Ebyabaleevi 4:1-35 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Mukama nʼayogera ne Musa nʼamugamba nti,

2“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti Bino bye biragiro eri buli muntu anaasobyanga ku mateeka ga Mukama nga tagenderedde, nʼakola ekintu kyonna Mukama kye yalagira obutakikolanga.

3“Singa Kabona eyafukibwako amafuta agʼomuzeeyituuni ayonoona, bwʼatyo abantu nʼabaleetako omusango olwʼekibi kyʼanaabanga akoze, anaaleeteranga Mukama ente ennume entoototo etaliiko kamogo, nga kye kiweebwayo eri Mukama olwʼekibi.

4Sseddume eyo anaagireetanga ku mulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, mu maaso ga Mukama; anaagikwatanga omutwe gwayo nʼagittira awo mu maaso ga Mukama.

5Awo kabona eyafukibwako amafuta agʼomuzeeyituuni anaatoolangako ku musaayi gwa sseddume eyo nʼaguleeta mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.

6Anannyikanga olugalo lwe mu musaayi ogwo nʼagumansirako emirundi musanvu awo eggigi eryʼawatukuvu we litunudde mu maaso ga Mukama.

7Awo kabona anaddiranga ku musaayi, nʼagusiiga ku mayembe agʼoku kyoto okwoterezebwa obubaane obwʼakawoowo, ekiri mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu mu maaso ga Mukama. Omusaayi gwa sseddume ogunaasigalangawo gwonna, anaaguyiwanga ku ntobo yʼekyoto ekyʼebiweebwayo ebyokebwa ekiri ku mulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.

8Amasavu gonna aganaabanga mu sseddume eyʼekiweebwayo olwʼekibi, anaagaggyangako: amasavu agabikka ebyenda, nʼamasavu gonna agaliraanye ebyenda,

9nʼensigo zombi nʼamasavu agazirimu okuliraana ekiwato, nʼekibikka ku kibumba ngʼabiggyirako wamu nʼensigo,

10(nga bwe biggyibwa ku nte eyʼekiweebwayo olwʼemirembe), bwʼatyo kabona anaabyokeranga ku kyoto ekyʼebiweebwayo ebyokebwa.

11Naye eddiba lya sseddume eyo nʼennyama yaayo yonna, nʼomutwe gwayo, nʼamagulu gaayo, nʼebyʼomu nda byayo nga nʼebyenda kwebiri, awamu nʼobusa bwayo,

12ye sseddume yonna, anaagitwalanga wabweru wʼolusiisira mu kifo ekiyonjo awayiyibwa evvu lyʼekyoto, anaatindiranga enku nʼakuma omuliro nʼagyokeranga okwo.”

13“Ekibiina kyonna ekyʼAbayisirayiri bwe kinaayonoonanga nga tekigenderedde, ne kikola ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, ekibiina ne bwe kinaabanga tekitegedde nti kisobezza, banaabanga bazzizza omusango.

14Ekibi ekikoleddwa bwe kinaategeerekekanga, ekibiina kinaaleetanga sseddume yʼente entoototo mu maaso ga Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, nga kyʼekiweebwayo olwʼekibi.

15Abakulembeze bʼekibiina banassanga emikono gyabwe ku mutwe gwa sseddume eyo mu maaso ga Mukama, sseddume eyo nʼettirwa mu maaso ga Mukama.

16Awo kabona eyafukibwako amafuta agʼomuzeeyituuni anaatwalangako ku musaayi gwa sseddume eyo nʼaguleeta mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.

17Anannyikanga olugalo lwe mu musaayi ogwo nʼagumansira emirundi musanvu awo eggigi lyʼawatukuvu we litunudde mu maaso ga Mukama.

18Anaddiranga ku musaayi nʼagusiiga ku mayembe agʼoku kyoto ekiri mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu mu maaso ga Mukama. Omusaayi ogunaasigalangawo gwonna anaagufukanga ku ntobo yʼekyoto ekyʼebiweebwayo ebyokebwa ekiri ku mulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.

