Ebyabaleevi 25:1-55 LGCB2014 - Bible AI

1 Mukama Kaonda yagamba Musa ku lusozi Sinaayi nti,

2“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti Bwe mutuukanga mu nsi gye mbawa, ensi yennyini eneekuumiranga Mukama Katonda ssabbiiti.

3Okumala emyaka mukaaga ennimiro zammwe munaazisigangamu emmere, era mu myaka egyo omukaaga munaasaliranga emizabbibu gyammwe nʼebibala ne mubikungula.

4Naye mu mwaka ogwʼomusanvu ettaka lyʼensi eyo linaabanga ne ssabbiiti eyʼokuwummula eri Mukama Katonda. Temusiganga mmere mu nnimiro zammwe wadde okusalira emizabbibu gyammwe.

5Ebimera ebyekuzizza byokka, ebimererezi, temubikungulanga wadde okunoga ebibala ku mizabbibu gyammwe egitaasalirwa. Omwaka ogwo ettaka lyʼensi linaaguwummulanga.

6Ebyo byonna ebyokulya ebinaavanga mu ttaka mu mwaka ogwa ssabbiiti yaalyo binaabanga mmere yammwe, mmwe bennyini, nʼeri abaddu bammwe abasajja, nʼabakazi, era nʼabaweereza bammwe abʼempeera, nʼabagenyi abanaabanga basula mu maka gammwe;

7era nʼente zammwe nʼensolo ezʼomu nsiko ezinaabanga ku ttaka lyammwe. Buli ekyokulya ekinaakuliranga ku ttaka eryo kinaabanga mmere.

8“Munaabaliriranga essabbiiti musanvu ezʼomu myaka, kwe kugamba nti Musanvu emirundi emyaka musanvu. Bwe kityo ekiseera kyonna ekya ssabbiiti ezo ne kiba emyaka amakumi ana mu mwenda.

9Ekkondeere eryʼokujaguza munaalifuuyiranga wonna wonna ku lunaku olwʼekkumi mu mwezi ogwʼomusanvu ku Lunaku olwʼOkutangiririrwa, ekkondeere munaalifuuyiranga mu nsi yammwe yonna.

10Munaatukuzanga omwaka ogwʼamakumi ataano, era munaalangiriranga ebiseera ebyʼeddembe eri abatuuze bonna mu ggwanga lyammwe. Omwaka ogwo gunaabanga gwa kujaguza gwa Jjubiri[11] gye muli; buli omu anaddangayo mu kifo kye ekyʼobwannannyini, era buli omu anaddangayo mu kika kye.

11Omwaka ogwʼamakumi ataano gunaabanga gwa kujaguza gwa Jjubiri gye muli; mu mwaka ogwo temuusigenga era temuukungulenga bikuze ku bimererezi newaakubadde okukuŋŋaanya ebibala ebyʼoku mizabbibu egitali misalire.

12Kubanga ekiseera ekyo kya kujaguza kya Jjubiri era kinaabanga kitukuvu gye muli; mulyenga ebyo byokka bye munaggyanga mu nnimiro.

13“Mu mwaka ogwo ogwʼokujaguza ogwa Jjubiri buli omu anaddangayo mu kifo kye ekyʼobwannannyini.

14Era bwe munaatunzanga bannammwe ekintu kyonna oba bwe munaagulanga ku bannammwe ekintu kyonna, temuseeragananga.

15Munnansi munno onoomugulangako ngʼosinziira ku myaka egyakayitawo okuva ku kujaguza ku Jjubiri. Era naye anaakutunzanga ngʼasinziira ku myaka egibulayo okutuuka ku makungula gʼebibala.

16Emyaka bwe ginaabanga emingi, omuwendo ogulamulwa munaagwongezanga, naye emyaka bwe ginaabanga emitono munaagukendeezanga, kubanga obungi bwʼebikungulwa, bwʼogula ku mutunzi.

17Temuseeragananga; mutyanga Katonda wammwe, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe.

18“Mugonderenga ebiragiro byange, era mukwatenga amateeka gange, bwe mutyo munaatuulanga nʼemirembe mu nsi yammwe.

