Ebyabaleevi 23:1-44 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,

2“Yogera nʼabaana ba Isirayiri obagambe nti, Zino ze mbaga zange ze nnonze, nga ze mbaga za Mukama Katonda ezirondeddwa ze munaakubirangako enkuŋŋaana entukuvu.

3“Mu nnaku omukaaga munaakolerangamu emirimu gyammwe, naye olunaku olwʼomusanvu ye Ssabbiiti eyʼokuwummula; lunaabeeranga olunaku olwʼokukuŋŋaana okutukuvu. Temulukolerangako mulimu nʼakatono yonna gye munaabeeranga, kubanga ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda.

4“Zino ze mbaga Mukama Katonda ze yeerondera okunaakubirwanga enkuŋŋaana entukuvu ze munaalangiriranga mu ntuuko zaazo:

5Embaga ya Mukama Katonda eyʼOkuyitako eneetandikanga ngʼobudde buwungeera ku lunaku olwʼekkumi nʼennya olwʼomwezi ogwʼolubereberye.

6Ku lunaku olwʼekkumi nʼettaano olwʼomwezi ogwo, Embaga ya Mukama Katonda eyʼEmigaati Egitali Mizimbulukuse kwʼeneetandikiranga; munaamalanga ennaku musanvu nga mulya emigaati egifumbiddwa nga temuli kizimbulukusa.

7 Ku lunaku olusooka olwʼembaga eyo eyʼOkuyitako munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mirimu gyammwe egya bulijjo.

8Munaamalanga ennaku musanvu nga buli lunaku muleeta ekiweebwayo ekyokebwa nʼomuliro eri Mukama. Ku lunaku olwʼomusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mirimu gyammwe egya bulijjo.”

9Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,

10“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Bwe mutuukanga mu nsi gye nzija okubawa ne mukungula ebibala byamu, muleetanga eri kabona ekinywa ekyʼebibala byammwe ebyʼolubereberye;

11naye anaawuubawuubanga ekinywa ekyo awali Mukama Katonda kiryoke kikkirizibwe ku lwammwe. Kabona anaakiwuubawuubanga ku lunaku oluddirira Ssabbiiti.

12Ku lunaku olwo lwe munaawuubirawuubirangako ekinywa, munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama Katonda ekyʼomwana gwʼendiga omulume, ogwakamala omwaka gumu ogwʼobukulu era nga teguliiko kamogo.

13Nʼekiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke ekigenderako kinaabanga kigero kya desimoolo bbiri eza efa[8], ekyʼobuwunga obulungi nga mutabuddwamu nʼamafuta agʼomuzeeyituuni, nga kye kiweebwayo ekyokebwa nʼomuliro eri Mukama Katonda, ne muvaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama Katonda; nʼekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako kinaabanga ekitundu kimu kya kuna ekya lita emu eya wayini.

14Era temuulyenga ku mugaati nʼakatono oba ku mmere eyʼempeke ensiike oba eyaakakungulwa, okutuusa ku lunaku olwo lwennyini lwe munaaleeterangako ekiweebwayo kino eri Katonda wammwe. Lino linaabanga tteeka eryʼenkalakkalira eryʼemirembe gyonna egigenda okujja, mu bifo byonna gye munaabeeranga.

15“Okuva ku lunaku oluddirira Ssabbiiti, nga lwe lunaku kwe mwaleetera ekiweebwayo ekyʼekinywa ekiwuubibwawuubibwa mubalanga ewiiki enzijuvu musanvu.

16Munaabalanga ennaku amakumi ataano okutuuka ku Ssabbiiti eyʼomusanvu, ne mulyoka muwaayo eri Mukama ekiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke empya eyaakakungulwa.

17Nga muva mu buli kitundu gye mubeera, munaaleetanga emigaati, ebiri ebiri nga gikoleddwa mu kigero ekya desimoolo bbiri eza efa ezʼobuwunga obulungi, nga bufumbiddwa nʼekizimbulukusa; nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda ekiwuubibwawuubibwa ekyʼebibala ebibereberye.

18Era awamu nʼemigaati egyo munaaleeterangako abaana bʼendiga musanvu abʼomwaka gumu abataliiko kamogo; munaaleetanga nʼente eya seddume ento emu, nʼendiga ennume ento bbiri. Binaabeeranga ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, awamu nʼekiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke nʼekiweebwayo ekyʼebyokunywa; nga kye kiweebwayo ekyokebwa nʼomuliro, ne muvaamu evvumbe erisanyusa Mukama.

19Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olwʼekibi, era nʼendiga ento ennume ezʼomwaka ogumu bbiri nga kye kiweebwayo olwʼemirembe.

20Kabona anaawubawuubanga ebiweebwayo ebyo awamu nʼemigaati egikoleddwa mu bibala ebibereberye nʼendiga zombi ento, nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda ekiwuubibwawuubibwa. Kinaabanga kiweebwayo eri Mukama Katonda ekitukuvu, era kabona yʼanaakitwalanga.

21Ku lunaku olwo onoolangiriranga olukuŋŋaana olutukuvu; era temujjanga kukolerako mirimu gyammwe egya bulijjo. Eryo linaabeeranga etteeka eryʼemirembe gyonna mu mmwe buli yonna gye munaabeeranga.

