Ebyabaleevi 17:1-16 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Mukama nʼagamba Musa nti,

2“Tegeeza Alooni ne batabani be nʼabaana ba Isirayiri bonna, obagambe nti, Kino Mukama kyʼalagidde:

3Omuntu yenna Omuyisirayiri anaawangayo ekiweebwayo ekyʼente, oba endiga ento, oba embuzi, munda mu lusiisira oba ebweru wʼolusiisira,

4nga tagireese ku mulyango gwʼEweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, okugiwaayo ngʼekirabo ekiweebwayo eri Mukama Katonda mu kisasi kyʼEweema ya Mukama; omuntu oyo anaabanga azzizza omusango ogwʼokuyiwa omusaayi; olwokubanga ayiye omusaayi, anaagobwanga nʼagaanibwa okukolagananga ne banne.

5Ekyo kiri bwe kityo abaana ba Isirayiri balyoke balekeraawo okuweerangayo ebiweebwayo byabwe ebweru mu nnimiro, naye babireetenga awali Mukama Katonda. Kibagwanira okubireetanga eri Mukama babikwasenga kabona ku mulyango gwʼEweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, ne biryoka bittibwa nga bye biweebwayo eri Mukama olwʼemirembe.

6Kabona anaamansiranga omusaayi ku kyoto kya Mukama ku mulyango gwʼEweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, amasavu nʼagookya ne muvaamu akaloosa akalungi akasanyusa Mukama Katonda.

7Tebasaana kwongera kuwangayo biweebwayo byabwe eri bakatonda be beekoledde mu kifaananyi kyʼembuzi, be bakola nabyo ebyʼobwamalaaya[7]. Eryo linaabanga tteeka lyabwe lya lubeerera nʼokuyita mu mirembe egigenda okuddawo.

8“Era bagambe nti, Buli muntu yenna Omuyisirayiri, oba omunnaggwanga yenna abeera mu bo, aliwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, oba ekiweebwayo ekyʼengeri yonna,

9nga takireese ku mulyango gwʼEweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, okukiwaayo eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaagobwanga nʼagaanibwa okukolagananga ne banne.

10 “Omuntu yenna Omuyisirayiri oba owʼomu bannamawanga ababeera mu Isirayiri bwʼanaalyanga omusaayi ogwʼengeri yonna, nnaamunyiigiranga oyo anaalyanga omusaayi, era nnaamugobanga ne mugaana okukolagananga ne banne.

11Kubanga obulamu bwʼekitonde buli mu musaayi, ate nkibawadde okubatangiririra ku kyoto; omusaayi gwe gutangiririra obulamu bwʼomuntu.

12Noolwekyo Abayisirayiri mbagamba nti Tewabanga nʼomu mu mmwe anaalyanga omusaayi, era ne munnaggwanga abeera mu mmwe naye taalyenga musaayi.

13“Omuyisirayiri yenna, oba omunnaggwanga abeera mu mmwe, bwʼanaayigganga ensolo oba ennyonyi nga ya kulya, anaagikenenulangamu omusaayi nʼagubikkako ettaka,

14kubanga obulamu bwa buli kitonde gwe musaayi gwakyo. Abayisirayiri kyenvudde mbagamba nti Temulyanga musaayi gwa kitonde ekyʼengeri yonna, kubanga obulamu bwa buli kitonde gwe musaayi gwakyo, omuntu yenna anaagulyanga anaagobwanga nʼagaanibwa okukolagana ne banne.

15“Omuntu yenna omuzaaliranwa oba omunnaggwanga anaalyanga ekintu kyonna ekinaabanga kisangiddwa nga kifu, oba nga kitaaguddwataaguddwa ensolo enkambwe, anaayozanga ebyambalo bye, nʼanaaba mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi; oluvannyuma anaabeeranga mulongoofu.

16Naye bwʼataayozenga byambalo bye, nʼokunaaba nʼatanaaba, ye anaabanga yeeretedde obutali bulongoofu bwe okumusigalako.”