19Ensi eneebaleeteranga ebibala byayo, ne mulya ne mukkuta ne mutuulamu nʼemirembe.

20Muyinza okubuuza nti, ‘Bwe tutaasigenga era ne tutakungulanga, kale mu mwaka ogwʼomusanvu tunaalyanga ki?’

21Mu mwaka ogwʼomukaaga ndibayiwako omukisa gwange ogulireetera ensi yammwe ebibala ebirimala emyaka esatu.

22Bwe munaabanga musiga mu mwaka ogwʼomunaana, munaabanga mulya ku bibala ebikadde bye mwatereka, okutuusa nga mukungudde ebibala ebyʼomwaka ogwʼomwenda.

23Ettaka teriitundibwenga kagenderere, kubanga ensi yange; mwe muli bayise era abasuze obusuze.

24Buli kitundu kya nsi kye munaalyanga, bwe mutundanga ettaka mwerekerangawo omwagaanya ogwʼokulinunulayo gye mulitunze.

25“Munnansi munnammwe bwʼanaayavuwalanga, nʼatunda ebimu ku bintu bye, muganda we owʼokumpi mu luganda anajjanga nʼanunula ebyo munnansi munne byʼatunze.

26Omuntu bwʼanaabanga talina anaabimununulira, naye ye ku bubwe ngʼagaggawadde, era ngʼafunye obusobozi obwʼokubinunula,

27anaabaliriranga omuwendo gwʼensimbi oguli mu myaka kasookedde abitunda, nʼabala nʼomuwendo ogugya mu myaka egisigaddeyo okutuuka ku Jjubiri, nʼagusasula omuntu gwe yaguza ebintu ebyo, olwo eyatunda aneddirangayo mu bintu bye.

28Naye singa alemwa okufuna obusobozi okumusasula, kale ebyo bye yatunda binaasigalanga mu mukono gwʼeyabigula nga ye nannyini byo okutuusa mu Mwaka gwa Jjubiri. Binamuddizibwanga mu Jjubiri, era anaayinzanga okweddirayo mu bintu bye.

29“Omuntu bwʼanaatundanga ennyumba esulwamu eri mu kibuga ekyetooloddwa bbugwe, anaayinzanga okuginunula mu mwaka nga tegunaggwaako. Mu bbanga eryo eryʼomwaka omulamba mwʼanaabeereranga nʼobuyinza obwʼokuginunula.

30Ennyumba eyo eri mu kibuga ekyetooloddwa bbugwe bwʼeteenunulibwenga mu bbanga eryʼomwaka ogumu, kale eneebeereranga ddala yʼoyo eyagigula nʼezzadde lye. Eyagitunda teemuddizibwenga mu Jjubiri.

31Naye amayumba agʼomu bubuga obutono obwʼomu byalo obuteetooloddwako bisenge, ganaabalirwanga mu ttuluba lye limu nʼeryʼennimiro eziri mu byalo. Ganaanunulibwanga era ne gaddira bannyinigo mu Jjubiri.

32“Bulijjo Abaleevi banaabanga ba ddembe okununula amayumba gaabwe agali mu bibuga byabwe ebyʼAbaleevi bye balinako obwannannyini.

33Era Omuleevi bwʼanaabanga takozesezza ddembe lye eryʼokununula, kale ennyumba eyatundirwa mu kibuga Abaleevi kye balinako obwannannyini, eneemuddiranga mu Jjubiri; kubanga mu bantu ba Isirayiri ennyumba eziri mu bibuga byʼAbaleevi za Baleevi.

34Naye ennimiro eziri ku ttaka lya wamu eryʼebibuga byabwe teziitundibwenga; kubanga ezo zaabwe za bwannannyini obwʼolubeerera.

35 “Munnansi munnammwe bwʼanaayavuwalanga ngʼali wamu nammwe, nga takyasobola kwefunira buyambi, mubeerenga naye nga mumulabirira nga bwe mwandirabiridde omunnaggwanga oba omusuze obusuze ali mu mmwe.