22 “Bwe munaakungulanga emmere mu ttaka lyammwe temugimalirangamu ddala okutuuka ku mbibiro zʼennimiro yammwe, wadde okukuŋŋaanyanga eneebanga ekunkumuse wansi nga mumaze okukungula. Eyo mugirekeranga abaavu ne bannamawanga. Nze Mukama Katonda wammwe.”

23Awo Mukama nʼagamba Musa nti,

24“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti Olunaku olwʼolubereberye mu mwezi ogwʼomusanvu lunaabanga lwa kuwummula, munaakwatirangako olukuŋŋaana olutukuvu olunaalangirirwanga nʼokufuuwa amakondeere agʼomwanguka.

25Temukolerangako mirimu gyonna egya bulijjo, naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa nʼomuliro eri Mukama Katonda.”

26Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,

27“Olunaku olwʼekkumi olwʼomwezi guno ogwʼomusanvu lwe lunaabanga Olunaku olwʼOkutangiririrwa. Munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, muneefiirizanga ne mwerumya, era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa nʼomuliro eri Mukama Katonda.

28Olunaku olwo temulukolerangako mulimu na gumu, kubanga lwe Lunaku olwʼOkutangiririrwa, lwe munaatangiririrwanga awali Mukama Katonda.

29Omuntu yenna anaagaananga okwefiiriza ku lunaku olwo kinaamugwaniranga okuwaŋŋangusibwa nʼaggyibwa mu banne.

30Era buli muntu anaakolanga omulimu ku lunaku olwo ndimuggya mu banne ne mmuzikiriza.

31Temulukolerangako mulimu nʼakatono. Eryo linaabeeranga etteeka eryʼenkalakkalira, eryʼemirembe gyonna egigenda okujja mu bifo byonna gye munaabeeranga.

32Lunaabeeranga lwa Ssabbiiti na kuwummulirako gye muli, era muneefiirizanga. Munaakuumanga Ssabbiiti yammwe okuva ku lunaku olwʼomwenda olwʼomwezi akawungeezi okutuusa ku kawungeezi akaddirira.”

33Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,

34“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti Ku lunaku olwʼekkumi nʼettaano Embaga ya Mukama eyʼEnsiisira kwʼeneetandikiranga, era eneemalanga ennaku musanvu.

35Ku lunaku olwʼolubereberye munaakubirangako olukuŋŋaana olutukuvu; temuulukolerengako mirimu egya bulijjo.

36Munaaleetanga ebiweebwayo eri Mukama ebyokye mu muliro okumalira ddala ennaku musanvu, ne ku lunaku olwʼomunaana munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu ne muwaayo eri Mukama Katonda ekiweebwayo ekyokye nʼomuliro. Olwo lwe lukuŋŋaana olukulu oluggalawo, temulukolerangako mirimu egya bulijjo.

37“Ezo ze mbaga Mukama ze yalagira, ze munaalangiriranga nti Mbaga ntukuvu okunaaleeterwanga ebiweebwayo eri Mukama Katonda ebyokeddwa mu muliro, ebiweebwayo ebyokye, ebiweebwayo ebyʼempeke, ssaddaaka nʼebiweebwayo ebinywebwa ebineetaagibwanga buli lunaku.

38Ebiweebwayo bino byeyongera ku biri ebyʼoku Ssabbiiti za Mukama Katonda, era ne byeyongera ku birabo byammwe ne ku ebyo byonna bye munaabanga mweyamye, ne ku biweebwayo ebirala byonna bye munaabanga muleetedde Mukama Katonda nga mweyagalidde.

39“Kale nno okutandikira ku lunaku olwʼekkumi nʼettaano olwʼomwezi ogwʼomusanvu, nga mumaze okukungula nʼokuyingiza ebibala ebivudde mu ttaka lyammwe, munaakoleranga Mukama Katonda ekijaguzo okumala ennaku musanvu; olunaku olwʼolubereberye lunaabanga lwa kuwummula era nʼolunaku olwʼomunaana nalwo nga lwa kuwummula.

40Ku lunaku olwʼolubereberye munaanoganga ku miti ebibala ebisingira ddala obulungi ne muddira nʼamatabi gʼenkindu, nʼamatabi agʼemiti agaziyidde nʼebikoola ebigimu, nʼemiti egyʼoku migga, ne mulyoka musanyukira awali Mukama Katonda wammwe okumala ennaku musanvu.

41Mukolanga bwe mutyo ngʼekyo kye kijaguzo eri Mukama Katonda, okumala ennaku musanvu buli mwaka. Lino lyʼetteeka eryʼenkalakkalira erinaakwatibwanga nʼabʼomu mirembe egigenda okujja; mujaguzenga mu mwezi ogwʼomusanvu.

42Munaasulanga mu busiisira okumala ennaku musanvu. Abo bonna abazaaliranwa abʼomu Isirayiri banaasulanga mu busiisira,

43bwe batyo abʼomu zzadde lyammwe balyoke bamanye nga bwe nasuzanga abaana ba Isirayiri mu busiisira bwe nnali nga mbaggya mu nsi yʼe Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.”

44Bwʼatyo Musa nʼalangirira mu baana ba Isirayiri embaga za Mukama ennonde.