1“Omuntu bwʼategyengayo ku kintu kyʼamanyi, nʼawa obujulirwa ku kintu kye yalaba oba kye yawulira nga kikyamu, anaabanga azzizza omusango.”
2“Omuntu yenna bwʼanaakwatanga ku kintu ekitali kirongoofu, gamba omulambo gwʼensolo eyʼomu nsiko etali nnongoofu, oba ku mulambo gwʼente etali nnongoofu, oba ku mirambo gyʼebiramu ebyekulula ebitali birongoofu, ne bwʼanaabanga takitegedde, anaabanga afuuse atali mulongoofu, era anaabanga azzizza omusango.”
3“Oba bwʼanaakwatanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu ekivudde mu muntu nga si kirongoofu mu buli ngeri yonna, ne kimufuula atali mulongoofu, ne bwʼanaabanga takigenderedde, bwʼanaategeranga kyʼakoze nga kibi, anaabanga azzizza omusango.”
4“Omuntu bwʼanaayanguyirizanga okulayira okukola ekintu kyonna, oba kirungi oba kibi, ngʼamaze galayira nga tafuddeeyo, ne bwʼanaabanga takigenderedde, bwʼanaategeranga kyʼakoze bwe kiri, anaabanga azzizza omusango mu buli ngeri yonna gyʼanaabanga alayiddemu.”
5“Omuntu bwʼanazzanga omusango mu kyonna kyonna ku ebyo ebizze byogerwako, anaateekwanga okwatula ekibi ekyo kyʼanaabanga akoze,
6era nʼaleeta ekiweebwayo kye olwʼomusango eri Mukama olwʼekibi ekyo. Anaaleetanga endiga ento enkazi oba embuzi enkazi ngʼabiggya mu kisibo kye, nga kye kiweebwayo olwʼekibi; era kabona anaatangiririranga omuntu oyo olwʼekibi kye.”
7“Omuntu bwʼanaabanga omwavu, nga tasobola kuleeta ndiga nto olwʼobwavu bwe, anaaleetanga bukaamukuukulu bubiri oba enjiibwa ento bbiri eri Mukama, olwʼekibi omuntu oyo kyʼakoze, nga kyʼekiweebwayo olwʼekibi, ekimu nga kye kyʼekiweebwayo olwʼekibi ekirala nga kye kyʼekiweebwayo ekyokebwa.
8Anaabireeteranga kabona, nʼasooka okuwaayo ekiweebwayo olwʼekibi. Kabona anaanyoolanga ensingo yʼekiweebwayo, naye nga tagikutuddeeko;
9anaddiranga ku musaayi ogwʼekiweebwayo olwʼekibi nʼagumansira ku mabbali gʼekyoto. Omusaayi gwonna ogunaabanga gusigaddewo anaaguttululiranga ku ntobo yʼekyoto. Kino kye kiweebwayo olwʼekibi.
10Kabona anaawangayo ekiweebwayo ekyokubiri nga kye kiweebwayo ekyokebwa ngʼagoberera ebiragiro nga bwe bigamba. Bwʼatyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olwʼekibi kye kyʼanaabanga akoze, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga.”
11“Omuntu oyo omwavu bwʼanaabanga tasobola kuleeta bukaamukuukulu bubiri oba enjiibwa ento bbiri, anaaleetanga ekiweebwayo olwʼekibi kye, kimu kya kkumi ekya efa
12Anaakireeteranga kabona, era kabona anaatoolangako olubatu, nga kye kitundu ekyʼekijjukizo kyakyo, nʼakyokera ku kyoto, ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Kino nga kye kiweebwayo olwʼekibi.
13Bwʼatyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olwʼekibi kyʼanaabanga akoze mu bintu ebyo byonna, era anaasonyiyibwanga. Ebyo byonna ebinaasigalangawo ku kiweebwayo kino binaabanga bya kabona, nga bwe kiri mu biragiro byʼekiweebwayo ekyʼemmere yʼempeke.”
14Mukama nʼagamba Musa nti,
15“Omuntu bwʼanazzanga omusango ngʼasobezza mu bimu ku ebyo ebitukuvu bya Mukama nga tagenderedde, anaaleetanga eri Mukama ekiweebwayo kye olwʼomusango, endiga ennume etaliiko kamogo ngʼagiggya mu kisibo kye; eneebalirirwanga omuwendo ogugigyamu mu ffeeza, ngʼebipimo byʼawatukuvu bwe biri, ye sekeri
16Era anaaliwanga olwʼekyo kye yazzaako omusango mu bitukuvu bya Mukama, era anaayongerangako ekitundu kimu ekyokutaano ekyʼomuwendo gwʼekyo kyʼanabanga asobezza; engassi eyo anaagiwanga kabona. Kabona anaatangiririranga omuntu oyo nʼendiga ennume eyʼekiweebwayo olwʼomusango, bwʼatyo anaasonyiyibwanga.”
17“Omuntu yenna bwʼanaayonoonanga nʼakola ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, ne bwʼanaabanga takitegedde, anazzanga omusango.
18Anaaleeteranga kabona endiga ennume eteriiko kamogo ngʼagiggya mu kisibo kye, ngʼebalirirwamu omuwendo ogugya mu kiweebwayo olwʼomusango. Kabona anaamutangiririranga olwʼekisobyo kyʼanaabanga akoze nga tagenderedde, era anaasonyiyibwanga.
19Ekyo nga kye kiweebwayo olwʼomusango, kubanga anaabanga ayonoonye mu maaso ga Mukama.”