Ebyabaleevi 6:1-30 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Mukama nʼagamba Musa nti,

2“Omuntu bwʼanaayonoonanga nʼamenya obwesigwa eri Mukama olwʼokulimbalimba munne ku kye yamuteresa, oba kye yamukwasa, oba omuntu oyo kye yabba; oba bwʼanabbiranga munne,

3oba bwʼanaazuulanga ebyali bibuze naye nʼalimba; oba bwʼanaalayiranga ebyʼobulimba, oba bwʼanaayonoonanga mu bintu ngʼebyo byonna abantu mwe batera okwonoona,

4bwʼanaayonoonanga bwʼatyo anaabangako omusango; kinaamusaaniranga okuzzaayo ebyo bye yabba oba bye yanyaga, oba bye yateresebwa oba ebyo ebyali bibuze naye nʼabizuula,

5oba ekintu kyonna kye yalayirirako ebyʼobulimba. Anaaliwanga mu bujjuvu era anaagattangako ekitundu kimu kyakutaano ekyʼebyo byʼaliwa; bwʼatyo anaabiddizanga nnyinibyo ku lunaku omuntu oyo lwʼanaaleeterangako ekiweebwayo olwʼomusango.

6Era anaaleeteranga kabona ekiweebwayo eri Mukama olwʼomusango, nga kya ndiga ennume eteriiko kamogo ngʼagiggya mu kisibo kye, ngʼogibaliriddemu omuwendo ogugya mu kiweebwayo olwʼomusango.

7Awo kabona anaatangiririranga omuntu oyo mu maaso ga Mukama, era anaasonyiyibwanga mu bintu ebyo byonna byʼanaabanga akoze nʼazza omusango.”

8Mukama nʼagamba Musa nti,

9“Lagira Alooni ne batabani be nti: Lino lye tteeka eryʼebiweebwayo ebyokebwa. Ekiweebwayo ekyokebwa kinaabeeranga ku kyoto ekiro kyonna okutuusa enkeera, era omuliro gwʼomu kyoto gunaabanga gwaka ebbanga lyonna.

10Awo kabona anaayambalanga ebyambalo bye ebya bafuta, ngʼasooseemu ebyʼomunda ebya bafuta ku mubiri gwe, nʼaddira evvu eriri mu kyoto eryʼekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto, nʼalissa wabbali wʼekyoto.

11Aneeyambulangamu ebyambalo ebyo, nʼayambala ebyambalo ebirala, nʼasitula evvu nʼalitwala ebweru wʼolusiisira mu kifo ekirongoofu ekyʼemikolo ngʼegyo.

12Omuliro gunaasigalanga nga gwaka ebbanga lyonna, teguuzikirenga. Buli nkya kabona anaayongerangako enku ku kyoto; era anaatereezangako ekiweebwayo ekyokebwa ngʼakitegese bulungi; era anaayokerangako amasavu agʼebiweebwayo olwʼemirembe.

13Omuliro gunaasigalanga gwaka ku kyoto ebbanga lyonna; teguuzikirenga.

14“Era lino lyʼetteeka eryʼebiweebwayo ebyʼemmere eyʼempeke. Batabani ba Alooni banaaleetanga ekiweebwayo ekyo awali Mukama mu maaso gʼekyoto.

15Kabona anaayoolanga olubatu lwʼobuwunga obulungi obwʼekiweebwayo ekyʼemmere yʼempeke nʼamafuta gaako agʼomuzeeyituuni nʼobubaane bwonna, ebiri ku kiweebwayo ekyo, nʼakyokya ku kyoto nga kye kitundu ekyʼekijjukizo kyakyo, ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.

16Batabani ba Alooni banaalyanga ekisigaddewo, naye nga tebaliiramu kizimbulukusa mu kifo ekyo ekitukuvu; banaakiriiranga mu luggya lwʼEweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.

17Tekiiyokerwengamu kizimbulukusa. Nkibawadde nga kye kinaabanga omugabo gwabwe ogwʼoku biweebwayo byange ebyokebwa, kye kintu ekitukuvu ennyo okufaanana ngʼekiweebwayo olwʼekibi nʼekiweebwayo olwʼomusango.

18Buli mwana mulenzi ava mu Alooni anaayinzanga okukiryako, ngʼetteeka eryʼemirembe gyonna bwe ligamba erifa ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Buli anaabikwatangako anaafuukanga mutukuvu.”

19Mukama nʼagamba Musa nti,

20“Kino kyʼekiweebwayo Alooni ne batabani be kye banaawangayo eri Mukama ku lunaku lwe banaafukibwangako amafuta agʼomuzeeyituuni: ekitundu ekyʼekkumi ekya liita bbiri, nga kilo emu eyʼobuwunga obulungi, nga kye kiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke nga kisalirwa wakati ekitundu ekimu, enkya, nʼekitundu ekirala, akawungeezi.

21Bunaafumbibwanga nʼamafuta agʼomuzeeyituuni ku fulampeni, ne butabulwa bulungi, ne buweebwayo eri Mukama nga kye kiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke, ekivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.

22Kabona owʼomu baana ba Alooni anaabanga afukiddwako amafuta agʼomuzeeyituuni okumusikira, yʼanaakiwangayo eri Mukama ngʼamateeka bwe galagira emirembe gyonna; ekiweebwayo kyonna kinaayokebwanga.

23Buli kiweebwayo kyonna ekyʼemmere eyʼempeke kabona kyʼanaawangayo kinaayokebwanga bulambalamba; tekiiriibwenga.”

24Mukama nʼagamba Musa nti,

25“Tegeeza Alooni ne batabani be nti Bino bye biragiro ebyʼekiweebwayo olwʼekibi. Ekiweebwayo olwʼekibi kinattirwanga mu maaso ga Mukama awo wennyini ebiweebwayo ebyokebwa we bittirwa; kiweebwayo kitukuvu nnyo.

26Kabona anaakiwangayo olwʼekibi yʼanaakiryanga. Kinaalirwanga mu kifo ekitukuvu mu luggya lwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.

27Buli ekinaakoonanga ku nnyama yʼekiweebwayo ekyo, kinaafuukanga kitukuvu; era ogumu ku musaayi gwakyo bwe gunaamansukiranga ekyambalo, kinaayozerwanga mu kifo ekitukuvu.

28Ensaka eyʼebbumba mwe kinaafumbirwanga eneeyasibwanga; naye bwe kinaafumbirwanga mu nsaka eyʼekyuma, eneekuutibwanga nʼemunyunguzibwamu nʼamazzi.

29Buli kabona omusajja anaayinzanga okukiryako; kiweebwayo kitukuvu nnyo.

30Naye ekiweebwayo olwʼekibi, omusaayi gwakyo nga guleeteddwako mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu olwʼokwetangirira mu kifo ekyo ekitukuvu, tekiiriibwenga, kyonna kinaayokebwanga.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>