1Awo Mukama nʼayogera ne Musa, abaana ba Alooni ababiri bwe baali bamaze okufa olwokubanga baasemberera Mukama.
2
3Naye Alooni bwʼanaabanga ajja mu kifo Awatukuvu anaaleetanga ennyana ennume olwʼekiweebwayo olwʼekibi, nʼendiga ennume olwʼekiweebwayo ekyokebwa.
4Anaayambalanga ekkooti entukuvu eya bafuta, ne munda ku mubiri gwe anaasookangako empale eya bafuta, nga yeesibye olukoba olwa bafuta, ne ku mutwe ngʼasibyeko ekitambaala ekya bafuta. Ebyambalo ebyo bitukuvu, noolwekyo kimusaaniranga okusooka okunaaba omubiri gwe mu mazzi nga tannabyambala.
5Era anaggyanga mu baana ba Isirayiri embuzi ennume bbiri nga za kiweebwayo olwʼekibi, nʼendiga emu nga ya kiweebwayo ekyokebwa.
6“Alooni anaawangayo ennyana ennume nga ya kiweebwayo kye olwʼekibi alyoke yeetangiririre awamu nʼabʼomu maka ge.
7Era anaddiranga embuzi ebbiri nʼazireeta eri Mukama mu mulyango gwʼEweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.
8Embuzi ebbiri Alooni anaazikubirangako obululu; akalulu akamu nga ka kugwa ku mbuzi ya Mukama, nʼakalala nga ka kugwa ku mbuzi enessibwangako omusango.
9Alooni anaddiranga embuzi akalulu ka Mukama kwe kanaagwanga, nʼagiwaayo okubeera ekiweebwayo olwʼokwonoona.
10Naye embuzi eneegwangako akalulu akʼokugissibyako omusango, eneeweebwangayo eri Mukama nga nnamu, nʼeteebwa nʼeddukira mu ddungu mu kifo Azazeri ngʼesibiddwako omusango olwʼokutangirira.
11“Alooni anaawangayo ennyana eyo ennume nga ya kiweebwayo kye olwʼekibi, alyoke yeetangiririre awamu nʼabʼomu maka ge; ennyana eyo ennume anaagittanga nga kye kiweebwayo kye olwʼekibi.
12Anaddiranga ekyoterezo kyʼobubaane nga kijjudde amanda gʼomuliro nga gavudde ku kyoto eri Mukama, nʼembatu bbiri ezʼobubaane obwʼakaloosa obumerunguddwa obulungi, nʼabireeta munda wʼeggigi.
13Anassanga obubaane ku muliro eri Mukama, nʼomukka ogunaavanga mu bubaane gunaabikkanga entebe eyʼokusaasira eri kungulu wʼEssanduuko eyʼEndagaano, alyoke aleme okufa.
14Anaddiranga ku musaayi ogwʼennyana eyo ennume nʼagumansira nʼolunwe lwe ku ludda olwʼebuvanjuba olwʼentebe eyʼokusaasira; era omusaayi ogumu anaagumansiranga nʼolunwe lwe emirundi musanvu mu maaso gʼentebe eyʼokusaasira.
15“Era anattanga embuzi eyʼekiweebwayo kyʼabantu olwʼekibi, nʼatwala omusaayi gwayo munda wʼeggigi nʼagukola nga bwe yakola omusaayi gwʼennyana ennume; anaagumansiranga ku ntebe eyʼokusaasira ne mu maaso gaayo.
16Mu ngeri eyo anaatangiririranga Ekifo ekyʼAwatukuvu Ennyo olwʼobutali bulongoofu nʼobujeemu ebyʼabaana ba Isirayiri, nʼolwʼebyonoono byabwe ebirala byonna nga bwe byali. Era anaakolanga bwʼatyo ne ku Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu eri mu bo wakati mu butali bulongoofu bwabwe.
17Mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu temuubengamu muntu nʼomu Alooni bwʼanaayingirangamu okutangiririra Ekifo ekyʼAwatukuvu Ennyo, okutuusa lwʼanaafulumanga ngʼamaze okwetangiririra awamu nʼabʼomu maka ge, nʼekibiina kyonna ekya Isirayiri.
18Era anaafulumanga nʼajja ku kyoto ekiri awali Mukama nʼakitangiririra. Anaddiranga ku musaayi gwʼennyana eya seddume ne ku musaayi gwʼembuzi nʼagusiiga ku mayembe gonna agʼekyoto.
