Ebyabaleevi 22:1-33 LGCB2014 - Bible AI

1Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,

2“Tegeeza Alooni ne batabani be bassengamu ekitiibwa ebiweebwayo abaana ba Isirayiri bye bandeetera, ebyawuliddwa, bwe batyo balemenga okuvumisa erinnya lyange. Nze Mukama Katonda.

3Era bagambe nti, Omuntu yenna owʼomu zadde lyabwe mu mirembe gyonna eginajjanga giddiriragana bwʼataabenga mulongoofu, naye nʼasemberera ebiweebwayo ebyawuliddwa ebitukuvu, abaana ba Isirayiri bye banaabanga baleese eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaagoberwanga ddala nʼava mu maaso gange. Nze Mukama Katonda.

4Omuntu yenna owʼomu zadde lya Alooni alina obulwadde obukwata oba alwadde ekikulukuto taalyenga ku biweebwayo ebitukuvu okutuusa ngʼafuuse omulongoofu. Omuntu yenna taabenga mulongoofu bwʼanaakwatanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu ekivudde ku kukolagana nʼomusajja eyavuddemu amazzi gʼobusajja, oba olwʼokukomako ku mulambo,

5oba okukwata ku kyekulula ekiyinza okumufuula atali mulongoofu, oba okukoma ku muntu ayinza okumusiiga obutali bulongoofu, oba engeri yonna eyʼobutali bulongoofu bwʼefa yenkana.

6Omuntu ngʼoyo taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Taalyenga ku biweebwayo ebitukuvu wabula ngʼamaze okunaaba yenna mu mazzi.

7Enjuba bwʼeneebanga egudde anaabeeranga mulongoofu; nʼoluvannyuma anaalyanga ku biweebwayo ebitukuvu ebyo, kubanga ye mmere ye.

8Taalyenga ku kintu kyonna ekinaabanga kifudde obufi, oba ekinaabanga kitaaguddwataaguddwa ebisolo, kubanga kinaamufuulanga atali mulongoofu. Nze Mukama.

9Bwe batyo bakabona kibagwanira okukuumanga ebiragiro byange, balemenga okwereetako omusango ne bafa olwʼokubigayaaliriranga. Nze Mukama Katonda abatukuza.

10“Omuntu yenna atali wa mu lulyo lwa kabona, ne bwʼanaabanga omugenyi we, oba omupakasi we, taalyenga ku biweebwayo ebyo ebitukuvu.

11Naye kabona bwʼaneeguliranga omuddu nʼensimbi, oba omuddu bwʼanaazaalirwanga mu nnyumba ya kabona, omuddu oyo anaalyanga ku mmere eyo.

12Omwana owoobuwala owa kabona bwʼanaafumbirwanga omusajja atali kabona, talyenga ku biweebwayo ebyo ebitukuvu.

13Naye singa muwala wa kabona afuuka nnamwandu, oba singa ayawukanira ddala ne bba, kyokka nga talina mwana, nʼakomawo okubeeranga mu nnyumba ya kitaawe nga bwe yakolanga ngʼakyali muvubuka, anaalyanga ku mmere ya kitaawe. Omuntu yenna atakwatibwako mizizo egyo taalyenga ku mmere eyo.

14Era omuntu bwʼanaalyanga ku kiweebwayo ekitukuvu nga tagenderedde, anaaleetanga ekitundu kimu kya kutaano ekyʼekiweebwayo ekyo, nʼakigatta ku kiweebwayo ekyo, kyonna nʼakikwasa kabona.

15Bakabona tebavumisanga bintu bitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaawangayo eri Mukama,

16nga babakkiriza okulyanga ku biweebwayo byabwe ebitukuvu, bwe batyo ne babateekesaako omusango ogunaabaweesanga ekibonerezo. Nze Mukama Katonda abatukuza.”

17Awo Mukama nʼagamba Musa nti,

18“Tegeeza Alooni ne batabani be nʼabaana ba Isirayiri bonna, obagambe nti, Omuntu yenna owʼomu nnyumba ya Isirayiri omu ku mmwe, oba omunaaggwanga abeera mu Isirayiri, bwʼanaaleeteranga Mukama Katonda ekirabo ekyʼekiweebwayo ekyokebwa okutuukiriza obweyamo bwe, oba ekiweebwayo olwʼokweyagalira,

19kinaateekwanga okubeera sseddume eyʼente oba eyʼendiga, oba eyʼembuzi etaliiko kamogo, ekirabo ekyo kiryokenga kikkirizibwe.

20Temuwangayo kintu kyonna ekiriko akamogo kubanga tekikkirizibwenga.

21Omuntu yenna bwʼanaaleetanga ekiweebwayo eri Mukama Katonda olwʼemirembe, oba okutuukiriza obweyamo, oba ekiweebwayo olwʼokweyagalira, ngʼakiggya mu kiraalo oba mu kisibo, okukkirizibwa kinaabeeranga ekituukiridde nga tekiriiko kamogo.

22Temuwangayo eri Mukama Katonda ensolo enzibe yʼamaaso, oba eriko obuvune, oba ennema oba egongobadde, oba ezimbyezimbye ku mubiri, oba eriko amabwa agakulukuta. Ezo temuziwangayo ku kyoto eri Mukama Katonda ngʼekiweebwayo ekyokebwa.

23Naye ente oba endiga ngʼeriko ekitundu kyayo ekisukkiridde obuwanvu oba ekisukkiridde obumpi eneeyinzanga okuleetebwa ngʼekiweebwayo ekyʼokweyagalira, naye tekkirizibwenga ngʼekiweebwayo olwʼokutuukiriza obweyamo.

24Mukama Katonda temumuleeteranga ekiweebwayo ekyʼensolo erina enjagi ezaanuubulwa, oba ezaabetentebwa, oba ezaayuzibwa, oba ezaasalibwa. Ekyo temukikolanga mu ggwanga lyammwe,

25wadde okukkirizanga ngʼensolo ezo bannamawanga bazibatonedde ne muziwaayo ngʼekiweebwayo eri Katonda wammwe. Kubanga nnyonoonefu mu mubiri era ziriko obukyamu.”

26Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,

27“Ente, oba endiga, oba embuzi bwʼeneezaalibwanga eneesigalanga ne nnyina waayo okumala ennaku musanvu. Okuva ku lunaku olwʼomunaana nʼokweyongerayo ennekkirizibwanga bwʼeneeweebwangayo eri Mukama Katonda ngʼekiweebwayo ekyokebwa mu muliro.

28Ente oba endiga temugittanga na mwana gwayo ku lunaku lwe lumu.

29Bwe muwangayo eri Mukama Katonda ekiweebwayo olwʼokwebaza, mukiwengayo mu ngeri ennungi eneekisobozesanga okukkirizibwa.

30Kinaalibwanga ku lunaku olwo lwennyini, temukifissangawo nʼakatono okutuusa enkeera. Nze Mukama Katonda.”

31“Bwe mutyo mukwatenga amateeka gange era mugagonderenga. Nze Mukama Katonda.

32Temuvumisanga linnya lyange. Abaana ba Isirayiri kibagwanira okunzisangamu ekitiibwa nga Nze mutukuvu. Nze Mukama Katonda abatukuza mmwe,

33era Nze nabaggya mu nsi yʼe Misiri mbeerenga Katonda wammwe. Nze Mukama Katonda.”