1Awo Mukama nʼagamba Musa nti,
2“Tegeeza abaana ba Isirayiri bwʼoti nti, Omuyisirayiri yenna, oba omunnaggwanga atuula mu Isirayiri, bwʼanaawangayo omwana we ngʼekiweebwayo eri Moleki, kitaawe wʼomwana oyo ajjanga kuttibwa. Abantu abʼomu kitundu ekyo mwʼabeera banaamukubanga amayinja.
3Nange kennyini, omuntu oyo nnaamunyiigiranga, era nnaamugobanga ne mmugaana okukolagananga ne banne, kubanga awaddeyo omu ku baana be ngʼekiweebwayo eri Moleki, nʼayonoona Awatukuvu wange era nʼavumisa erinnya lyange ettukuvu.
4Era abantu abʼomu kitundu ekyo mwʼabeera, bwe banaamuzibiranga ku liiso, omuntu oyo awaddeyo omwana we eri Moleki, ne batamutta,
5omuntu oyo nnaamunyiigiranga, ne ku bʼomu nnyumba ye, ne mbagoba ne mbagaana okukolagananga ne bannaabwe, ye ne banne abakolaganye naye mu kukuba obwamalaaya ne Moleki.
6“ ‘Omuntu bwʼanaakolagananga nʼabasamize, nʼabalogo, nʼakuba nabo obwamalaaya, nnaamunyiigiranga, era nnaamugobanga ne mugaana okukolagana ne banne.
7“ ‘Noolwekyo mwetukuze mubeerenga batukuvu, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe.
8Mukwatenga amateeka gange, mugagobererenga. Nze Mukama abatukuza.
9Omuntu yenna anaakolimiranga kitaawe oba nnyina wa kuttibwanga. Noolwekyo akolimidde kitaawe oba nnyina, omusaayi gwe gunaabanga ku mutwe gwe.
10“ ‘Omusajja bwanaayendanga ku muka omusajja, bombi, omusajja ayenze nʼomukazi gwʼayenzeeko banattibwanga.
11“ ‘Omusajja bwʼaneebakanga ne muka kitaawe, anaabanga aweebudde kitaawe. Bombi omusajja nʼomukazi banattibwanga; omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.
12“ ‘Omusajja bwʼaneebakanga ne muka mutabani we, bombi banattibwanga. Kubanga bombi banaabanga bakoze ebyambyone; omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.
13“ ‘Omusajja bwʼaneebakanga ne musajja munne nga bwe yandyebase nʼomukazi, bombi banaabanga bakoze ekyʼekivve; era banattibwanga, nʼomusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.
14“ ‘Omusajja bwʼanaawasanga omukazi ate nʼatwalirako ne nnyina, ekyo kya kivve. Ye nʼabakazi bombi banaayokebwanga mu muliro, bwe mutyo ekyonoono ekyo ne mukyegobako.
15“ ‘Omusajja bwʼanaakolanga ebyʼensonyi ku nsolo, anattibwanga, era nʼensolo munaagittanga.
16“ ‘Omukazi bwʼanaasembereranga ensolo alyoke akole nayo ebyʼensonyi, mumuttanga nʼensolo ne mugitta. Omukazi anattibwanga nʼensolo nettibwa; omusaayi gwʼomukazi gunaabanga ku mutwe gwe, nʼogwʼensolo gunaabanga ku mutwe gwayo.
17“ ‘Omusajja bwʼanaawasanga mwannyina, oba nga mwanamuwala wa kitaawe, oba nga mwanamuwala wa nnyina, ne beebaka bombi, kinaabanga kya buwemu. Bombi banaagobwanga mu bannaabwe ne babagaana okukolagananga nabo. Kubanga omusajja oyo anaabanga aweebudde mwannyina, era yʼaneetikkanga obuvunaanyizibwa bwonna olwʼekibi ekyo.
18“ ‘Omusajja bwʼaneebakanga nʼomukazi mu biseera byʼomukazi, ebya buli mwezi ngʼempisa yʼabakazi bwʼeba, anaabanga abikudde ensulo yʼomusaayi gwʼomukazi oyo, era nʼomukazi anaabanga yeebikudde. Bombi banaagobwanga mu bannaabwe ne babagaana okukolagananga nabo.
19“ ‘Teweebakanga na mukazi muganda wa nnyoko oba ne mwannyina wa kitaawo nʼokola naye ebyʼensonyi, kubanga ekyo kiweebuula owooluganda owʼokumpi. Mwembi munaavunaanyizibwanga olwʼekyonoono kyammwe ekyo.
20“ ‘Omusajja bwʼaneebakanga ne muka kitaawe omuto oba ne muka kojjaawe, anaabanga aweebudde bakadde be abo. Omusajja oyo nʼomukazi oyo be baneetikkanga obuvunaanyizibwa obwʼekibi ekyo, era balifa nga tebalina baana.
21“ ‘Omusajja bwʼanaawasanga muka muganda we, kinaabanga ekikolwa ekitali kirongoofu, kubanga aweebudde muganda we. Tebalizaala baana.
22“ ‘Kale nno, mukwatenga amateeka gange gonna nʼebiragiro byange byonna, era mubikolerengako, ensi mwe mbatwala okutuulanga eryoke ereme kubasesema.
23Era temugobereranga mpisa ezʼamawanga ge ŋŋenda ngoba mu nsi eyo; kubanga baakola ebintu ebyo byonna, noolwekyo mbakyawa nnyo.
24Naye nabategeeza nti, “Mulisikira ensi yaabwe, era ndigibawa ne mugirya, ye nsi omukulukuta amata nʼomubisi gwʼenjuki.” Nze Mukama Katonda wammwe eyabaawula ku mawanga amalala.
25“ ‘Noolwekyo mujjanga kwawulamu ensolo ennongoofu nʼetali nnongoofu, nʼennyonyi ennongoofu nʼetali nnongoofu. Temufuukanga abatali balongoofu olwʼensolo oba ennyonyi, oba ebiramu byonna ebitambula ku ttaka, bye mmaze okwawulako ne mbibategeeza nti si birongoofu.
26Kibasaanira okubeeranga abatukuvu gye ndi, kubanga Nze, Mukama, ndi mutukuvu, era mbaawudde ku mawanga amalala mubeerenga ggwanga lyange.
27“ ‘Omusajja oba omukazi mu mmwe anaabeeranga omusamize oba omulogo, wa kuttibwanga. Mubakubanga amayinja; era omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.’ ”