Ebyabaleevi 26:1-46 LGCB2014 - Bible AI

1“Temwekoleranga bifaananyi oba okwesimbira ebifaananyi ebyole, oba amayinja ge muyise amatukuvu, era temuteekanga mayinja mawoole mu nsi yammwe okugavuunamiranga. Nze Mukama Katonda wammwe.

2Mukwatenga Ssabbiiti zange, era nʼebifo byange ebitukuvu mubissengamu ekitiibwa. Nze Mukama Katonda.

3“Bwe munaakwatanga amateeka gange, ne mugondera ebiragiro byange nʼobwegendereza,

4nnaabatonnyesezanga enkuba mu ntuuko zaayo, nʼettaka linaavangamu ebibala byalyo, nʼemiti egyʼomu nnimiro ginaabalanga ebibala byagyo.

5Munaawuulanga okutuusa ku makungula gʼemizabbibu, nʼokukungula emizabbibu kunaabatuusanga mu biseera ebyʼokusiga; era munaalyanga emmere yonna nga bwe mwetaaga, ne mubeera mu nsi yammwe nga mulina emirembe.

6“Ndibawa emirembe mu nsi ne mwebaka bulungi, so tewaabengawo anaabatiisatiisanga. Ebisolo ebikambwe ndibimalamu mu nsi yammwe, era temuubeerengamu ntalo.

7Munaawonderanga abalabe bammwe ne mubatta nʼekitala ne mubawangula.

8Abataano mu mmwe banaagobanga ekikumi, era ekikumi mu mmwe banaagobanga omutwalo ogumu, era munaawangulanga abalabe bammwe nʼekitala.

9“Nnaabassangako omwoyo ne mbawa okuzaala ne mweyongera obungi, era endagaano yange nammwe nnaagituukirizanga.

10Munaabanga mukyalya ku makungula agʼomwaka oguyise ne mugafulumya olwʼamakungula amaggya.

11Ekifo kyange ekyʼokubeeramu nnaakiteekanga mu mmwe, era omutima gwange teguubatamwenga.

12 Nnaatambuliranga mu mmwe, era nnaabanga Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange.

13Nze Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi eyʼe Misiri, mulyoke mukome okuba abaddu bʼAbamisiri; namenya ebikoligo byammwe ne mbasobozesa okutambula nga mwesimbye.

14“Naye bwe mutampulirenga, ne mutagondera biragiro ebyo byonna,

15era bwe munaanyoomoolanga ebiragiro byange ne mukyawa amateeka gange, ne mulemwa okutuukiriza ebiragiro byange ebyo byonna, bwe mutyo ne mutakuumanga ndagaano yange,

16kale, kino kye ndibakola: Ndibaleetera entiisa eza mangu ezʼembagirawo, nʼobulwadde obwʼolukonvuba obubalumya akasiiso nʼomusujja, ebiribaziba amaaso ne bibakamulamu obulamu. Era muliteganira bwereere okusimba ebibala byammwe, kubanga abalabe bammwe be balibirya.

17Ndibeefuukira, abalabe bammwe nʼokubawangula ne babawangula; abo ababakyawa banaabafuganga, ne mudduka nʼokudduka so nga tewali abagoba.

18Oluvannyuma lwʼebyo byonna okubatuukako, era bwe mutaŋŋonderenga, kale ndyongera okubabonereza okusingawo emirundi musanvu, olwʼebibi byammwe.

19Amalala gammwe nʼemputtu ndibibaggyamu, eggulu ne likakanyala ngʼekyuma, nʼettaka ne likaluba ngʼekikomo.

20Amaanyi gammwe ganaabafanga busa, kubanga ettaka lyammwe teriivengamu mmere yaalyo, wadde emiti egyʼomu nsi yammwe okubala ebibala byagyo.

21“Era bwe muneeyongeranga okutambulira mu makubo ge sikkiriza, ne mugaana okumpulira, ndyongera okubaleetako endwadde nnyingi nga za mirundi musanvu ngʼebibi byammwe bwe byenkana.

22Era ndibasindikira ensolo ezʼomu nsiko, ezinaalyanga abaana bammwe, ne zizikiriza ente zammwe nʼomuwendo gwammwe ne gukendeera, nga nʼenguudo zammwe tewakyali azitambuliramu.

23“Era okukangavvula okwo bwe kutaabakyusenga kudda gye ndi, naye ne mweyongera okujeema,

24kale, nange ndibalaga obukambwe, era nze kennyini ndibeebonerereza emirundi musanvu olwʼebyonoono byammwe.

25Era nnaabaleeteranga entalo okwesasuza olwʼokumenya endagaano. Bwe muneekuŋŋaanyizanga mu bibuga byammwe, nnaabaleeteranga endwadde enkambwe, era nʼabalabe bammwe banaabawangulanga.

