Ebyabaleevi 21:1-24 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Yogera ne bakabona, batabani ba Alooni, obagambe nti Tewabanga omuntu eyeeretako obutali bulongoofu olwʼokukwata ku mufu mu bantu be,

2wabula ngʼamulinako oluganda olwʼokumpi. Gamba nga nnyina, oba kitaawe, oba mutabani we, oba muwala we, oba muganda we,

3oba mwannyina embeerera atamanyi musajja, gwʼalinako obuvunaanyizibwa kubanga tabeerangako na bba, kubanga ayinza okwereetako obutali bulongoofu.

4Kabona nga bwʼali omukulembeze, tekimusaanira kwereetako obutali bulongoofu wakati mu bantu be.

5Bakabona tebamwangako nviiri ku mitwe gyabwe, wadde okumwako ebirevu byabwe, oba okusala emisale ku mibiri gyabwe.

6Kibasaanira okubeeranga abatukuvu eri Katonda waabwe balemenga okuleetera erinnya lya Katonda waabwe obutali bulongoofu. Kubanga be batuusa ebiweebwayo ebyokebwa mu muliro eri Mukama, ye mmere ya Katonda waabwe, noolwekyo kibasaanira okubeeranga abatukuvu.

7Tebawasanga mukazi malaaya oba atali mulongoofu, oba oyo agobeddwa ewa bba; kubanga bakabona batukuvu eri Katonda waabwe.

8Mubayisenga ngʼabatukuvu, kubanga be bawaayo emmere eya Katonda wammwe. Mubayisenga ngʼabatukuvu; kubanga Nze Mukama atukuza mmwe, ndi mutukuvu.

9Era omwana omuwala owa kabona bwʼanaakubanga obwamalaaya, bwʼatyo ne yeereetako obutali bulongoofu, anaabeeranga aleetedde kitaawe obutali bulongoofu; anaayokebwanga mu muliro.

10“Kabona Asinga Obukulu, nga ye mukulembeze mu baganda be, era nga ye yafukibwako amafuta agʼomuzeeyituuni ku mutwe gwe, era nga yayawulibwa ayambalenga ebyambalo byʼObwakabona, tasaanira kusumululanga nviiri ze ku mutwe gwe nʼazita, wadde okuyuzanga ebyambalo bye.

11Tayingiranga mu kifo omuli omulambo, aleme kwereetako obutali bulongoofu. Omulambo ne bwe gunaabanga ogwa kitaawe oba ogwa nnyina.

12Era nʼekifo kya Mukama ekitukuvu taakivengamu oba okukireetako obutali bulongoofu, kubanga yayawulibwa bwe yafukibwako amafuta agʼomuzeeyituuni ga Katonda we. Nze Mukama Katonda.

13Anaawasanga omukazi mbeerera atamanyanga musajja.

14Tawasanga nnamwandu, oba omukazi bba gwe yagoba, oba omukazi eyeereeseeko obutali bulongoofu olwʼokukuba obwamalaaya; naye anaawasanga omukazi embeerera ngʼamuggya mu bantu be;

15aleme okuleetera ezzadde lye obutali bulongoofu wakati mu bantu be. Kubanga Nze Mukama Katonda amutukuza.”

16Awo Mukama nʼagamba Musa nti,

17“Tegeeza Alooni nti Mu zadde lye, okuyita mu mirembe gyonna, bwe munaabangamu omuntu aliko akamogo ku mubiri gwe taasemberenga kuwaayo emmere ya Katonda we.

18Kubanga tewaabengawo muntu yenna aliko akamogo ku mubiri gwe anaasemberanga. Gamba: omuzibe wʼamaaso, oba omulema, oba eyakyama ennyindo, oba eyakulako ekintu ekyasukkirira obuwanvu;

19oba omuntu alina ekigere ekyagongobala, oba omukono ogwalemala,

20oba owʼebbango, oba nakalanga, oba atalaba bulungi, oba ngʼomubiri gwe gumusiiwa yeetakulatakula, oba ngʼalina amabwa agakulukuta, oba nga yayabika enjagi.

21Tewaabengawo wa mu zadde lya Alooni kabona ngʼaliko akamogo anakkirizibwanga okusembera okuleeta ebiweebwayo eri Mukama Katonda, ebyokebwa mu muliro. Kubanga aliko akamogo; tekiimusaanirenga kusembera nʼokuwaayo ekiweebwayo eri Katonda we.

22Anaayinzanga okulya ku mmere entukuvu ennyo eya Katonda we;

23naye olwokubanga aliko akamogo ku mubiri gwe, taasaanirenga kusemberera ggigi, oba okulaga okumpi nʼekyoto, nʼaleetera ebifo byange ebitukuvu obutali bulongoofu. Kubanga Nze Mukama Katonda abitukuza.”

24Bwʼatyo Musa nʼategeeza Alooni ne batabani be, awamu nʼabaana bonna aba Isirayiri ebigambo ebyo byonna.