1Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,
2
3Wabweru wʼEggigi eryʼEndagaano mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, Alooni wʼanaalabiririranga ettabaaza ezo nga zaakira awali Mukama Katonda okuva akawungeezi okutuusa mu makya awatali kusalako. Eryo linaabanga tteeka eryʼenkalakkalira ne mu mirembe egigenda okujja.
4Alooni anaalabiriranga ettaala ezo ku kikondo ekya zaabu omuka awali Mukama Katonda nga zaaka awatali kusalako.
5
6Onoogitegekanga mu nnyiriri bbiri nga mu buli lunyiriri mulimu emigaati mukaaga. Onoogiteekanga ku mmeeza eya zaabu omuka awali Mukama.
7Era ku buli lunyiriri onooteekangako obubaane obuka nga bugendera wamu nʼemigaati nga kye kijjukizo ekyʼekiweebwayo eri Mukama Katonda nga kyokeddwa mu muliro.
8Emigaati egyo ginaategekebwanga awali Mukama buli Ssabbiiti awatali kwosa, ngʼekyo kikolebwa ku lwʼabaana ba Isirayiri nga ye ndagaano eyʼemirembe nʼemirembe.
9Emigaati egyo ginaabanga gya Alooni ne batabani be, era banaagiriiranga mu kifo ekitukuvu, kubanga giva ku kiweebwayo ekitukuvu ennyo eri Mukama Katonda nga kyokeddwa mu muliro nga kye kiragiro ekyʼenkalakkalira.”
10Awo mutabani wʼomukazi Omuyisirayiri naye nga kitaawe Mumisiri nʼafuluma nʼabeera mu baana ba Isirayiri, naye ne wasitukawo olutalo wakati wʼomusajja oyo nʼOmuyisirayiri, nga bali mu lusiisira
11Mutabani wʼomukazi Omuyisirayiri nʼavvoola Erinnya lya Mukama, era nʼakolima. Ne bamuleeta eri Musa. Nnyina ye yali Seromisi, muwala wa Dibuli owʼomu kika kya Ddaani.
12Ne bamuggalira mu kkomera okutuusa Mukama Katonda lwʼanaabategeeza ekinaakolebwa.
13Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,
14“Eyavvodde mumufulumye ebweru wʼolusiisira. Abo bonna abaamuwulidde ngʼavvoola bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe; oluvannyuma ekibiina kyonna kiryoke kimukube amayinja.
15Tegeeza abaana ba Isirayiri nti Omuntu yenna anaakolimiranga Katonda we anaabanga nʼobuvunaanyizibwa olwʼekibi ekyo.
16Oyo yenna anavvoolanga erinnya lya Mukama Katonda anattibwanga. Ekibiina kyonna kinaamukubanga amayinja. Ne bwʼanaabanga omugwira oba Omuyisirayiri, bwʼanavvoolanga erinnya lya Mukama Katonda anattibwanga.
17“Anattanga omuntu naye anattibwanga.
18Omuntu yenna anattanga ensolo ya munne anaagimuliyiranga, ensolo ku nsolo.
19Omuntu bwʼanaaleetanga akamogo ku munne nʼamulumya, ekyo kyʼakoze ku munne naye kye kinaamukolwangako:
20obuvune olwʼobuvune, eriiso olwʼeriiso, erinnyo olwʼerinnyo; nga bwʼanaabanga alumizza munne, naye bwʼatyo bwʼanaalumizibwanga.
21Omuntu anattanga ensolo ya munne anaagimuliyiranga, nʼoyo anattanga omuntu naye waakuttibwanga.
22
23Bwʼatyo Musa nʼategeeza abaana ba Isirayiri, ne bafulumya eyavvoola ebweru wʼolusiisira ne bamukuba amayinja nʼafa. Abaana ba Isirayiri baakola nga Mukama bwe yalagira Musa.