1Awo Mukama nʼagamba Musa nti,
2“Yogera eri abaana ba Isirayiri obagambe nti: Omuntu bwʼanaakolanga obweyamo obwʼenjawulo obwʼokuwaayo abantu eri Mukama naye ngʼasasulayo miwendo egibagyamu, onoobasaliranga bwʼoti:
3omusajja aweza emyaka egyʼobukulu egiri wakati wʼamakumi abiri nʼenkaaga anaaleetanga sekeri za ffeeza amakumi ataano
4naye bwʼanaabanga omukazi onoomusaliranga sekeri amakumi asatu
5Omuntu aweza emyaka egyʼobukulu egiri wakati wʼettaano nʼamakumi abiri, bwʼanaabanga omusajja onoomusaliranga sekeri amakumi abiri
6Bwʼanaabanga omwana ngʼali wakati wʼomwezi gumu nʼemyaka etaano, onoomusaliranga sekeri ttaano
7Omuntu bwʼanaabanga owʼemyaka egyʼobukulu nkaaga nʼokusingawo, omusajja onoomusaliranga sekeri kkumi na ttaano
8Omuntu eyakola obweyamo bwʼanaabanga omwavu ennyo atasobola kuleeta miwendo egyo gye wamusalira, anaayanjulwanga eri kabona; kale kabona anaamusaliranga omuwendo ogumugyamu ngʼageraageranya obusobozi bwʼoyo eyeeyama nga bwe bunaabanga.
9“Obweyamo bwʼomuntu bwe bunaabeeranga obwʼekisolo ekikkirizibwa ngʼekiweebwayo eri Mukama Katonda, ekisolo ngʼekyo ekiweebwayo eri Mukama Katonda kinaabanga kitukuvu.
10Tasaaniranga kukikyusaamu oba kukiwaanyisaamu ekibi mu kirungi wadde ekirungi mu kibi; bwʼanaabanga awaanyisizza ekisolo ekimu mu kirala, byombi kino na kiri kyʼawanyisizzaamu binaafuukanga bitukuvu.
11Ensolo omuntu gyʼanaabanga yeeyamye bwʼeneebanga etali nnongoofu
12ye alyokenga asalewo nga bwʼeri, oba nnungi oba mbi. Omuwendo kabona gwʼanaabaliriranga ku nsolo eyo, gwe gunaawebwangayo.
13Nannyini nsolo bwʼanaabanga ayagala okuginunulayo, anaasaniranga okugattako ekitundu ekimu ekyokutaano ku muwendo gwayo.
14“Omusajja bwʼanaawangayo ennyumba ye okubeera entukuvu eri Mukama Katonda kabona anaagirabiranga omuwendo ogugigyamu, oba nnungi oba mbi. Omuwendo ogwo kabona gwʼanaasalanga gwe gunaakolanga.
15Oyo anaawangayo ennyumba ye eri Mukama bwʼanaabanga ayagala okuginunula, anaayongerangako ekitundu kimu kyakutaano ku muwendo gwayo, olwo ngʼennyumba emuddira.
16“Omusajja bwʼanaawangayo ekitundu kyʼettaka lye, lye yasikira, eri Mukama Katonda, omuwendo oguligyamu gunaabalirirwanga nga gwesigamizibwa ku bungi bwʼensigo ezeetaagibwa okusiga ku ttaka eryo ne ziggweerako; ensigo za sayiri ezipimibwamu oma zinaabalirirwangamu sekeri
17Singa ennimiro ye, agiwaayo mu biseera byʼOmwaka gwa Jjubiri, omuwendo ogubaliriddwa gunaasigalanga nga bwe guli.
18Naye bwʼanaawangayo ennimiro ye nga Jjubiri eweddeko, kabona anagibalirirangamu omuwendo ngʼagwesigamya ku myaka eginaabanga gibulayo Omwaka gwa Jjubiri eddirira gulyoke gutandike, nʼomuwendo ogwali gubaliriddwa gunaakendeezebwangako.
19Era oyo anaabanga awaddeyo ennimiro ye bwʼanaayagalanga okuginunula, kale anaagattangako ekitundu kimu kyakutaano ku muwendo gwayo, olwo ennimiro nʼemuddira.
20Naye bwʼanaabanga tayagala kununula nnimiro eyo, oba bwʼanaabanga agiguzizza omuntu omulala, kale ngʼolwo tekyanunulibwa nʼakamu.
21Naye mu Mwaka gwa Jjubiri ennimiro eyo bwʼeneeteebwanga, eneebanga ntukuvu eri Mukama, ngʼennimiro eyawongebwa ewa Mukama; eneebanga ya kabona.
22“Omusajja bwʼanaawangayo eri Mukama Katonda ennimiro gye yagula, etali ku ttaka lye eryʼobwannannyini,
23kabona anaabaliriranga omuwendo ogugigyamu okutuuka ku mwaka gwa Jjubiri, omusajja anaasasulanga omuwendo ogwo ku lunaku olwo ngʼekintu ekitukuvu eri Mukama Katonda.
24Mu mwaka gwa Jjubiri, ennimiro eneddizibwanga oyo gwe yagigulako, nga yʼoyo eyali nannyini ttaka.
25Buli muwendo ogubalirirwa guneesigamizibwanga ku sekeri zʼAwatukuvu, nga gera
26“Tewabanga awaayo omwana gwʼensolo omubereberye eri Mukama, kubanga abaana bʼensolo ababereberye bonna ba Mukama, oba nte oba ndiga zonna za Mukama Katonda.
27Bwʼanaabanga awaddeyo emu ku nsolo ezitali nnongoofu, anagisasuliranga omuwendo gwayo ogwagibalirirwamu, ngʼagattako ekitundu kimu kyakutaano ekyʼomuwendo gwayo. Bwʼataaginunulengayo eneetundwanga omuwendo ogwagibalirirwamu.
28
29Omuntu eyawongebwa nga wa kuttibwa, taanunulibwenga kinaamusaaniranga kuttibwa.
30“Buli kitundu ekyʼekkumi ekiva mu nsi, gamba ku mmere eyʼempeke eva mu ttaka, oba ku bibala ebiva ku miti, kya Mukama Katonda, era kitukuvu eri Mukama Katonda.
31Omuntu anaayagalanga okununula ku bitundu bye ebyʼekkumi, anaagatangako ekitundu kimu kyakutaano ku muwendo gwakyo.
32Ebitundu ebyʼekkumi byonna ebyamagana gʼente nʼebyʼebisibo byʼendiga, kwe kugamba nti Buli nsolo omusumba gyʼanaabalanga nga ya kkumi, eneebanga ntukuvu eri Mukama Katonda.
33Tasaaniranga kulondamu nnungi ngʼalekawo embi, oba okuwaanyisa. Bwʼanaawaanyisanga ngʼolwo ensolo zombi, eri nʼeno ewanyisizibbwa zinaafuukanga ntukuvu teziinunulibwenga.”
34Ago ge mateeka Mukama Katonda ge yawa Musa ku lusozi Sinaayi agategeeze abaana ba Isirayiri.