ennaku ezisukka ku za bulijjo eza buli mwezi, anaabeeranga atali mulongoofu mu bbanga lyʼanaamalanga ngʼavaamu omusaayi, nga mu biseera bye ebya buli mwezi.

26Buli kitanda kyʼanaagalamirangako ngʼomusaayi gukyamuvaamu kinaabeeranga ekitali kirongoofu, ngʼekitanda kye bwe kiba mu biseera bye ebya buli mwezi ebyʼokuvaamu omusaayi, era ne buli kintu kyʼanaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu nga bwe kiba mu biseera bye ebya buli mwezi.

27Buli muntu anaakwatanga ku bintu ebyo anaabeeranga atali mulongoofu; kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, nʼokunaaba omubiri gwe mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.

28Naye omukazi oyo avaamu omusaayi bwʼanaafuulibwanga omulongoofu, aneebaliranga ennaku musanvu, Nʼoluvannyuma lwazo anaabeeranga mulongoofu.

29Ku lunaku olwʼomunaana kinaamusaaniranga okuddira amayiba abiri, oba enjiibwa ento bbiri nʼajja awali Mukama ku mulyango gwʼEweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu nʼabikwasa kabona.

30Kabona anaawangayo ekimu nga kye kiweebwayo olwʼekibi, nʼekirala nga kye kiweebwayo ekyokebwa. Mu ngeri eyo kabona anaatangiriranga omukazi oyo eri Mukama olwʼekitali kirongoofu ekimuvaamu.

31“Bwe mutyo bwe munaakugiranga abaana ba Isirayiri balemenga okusemberera ebintu ebibafuula abatali balongoofu, balemenga okufa olwʼobutali bulongoofu bwabwe okuboonoonyesa Eweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu eri wakati mu bo.

32“Ago ge mateeka ku musajja alina ebimuvaamu mu bitundu bye ebyʼekyama, nʼoyo avaamu amazzi gʼobusajja;

33ne ku mukazi anaavangamu omusaayi ngʼempisa yʼabakazi eya bulijjo eya buli mwezi bwʼeba. Amateeka ago ganaakwatanga ku musajja oba ku mukazi alina ebimuvaamu, ne ku musajja aneebakanga nʼomukazi atali mulongoofu.”