26Bwe ndikendeeza ku bungi bwʼemmere yammwe, olwo abakazi ekkumi banaabafumbiranga emmere yammwe mu ntamu emu, era buli omu banaamupimirangako akatole katono. Munaalyanga, naye temukkutenga.

27“Nʼebyo byonna bwe binaalemanga okukyusa emitima gyammwe okumpulira, naye ne mweyongera okunjeemeranga;

28nange nnaabasunguwaliranga, nze kennyini ne mbeebonerereza emirundi musanvu olwʼebibi byammwe.

29Mulirya batabani bammwe ne bawala bammwe.

30Ndizikiriza ebyoto bya bakatonda bammwe, ne ntemaatema bakatonda abalala, ne ntuuma emirambo gyammwe ku mirambo gya bakatonda abalala; era ndibakyawa.

31Ebibuga byammwe binaasigaliranga awo tayo, nʼebifo byammwe ebitukuvu nga tebiriiko abifaako, era nʼakaloosa akava mu biweebwayo byammwe tekansanyusenga.

32Ensi yammwe ndigifuula ddungu nʼabalabe bammwe abanaagibeerangamu ne bagyewuunya.

33Ndibasaasaanyiza mu mawanga ne mbagobereza ekitala kyange. Ensi yammwe erifuuka amalungu nʼebibuga byammwe nga bimenyeddwa.

34Awo ettaka ne liryoka lifuna emyaka egya ssabbiiti zaalyo mu bbanga eryo lye lirimala nga tewali alifaako, nga mmwe muli mu nsi zʼabalabe bammwe; ettaka ne liwummulako ne lyeyagalira mu ssabbiiti zaalyo ezo.

35Ebbanga eryo lyonna ettaka lye lirimala nga tewali kikolerwako, liriba nʼokuwummula kwe litaafuna mu ssabbiiti ezaayita bwe mwali nga mmwe mulibeerako.

36“Mu mmwe, abaliba basigaddewo nga bakyali balamu, nditeeka okutya mu mitima gyabwe nga bali eyo mu nsi zʼabalabe baabwe, nga nʼeddoboozi lyʼakakoola kʼomuti akafuumuulibwa nʼempewo kabatiisa. Banaddukanga ngʼabaliko abalabe abʼebitala ababagoba, banaagwanga newaakubadde nga tewaabeerengawo babawondera.

37Banaagwaŋŋanangako ngʼabadduka okwewonya omulabe owʼekitala newaakubadde nga tewaabengawo babawondera. Bwe mutyo temuusobolenga kwolekera balabe bammwe.

38Mulisaanawo mu mawanga; ensi zʼabalabe bammwe ziribamira.

39Nʼabo ku mmwe abanaabanga basigaddewo banaakoozimbiranga mu nsi zʼabalabe bammwe olwʼebibi byabwe, era balikoozimba nʼolwʼebibi bya bakitaabwe.

40“Naye bwe baneenenyanga ebibi byabwe nʼebyonoono bya bakitaabwe nʼobunnanfuusi bwabwe gye ndi nʼobujeemu bwabwe,

41ebyandeetera okubalaga obukambwe ne mbasindika ne mu nsi zʼabalabe baabwe, era amalala gʼemitima gyabwe egitali mikomole bwe galikkakkana ne bakkiriza okukola ebibonerezo olwʼebyonoono byabwe,

42kale ndijjukira endagaano yange ne Yakobo, ne nzijukira endagaano yange ne Isaaka nʼendagaano yange ne Ibulayimu, era ndijjukira nʼensi yaabwe.

43Naye ensi banaabanga bagivuddemu nʼefuna ssabbiiti zaayo kubanga abaagibeerangamu tebakyagirimu. Banaabonerezebwanga olwʼebibi byabwe kubanga baanyoomoolanga amateeka gange ne batagondera biragiro byange.

44Newaakubadde ngʼebyo biriba bwe bityo, bwe banaabanga mu nsi zʼabalabe baabwe, siibeggyengako wadde okubakyawanga nʼokumenyawo ne mmenyerawo ddala endagaano yange gye nalagaana nabo; kubanga Nze Mukama Katonda waabwe.

45Naye ku lwabwe, najjukiranga endagaano gye nalagaana ne bajjajjaabwe, be naggya mu nsi eyʼe Misiri nga nʼamawanga gonna galaba ndyoke mbeere Katonda waabwe. Nze Mukama.”

46Ago ge mateeka nʼebiragiro nʼamateeka amakulu Mukama ge yakolera abaana ba Isirayiri, nga bwe yalagira Musa, ku lusozi Sinaayi.