Ebyabaleevi 3:1-17 LGCB2014 - Bible AI

1“ ‘Omuntu bwʼanaaleetanga ekiweebwayo olwʼemirembe eri Mukama, ekiweebwayo ekyo nga kya nte nnume oba nkazi gyʼaggye mu kiraalo kye, ente eyo tebeerengako kamogo.

2Omuntu aleese ekiweebwayo ekyo anaakwatanga omutwe gwakyo nʼakittira ku mulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu; batabani ba Alooni, bakabona, ne balyoka bamansira omusaayi ku kyoto okukyebungulula.

3Omu ku bakabona anaggyanga ebintu bino mu kiweebwayo olwʼemirembe ekireeteddwa nga kyokeddwa mu muliro, nga kye kiweebwayo eri Mukama; anaawangayo amasavu agabikka ku byenda, nʼamasavu gonna agali okumpi nʼebyenda,

4nʼensigo zombi awamu nʼamasavu agaziriko okuliraana ekiwato, nʼekibikka ku kibumba nga biggyibwako wamu nʼensigo.

5Kale batabani ba Alooni banaabyokeranga kungulu ku kiweebwayo ekyokebwa ekiri ku nku eziri ku muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.

6“ ‘Omuntu anaggyanga mu kisibo kye ekisolo ekisajja oba ekikazi nga tekiriiko kamogo, nʼakiwaayo eri Mukama.

7Bwʼanaaleetanga endiga ento nga kye kiweebwayo kye eri Mukama,

8anaagikwatanga omutwe gwayo, nʼagittira mu maaso ga Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu. Kale batabani ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto nʼokukyebunguluza.

9Mu kiweebwayo olwʼemirembe kyʼanaaleetanga okuwaayo ngʼekiweebwayo eri Mukama nga kyokebwa mu muliro, anaggyangamu bino nʼabiwaayo eri Mukama: anaawangayo amasavu nʼomukira gwonna nʼamasavu gaagwo, nga gusaliddwako okumpi nʼomugongo, nʼamasavu agabikka ku byenda, nʼamasavu gonna agali okumpi nʼebyenda,

10nʼensigo zombi awamu nʼamasavu agaziriko okuliraana ekiwato, nʼekibikka ku kibumba, nga biggyibwako wamu nʼensigo.

11Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okubeera ekyokulya ekiweebwayo eri Mukama nga kyokeddwa mu muliro.

12“ ‘Ekiweebwayo kye bwe kinaabanga embuzi, anaagiwangayo ngʼekiweebwayo eri Mukama;

13anaagikwatanga omutwe gwayo, nʼagittira mu maaso ga Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu. Kale batabani ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto nʼokukyebunguluza.

14Awo anaawangayo ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro ngʼakiggya okwo: amasavu agabikka ebyenda, nʼamasavu gonna agaliraanye ebyenda,

15nʼensigo zombi nʼamasavu agaziriko okuliraana ekiwato, nʼekibikka ku kibumba nga biggyibwako wamu nʼensigo.

16Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okubeera ekyokulya ekiweebwayo nga kyokebwa mu muliro okuvaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. Amasavu gonna ganaabanga ga Mukama.

17“ ‘Ekintu kino kinaabeeranga etteeka eryʼebiro byonna okuyita mu mirembe eginaagendanga giddiriragana mu bifo byonna gye munaabeeranga. Temulyanga masavu wadde omusaayi.’ ”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>