Ebyabaleevi 18:1-30 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,

2“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Nze Mukama Katonda wammwe.

3Temusaana kweyisanga mu bikolwa byammwe ngʼabʼomu Misiri, gye mwabeeranga, bwe beeyisa, era temusaana kweyisanga ngʼabʼomu Kanani, gye mbatwala, bwe beeyisa. Temutambuliranga mu mateeka gaabwe.

4Munaagonderanga ebiragiro byange, munaakwatanga amateeka gange, era mwe munaatambuliranga. Nze Mukama Katonda wammwe.

5 Mugonderenga ebiragiro byange awamu nʼamateeka gange, kubanga buli muntu anaabikwatanga mu byo mwanaatambulizanga obulamu bwe. Nze Mukama Katonda.

6“ ‘Tewabanga omuntu yenna mu mmwe ajja eri munne gwʼalinako oluganda ne yeebaka naye. Nze Mukama.

7“ ‘Toleeteranga kitaawo buswavu ngʼokola ebyensonyi ne nnyoko. Oyo ye maama wo eyakuzaala, teweebakanga naye ne mukola ebyensonyi, nʼomuleetako obuswavu.

8“ ‘Teweebakanga na muka kitaawo ne mukola ebyensonyi, ekyo kireetera kitaawo obuswavu ne kimumalamu ekitiibwa.

9“ ‘Teweebakanga na mwannyoko, azaalibwa kitaawo, oba azaalibwa nnyoko, ne bwe muba nga mwakulira mu maka gamu oba nga temwakulira wamu, tomukolangako bya nsonyi okumuleetera obuswavu.

10“ ‘Teweebakanga na muwala azaalibwa mutabani wo, oba muwala wʼomwana wo omuwala, nʼokola naye ebyensonyi; ekyo ne kikuleetako obuswavu.

11“ ‘Teweebakanga na mwana wa muka kitaawo owʼobuwala eyazaalibwa kitaawo nʼomukolako ebyensonyi; oyo mwannyoko. Tomuleeteranga bya buswavu.

12“ ‘Teweebakanga na mwannyina wa kitaawo nʼokola naye ebyensonyi; oyo ne kitaawo ba musaayi gwe gumu.

13“ ‘Teweebakanga na muwala bwe bazaalibwa ne nnyoko nʼokola naye ebyensonyi; kubanga oyo ne nnyoko ba musaayi gwe gumu.

14“ ‘Toweebuulanga muganda wa kitaawo, ngʼolaga eri mukazi we weebake naye mukole ebyensonyi; oyo maama wo omuto.

15“ ‘Teweebakanga na muka mutabani wo ne mukola ebyensonyi; kubanga oyo ye mukyala wa mutabani wo; tomuleeteranga bya buswavu.

16“ ‘Teweebakanga na muka muganda wo ne mukola ebyensonyi, kubanga ekyo kinaaleeteranga muganda wo obuswavu.

17“ ‘Teweebakanga na mukazi ate ne muwala we nʼokola nabo ebyensonyi. Era teweebakanga na mwana muwala owa mutabani wa mukazi oyo oba na mwana muwala owa muwala we; kubanga abo ba musaayi gwe gumu nʼogwʼomukazi oyo. Ekyo kibi kinene.

18“ ‘Toleetanga mukazi nga muganda wa mukyala wo ne badda mu kuvuganya, era ne weebaka naye ne mukola ebyensonyi nga mukyala wo akyali mulamu.

19“ ‘Tosembereranga mukazi ngʼoyagala weebake naye omukoleko ebyensonyi ngʼali mu kiseera kye ekya buli mwezi ekyʼokuvaamu omusaayi mwʼabeerera atali mulongoofu.

20“ ‘Teweebakanga na mukyala wa munnansi yammwe okumukolako ebyensonyi, nʼakuleetera obutali bulongoofu.

21“ ‘Mu baana bo towangayo nʼomu ngʼekiweebwayo ekyokeddwa mu muliro eri Moleki, kubanga erinnya lya Katonda wo tosaanira kuliweebuulanga. Nze Mukama.

22 “ ‘Teweebakanga na musajja nga bwe wandyebase nʼomukazi, ekyo kibi ekikyayibwa ennyo.

23“ ‘Tokolanga byansonyi ku nsolo kubanga ekyo kinaakufuulanga atali mulongoofu. Omukazi teyeewangayo eri ensolo emukoleko ebyensonyi, okwo kwe kuwabira ddala.

24“ ‘Temwereetangako obutali bulongoofu nga mugoberera amayisa ago amabi; kubanga nʼamawanga ge ŋŋenda okugoba mu nsi mwe mujja okuyingira bwe geefuula bwe gatyo agatali malongoofu;

25nʼensi nʼefuuka etali nnongoofu, ne ngibonereza olwʼebyonoono byayo, nʼabantu baamu abagibeeramu nʼebasesema.

26Naye mmwe mukuumenga ebiragiro byange nʼamateeka gange. Abazaaliranwa ne bannamawanga abali mu mmwe tewabanga nʼomu anaakolanga ku bintu ebyo nʼakatono ebikyayibwa ennyo bwe bityo.

27Kubanga ebintu ebyo byonna byakolebwanga abantu abaabasooka mmwe okubeera mu nsi omwo, ensi nʼefuuka etali nnongoofu.

28Ensi eyo bwe muligifuula etali nnongoofu, egenda kubasesema nga bwe yasesema amawanga agaabasooka okugibeeramu.

29“ ‘Abantu bonna abanaakolanga ebintu ebyo ebibi ebikyayibwa ennyo, abantu ngʼabo banaagobwanga ne bagaanibwa okukolagana ne bannaabwe.

30Mukwatenga amateeka gange, nga mwewalanga okukola ebyonoono ebyo ebikyayibwa ebyʼamayisa amabi, abo abaabasooka ge beeyisanga si kulwa nga gabafuula abatali balongoofu. Nze Mukama Katonda wammwe.’ ”