Ebyabaleevi 2:1-16 LGCB2014 - Bible AI

1“Omuntu yenna bwʼanaaleetanga eri Mukama ekiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke; empeke anaamalanga kuzisa, nʼaleeta obuwunga obulungi. Anaabufukangako amafuta agʼomuzeeyituuni, nʼateekako nʼobubaane,

2nʼalyoka abuleetera batabani ba Alooni, bakabona. Kabona anaayoolanga olubatu lwʼobuwunga obulimu amafuta agʼomuzeeyituuni nʼobubaane, nʼabwokya mu kyoto ngʼekijjukizo, nga kye kiweebwayo ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.

3Obuwunga obunaasigalangawo ku kiweebwayo, bunaatwalibwanga Alooni ne batabani be, nga kye kitundu ekitukuvu ennyo ekyʼekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro.

4“Bwʼonooleetanga emigaati egifumbiddwa mu oveni nga kye kiweebwayo, ginaabanga emigaati egikoleddwa mu buwunga obulungi nga mutabuddwamu nʼamafuta agʼomuzeeyituuni nga tegiriimu kizimbulukusa, oba bunaabanga obusukuuti obwʼoluwewere obutaliimu kizimbulukusa nga busiigiddwako amafuta agʼomuzeeyituuni.

5Ekiweebwayo kyo bwe kinaabanga ekyʼemmere eyʼempeke nga kitegekeddwa ku lukalango, kinaakolebwanga mu buwunga obulungi obutaliimu kizimbulukusa nga butabuddwamu amafuta agʼomuzeeyituuni.

6Onookimenyaamenyanga mu butundutundu, nʼokifukako amafuta agʼomuzeeyituuni. Ekyo kye kiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke.

7Ekiweebwayo kyo bwe kinaabanga ekyʼemmere eyʼempeke nga kyakufumbirwa mu fulampeni, kinaateekebwateekebwanga mu buwunga obulungi nʼamafuta agʼomuzeeyituuni.

8Onooleeteranga Mukama ekiweebwayo ekyo ekyʼemmere eyʼempeke ekitabuddwa mu bintu ebyo; bwe kinaakwasibwanga kabona, ye anaakireetanga ku kyoto.

9Awo kabona anaggyanga ku kiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke, ekitundu ekyʼekijjukizo kyakyo, nʼakyokya ku kyoto, nga kye kiweebwayo ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.

10Era ekinaafikkanga ku kiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke, Alooni ne batabani be, be banaakitwalanga; nga kye kitundu ekitukuvu ennyo ekibalirwa ku biweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro.”

11“ ‘Temuleeteranga Mukama ekiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke nga kiteekeddwamu nʼekizimbulukusa; kubanga temuuyokyenga kizimbulukusa wadde omubisi gwʼenjuki ngʼekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro.

12Munaabireetanga eri Mukama ngʼebiweebwayo ebyʼebibala ebibereberye, naye tebiiweerwengayo ku kyoto okubeera evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.

13Ebiweebwayo byo byonna ebyʼemmere eyʼempeke onoobirungangamu omunnyo[2]: tokkirizanga munnyo ogwʼendagaano ne Katonda wo okubula mu biweebwayo byo ebyʼemmere eyʼempeke; mu biweebwayo byo byonna ossangamu omunnyo.

14“ ‘Bwʼonooleetanga eri Mukama ebiweebwayo ebyʼebibala ebibereberye ebyʼemmere eyʼempeke, binaabanga ebirimba ebibisi ebibereberye ebyʼemmere eyʼempeke nga bibetenteddwa era nga byokeddwako mu muliro.

15Onoobifukangako amafuta agʼomuzeeyituuni, nʼobiteekangako nʼobubaane; ekyo nga kye kiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke.

16Awo kabona anaggyanga ku kiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke, ekimaze okubetentebwa nga mulimu amafuta agʼomuzeeyituuni nʼobubaane, ekitundu ekyʼekijjukizo kyakyo, nʼakyokya; ekyo nga kye kiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>