36Mutyenga Katonda wammwe. Munnammwe temumuggyangako magoba ku kintu kyonna kye munaabanga mumuwoze, bwʼatyo munnammwe oyo alyoke abeerenga mu mmwe.

37Bwʼomuwolanga ensimbi azzengawo omuwendo gwennyini gwʼomuwoze so tasukkirizangamu. Era bwʼomuguzanga emmere tossangamu magoba.

38Nze Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi eyʼe Misiri okubawa ensi ya Kanani nʼokubeera Katonda wammwe.

39“Era munnansi munnammwe bwʼanaayavuwalanga ngʼali nammwe, ne yeetunda gye muli, temumukozesanga nga muddu.

40Munaamukozesanga ngʼomupakasi owʼempeera oba ngʼomusuze obusuze, ngʼali nammwe. Anaabaweerezanga okutuusa mu Mwaka gwa Jjubiri.

41Kale nno, olwo anaalekebwanga nʼaddayo ewaabwe, ye nʼabaana be, mu kika kye ku butaka bwa bakadde be.

42Kubanga baweereza bange be naggya mu nsi yʼe Misiri; tebaatundibwenga ngʼabaddu.

43Temubafugisanga bukambwe, naye mutyenga Katonda wammwe.

44Abaddu bammwe abasajja nʼabaddu bammwe abakazi munaabaggyanga mu mawanga agabeetoolodde, mu mawanga ago mwe muneeguliranga abaddu abasajja nʼabaddu abakazi.

45Era munaayinzanga okwegulira ku bannamawanga abali nammwe abasuze obusuze, ne ku baana baabwe abanaazaalirwanga mu nsi yammwe; abo banaabanga nvuma zammwe.

46Munaayinzanga okulaamira batabani bammwe abalibagoberera envuma ezo ngʼobusika bwabwe obwʼemirembe gyonna. Naye Bayisirayiri bannammwe temubafugisanga bukambwe.

47“Omunnaggwanga oba omusuze obusuze ali nammwe bwʼanaagaggawalanga, naye munnansi munnammwe bwe babeera nʼayavuwala, ne yeetunda eri munnaggwanga oba eri omusuze obusuze ali nammwe, oba eri omu ku bʼomu luggya lwa munnaggwanga,

48anaayinzanga okununulibwa, ngʼamaze okwetunda. Omu ku baganda be anayinzanga okumununula:

49Taata we oba mutabani wa taata we, oba owooluganda omulala owʼokumpi mu buzaale owʼomu kika kye anaayinzanga okumununula. Oba ye bwʼanaagaggawalanga anaayinzanga okwenunula.

50Ye nʼoli eyamugula bajjanga kubalirira ebbanga okuva mu mwaka gwe yeetundiramu okutuuka ku Mwaka gwa Jjubiri. Omuwendo ogwʼokununulibwa guneesigamizibwanga ku muwendo gwʼemyaka egibaliriddwa; ebbanga lye yamala nʼeyamugula linaageraageranyizibwanga nʼebbanga eryʼomupakasi asasulwa empeera.

51Mu kubalirira kwabwe bwe kinaazuukanga ngʼekyasigaddeyo emyaka mingi okutuuka ku Jjubiri, ku muwendo gwe yeetunda anaasasulangako omuwendo munene olwʼokwenunula.

52Naye bwʼeneebanga esigaddeyo emyaka mitono, egyo gyʼanaabalirirangamu ensimbi zaamu nʼasasula ezo nga bwe kyetaagisa olwʼokwenunula.

53Oyo eyagula munne anaamuyisanga ngʼomupakasi amukolera mu kupatana okwa buli mwaka. Temulekanga oyo eyagula munne okumutuntuzanga nga nammwe mulaba.

54Bwʼanaabanga tanunulibbwa mu zimu ku ngeri ezo, ye nʼabaana be banaanunulibwanga mu Mwaka gwa Jjubiri.

55Kubanga abaana ba Isirayiri bantu bange, abaweereza bange be naggya mu nsi eyʼe Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.