1Awo Mukama nʼagamba Musa
2ategeeze ekibiina kyonna ekyʼabaana ba Isirayiri abagambe nti, “Mubeerenga batukuvu, kubanga nze Mukama Katonda wammwe ndi mutukuvu.
3“Buli omu mu mmwe assengamu nnyina ne kitaawe ekitiibwa; era mukuumenga Ssabbiiti zange. Nze Mukama Katonda wammwe.
4“Temulaganga mu bitali Katonda, era temwekoleranga bakatonda abaweese mu kyuma ekisaanuuse. Nze Mukama Katonda wammwe.
5“Bwe munaawangayo eri Mukama ekiweebwayo olwʼemirembe, mukiwengayo mu butuufu kiryoke kikkirizibwe.
6Kinaalibwanga ku lunaku olwo lwe kinaaweebwangayo oba enkeera; ekinaabanga kisigaddewo okutuusa ku lunaku olwokusatu kinaazikiribwanga mu muliro.
7Singa kiriibwa ku lunaku olwokusatu tekiibenga kirongoofu, era tekikkirizibwenga,
8ne buli anaakiryangako anaabanga azzizza omusango; kubanga anaabeeranga aweebudde ekintu kya Mukama ekitukuvu; omuntu oyo anaagobwanga nʼagaanibwa okukolagananga ne banne.
9“Bwʼokungulanga ekyengera ekyʼomu ttaka lyo, tokunguliranga ddala ebibala byonna ebyʼomu nnimiro yo okutuuka ku nkomerero zaayo, oba okukuŋŋaanya obubala obutonotono obunaabanga bugudde wansi ngʼokungula.
10Ennimiro yo eyʼemizabbibu togimalirangamu ddala bibala byonna, nʼebyo ebibanga bigudde wansi tobikuŋŋaanyanga. Obirekeranga abaavu ne bannamawanga. Nze Mukama Katonda wammwe.
11“Tobbanga, era tokumpanyanga, era temulimbagananga.
12Tokozesanga linnya lyange ngʼolayira ebitaliimu nsa, nʼovumisa erinnya lya Katonda wo. Nze Mukama.
13“Muliraanwa wo tomujooganga so tomunyagangako bibye. Tosulanga na mpeera ya mupakasi wo nʼomala nayo ekiro kyonna okutuusa enkya nga tonnagimusasula.
14Omuggavu wʼamatu tomukolimiranga, so nʼomuzibe wʼamaaso tomuteganga nkonge wʼanaayita, naye otyanga Katonda wo. Nze Mukama.
15“Tosalirizanga ngʼolamula; tobanga na kyekubiira ku ludda lwʼomwavu wadde okwekubiira ku ludda lwʼowʼekitiibwa, banno obasalirangawo mu bwenkanya.
16Togendanga ngʼosaasaanya eŋŋambo mu banno. Tokolanga kintu kyonna ku munno ekiyinza okumuleetera okufiirwa obulamu bwe. Nze Mukama.”
17“Muganda wo tomukyawanga mu mutima gwo. Naye munno ngʼasobezza, omunenyanga, si kulwa nga naawe ogwa mu kibi nga ye.
18Towalananga ggwanga oba okusiba ekiruyi ku mwoyo eri munno yenna owʼomu nsi yo, naye yagalanga muliraanwa wo nga naawe bwe weeyagala. Nze Mukama.
19Okwatanga amateeka gange. Tokkirizanga nte za ngeri ndala kuzaazisa mu nte zo. Mu nnimiro yo tosimbangamu nsigo za ngeri bbiri. Toyambalanga kyambalo ekyʼolugoye olwʼebiwero ebyʼengeri ebbiri.
20“Omusajja bwʼaneebakanga nʼomuddu omukazi nʼamusobyako, naye ngʼomukazi oyo tannaweebwa ddembe lye, kyokka ngʼaliko omusajja amwogereza, wanaabangawo okuwozesebwa nʼebibonerezo, naye tebattibwenga, kubanga omukazi anaabanga tannaweebwa ddembe lye.
21Naye omusajja anaaleetanga endiga ennume ku mulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, nga kyʼekiweebwayo kye eri Mukama ekyʼomusango.
22Kabona anaakozesanga endiga ennume eyʼekiweebwayo olwʼomusango okutangiririra omusajja oyo eri Mukama; era ekibi kye kyʼanaabanga akoze kinaamusonyiyibwanga.
23“Bwe muyingiranga mu nsi ne musimba emiti egya buli ngeri egyʼebibala ebyokulya, mukitegeere nti ebibala byagyo biriba ngʼebiwereddwa. Biriwerebwa okumala emyaka esatu; tebijjanga kuliibwanga.
24Mu mwaka ogwokuna ebibala byako byonna binaabanga bitukuvu, nga kye kiweebwayo eri Mukama ekyʼokumutendereza.
25Naye mu mwaka ogwokutaano munaayinzanga okulya ku bibala byako. Mu ngeri eno ebibala byako bigenda kweyongeranga nnyo. Nze Mukama Katonda wammwe.
26“Tolyanga nnyama yonna nga teweddeemu musaayi; so tokolanga bya ddogo wadde ebyʼokulagula.
27Enviiri ezʼoku mabbali gʼomutwe gwo tozisalangako; nʼekirevu kyo tokikomolanga.
28Toweesalanga misale ku mubiri gwo olwʼokujjukira abaafa oba okwesalako enjola. Nze Mukama.
29“Tofuulanga mwana wo omuwala ekivume ngʼomufudde omwenzi, kubanga kirireetera abantu mu nsi yo okufuuka abenzi, nʼensi nʼejjula okwonoona.
30Mukuumanga Ssabbiiti zange era mussangamu ekitiibwa ekifo kyange ekitukuvu. Nze Mukama.
31“Temwebuuzanga ku basamize oba okukyukiranga abalogo, kubanga bagenda kubaleetera okwonooneka. Nze Mukama Katonda wammwe.
32“Ositukiranga owʼenvi, nʼomukadde omussangamu ekitiibwa, era ne Katonda wo omutyanga. Nze Mukama.
33“Omugwira bwʼabeeranga omutuuze mu nsi yammwe, temumuyisanga bubi.
34Omugwira atuula mu mmwe mumuyisenga ngʼomuzaaliranwa owʼomu nsi yammwe. Mumwagalenga nga bwe mweyagala, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi yʼe Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.
35“Temubangamu kyekubiira nga mupima obuwanvu, oba obuzito, oba obungi bwʼebintu.
36Mubanga ne minzaani entuufu, nʼamayinja agapima obuzito amatuufu, nʼekipima ebikalu (efa) ekituufu, nʼekipima ebiyiikayiika ngʼamazzi (ini) ekituufu. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi yʼe Misiri.
37Munaakwatanga amateeka gange gonna, nʼebiragiro byange byonna, okubitambulirangako. Nze Mukama.”