19Ku musaayi ogwo anaamansirangako ku kyoto nʼolunwe lwe emirundi musanvu okukifuula ekirongoofu nʼokukitukuza okukiggya mu butali bulongoofu obwʼabaana ba Isirayiri.
20“Awo Alooni bwʼanaamalanga okutangiririra Ekifo ekyʼAwatukuvu Ennyo, nʼEweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, nʼekyoto, anaaleetanga embuzi ennamu.
21Anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gwʼembuzi eyo ennamu nʼagikwatako, nʼagyenenyerezaako ebyonoono byʼabaana ba Isirayiri, nʼobujeemu bwabwe, nʼebibi byabwe byonna, ngʼabitadde ku mutwe gwʼembuzi eyo. Embuzi anaagisindikanga mu ddungu ngʼetwalibwa omusajja anaalondebwanga okukola omulimu ogwo.
22Embuzi eyo eneetikkanga ebyonoono byʼabaana ba Isirayiri byonna nʼebitwala mu kifo eteri bantu, eyo omusajja oyo gyʼanaagiteeranga nʼeraga mu ddungu.
23“Alooni anaayingiranga mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, ne yeeyambulamu ebyambalo ebya bafuta bye yayambadde nga tannayingira mu Kifo ekyʼAwatukuvu Ennyo, era naabirekanga awo.
24Anaanaabiranga omubiri gwe mu mazzi nga gali mu kifo ekitukuvu, nʼalyoka ayambala ebyambalo bye ebya bulijjo. Anaafulumanga nʼawaayo ekiweebwayo kye ekyokebwa ku lulwe, nʼekiweebwayo ekyokebwa olwʼabantu bonna, alyoke yeetangiririre era nʼabantu abatangiririre.
25Era nʼamasavu agʼekiweebwayo olwʼekibi anaagookeranga ku kyoto.
26“Omusajja anaatanga embuzi esibiddwako omusango, eraze mu Azazeri mu ddungu, kinaamugwaniranga okwoza engoye ze nʼokunaaba omubiri gwe nʼamazzi; oluvannyuma anaakomangawo mu lusiisira.
27Ennyana ennume nʼembuzi ennume ezʼokuwaayo olwʼebiweebwayo olwʼekibi, era omwava omusaayi ogwaleetebwa mu Kifo ekyʼAwatukuvu Ennyo olwʼokutangiririra, ziteekwa okufulumizibwa ebweru wʼolusiisira, amaliba gaazo nʼennyama yaazo eriibwa nʼeyo eteriibwa, zonna binaayokebwanga.
28Oyo anaazokyanga anaateekwanga okwoza engoye ze, nʼokunaaba omubiri gwe mu mazzi; oluvannyuma anaakomangawo mu lusiisira.
29“Etteeka lino munaalikwatanga emirembe gyonna: Ku lunaku olwʼekkumi mu mwezi ogwʼomusanvu muneelesanga ebyʼamasanyu byonna nʼemirimu gyammwe gyonna, temuukolerengako mulimu gwonna mmwe bannannyini nsi era nʼabagwira ababeera mu mmwe,
30kubanga ku lunaku olwo mulitangiririrwa ne mufuulibwa abalongoofu. Bwe mutyo munaabeeranga muvudde mu byonoono byammwe ne mufuulibwa balongoofu mu maaso ga Mukama Katonda.
31Lunaabanga ssabbiiti nga lwa kuwummula; era kibasaanira okwefiisanga bye mwandiyagadde; etteeka eryo linaabanga lya mirembe gyonna.
32Kabona eyafukibwako amafuta agʼomuzeeyituuni era ngʼayawulibbwa nʼasikira kitaawe, yʼanaatangiririranga. Anaayambalanga ebyambalo ebya linena ebitukuvu,
33nʼatangiririra Ekifo Awatukuvu Ennyo, nʼatangiririra nʼEweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, nʼatangiririra nʼekyoto, ne bakabona awamu nʼabantu bonna mu kibiina kyonna.
34“Etteeka eryo linaababeereranga lya mirembe gyonna, ngʼokutangiririra okwo kukolebwa omulundi gumu buli mwaka olwʼebyonoono byonna ebyʼabaana ba Isirayiri.”