19Anaggyangamu amasavu gaayo gonna nʼagookera ku kyoto,

20nʼakola ku sseddume eno nga bwe yakola ku sseddume eyʼekiweebwayo olwʼekibi. Bwʼatyo kabona anaatangiririranga abantu bonna mu kibiina, era ne basonyiyibwa.

21Anaafulumyanga sseddume eno ebweru wʼolusiisira nʼagyokya nga bwe yayokya sseddume eri eyasooka. Kino kye kiweebwayo olwʼekibi ku lwʼekibiina kyʼabantu bonna.”

22“Omufuzi bwʼanaayonoonanga nga tagenderedde nʼakola ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, anaabanga azzizza omusango.

23Ekibi ekyo kyʼakoze bwe kinaamalanga okumutegeezebwa, anaaleetanga ekiweebwayo kye ekyʼembuzi ensajja etaliiko kamogo.

24Anagikwatanga ku mutwe gwayo, nʼagittira awo mu maaso ga Mukama we battira ebiweebwayo ebyokebwa. Ekyo nga kye kiweebwayo olwʼekibi.

25Awo kabona anaddiranga ku musaayi ogwʼekiweebwayo olwʼekibi, nʼolugalo lwe, nʼagusiiga ku mayembe agʼoku kyoto ekyʼebiweebwayo ebyokebwa. Omusaayi ogunaabanga gusigaddewo gwonna anaaguyiwanga ku ntobo eyʼekyoto ekyʼebiweebwayo ebyokebwa.

26Amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku kyoto okwo, okufaanana ngʼamasavu olwʼekiweebwayo olwʼemirembe bwe ganaayokebwanga. Bwʼatyo kabona anaatangiririranga omufuzi oyo olwʼekibi kye, nʼasonyiyibwa.”

27“Omuntu yenna owabulijjo bwʼanaayonoonanga nga tagenderedde, nʼakola ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, anaabanga azzizza omusango.

28Ekibi ekyo kyʼakoze bwe kinaamalanga okumutegeezebwa, anaaleetanga ekiweebwayo kye ekyʼembuzi enkazi etaliiko kamogo, olwʼekibi ekyo kyʼakoze.

29Anaakwatanga ku mutwe gwʼekiweebwayo ekyo olwʼekibi, nʼakittira awo awattirwa ebiweebwayo ebyokebwa.

30Awo kabona anaddiranga ku musaayi gwakyo nʼolugalo lwe nʼagusiiga ku mayembe agʼoku kyoto ekyʼebiweebwayo ebyokebwa. Omusaayi ogunaabanga gusigaddewo, gwonna anaaguyiwanga ku ntobo eyʼekyoto ekyʼebiweebwayo ebyokebwa.

31Amasavu gaakyo anaagaggyangamu nga agʼomu biweebwayo olwʼemirembe bwe gaggyibwamu; kabona anaagookeranga ku kyoto ne gavaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. Bwʼatyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olwʼekibi kye, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga.”

32“Bwʼanaabanga aleese endiga ento ngʼekiweebwayo kye olwʼekibi, anaaleetanga nkazi etaliiko kamogo.

33Anaagikwatanga ku mutwe, nʼagittira awo awattirwa ebiweebwayo ebyokebwa, nga kye kiweebwayo olwʼekibi.

34Awo kabona anaddiranga ku musaayi ogwʼekiweebwayo olwʼekibi, nʼolugalo lwe, nʼagusiiga ku mayembe agʼoku kyoto ekyʼebiweebwayo ebyokebwa. Omusaayi ogunaabanga gusigaddewo, gwonna anaaguyiwanga ku ntobo eyʼekyoto ekyʼebiweebwayo ebyokebwa.

35Amasavu gaayo anaagaggyangamu nga agʼomu biweebwayo olwʼemirembe bwe gaggyibwamu, era kabona anaagookeranga ku kyoto ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Bwʼatyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olwʼekibi kye, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>