Ebyabaleevi 7:1-38 LGCB2014 - Bible AI

1“ ‘Bino bye biragiro ebyʼekiweebwayo olwʼomusango; kinaabanga kitukuvu nnyo.

2Ekiweebwayo olwʼomusango kinattirwanga awo wennyini ekiweebwayo ekyokebwa we kittirwa, era omusaayi gwakyo gunaamansirwanga ku njuyi zonna ezʼekyoto okukyebungulula.

3Amasavu gaakyo gonna ganaawebwangayo: omukira ogwa ssava, amasavu agabikka ku byenda,

4ensigo zombi awamu nʼamasavu agaziriko okuliraana ekiwato, nʼekibikka ku kibumba nga biggyibwako wamu nʼensigo.

5Kabona anaabyokeranga ku kyoto nga kye kiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro. Ekyo kye kiweebwayo olwʼomusango.

6Buli kabona omusajja anaayinzanga okukiryako; kyokka kinaalirwanga mu kifo ekitukuvu. Kiweebwayo kitukuvu nnyo.

7Ebiragiro ebikwata ku kiweebwayo olwʼomusango bye bimu nʼebikwata ku kiweebwayo olwʼekibi. Kabona anaakozesanga ebiweebwayo ebyo olwʼokutangiririra, yʼanaabitwalanga.

8Kabona anaaweerangayo omuntu yenna ekiweebwayo kye ekyokebwa, yʼaneesigalizanga eddiba lyʼekiweebwayo ekyo.

9Era buli kiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke ekinaafumbibwanga mu oveni nʼekyo kyonna ekinaateekerwateekerwanga ku fulampeni oba ku lukalango, kabona oyo akiwaddeyo yʼanaakitwalanga.

10Era na buli kiweebwayo ekyʼempeke ekya buli ngeri, nga kitabuddwa mu mafuta agʼomuzeeyituuni oba nga kikalu kyereere, batabani ba Alooni be banaakitwalanga nga bakigabana kyenkanyi buli omu.

11“ ‘Bino byʼebiragiro ebyʼekiweebwayo olwʼemirembe omuntu kyʼanaawangayo eri Mukama.

12“ ‘Bwʼanaakiwangayo olwʼokwebaza, ekiweebwayo ekyo anaakigattirangako zikkeeke ezitabuliddwamu amafuta agʼomuzeeyituuni kyokka nga temuli kizimbulukusa, nʼobusukuuti obwʼoluwewere nga busiigiddwako amafuta agʼomuzeeyituuni, ne zikkeeke ezʼobuwunga obulungi ennyo nga zigoyeddwa bulungi mu mafuta.

13Awamu nʼebiweebwayo bye olwʼemirembe nʼolwʼokwebaza, anaaleeterangako emigaati emifumbe nʼekizimbulukusa.

14Ku buli kimu ku biweebwayo ebyo anaggyangako omugaati gumu nʼaguwaayo ngʼekiweebwayo eri Mukama; kabona anaamansiranga omusaayi ogwʼekiweebwayo olwʼemirembe yʼanaatwalanga ekiweebwayo ekyo.

15Ennyama yʼebiweebwayo byʼomuntu oyo byʼaleese olwʼemirembe olwʼokwebaza eneeriibwanga ku lunaku olwo lwennyini olwʼebiweebwayo bye ebyo; tekubangako gyʼasuzaawo.

16“ ‘Naye omuntu bwʼanaawangayo ekiweebwayo olwʼokutuukiriza obweyamo, oba olwʼokweyagalira, kinaaliibwanga ku lunaku olwo lwennyini lwʼakiwaddeyo; ekinaasigalangawo ku kiweebwayo ekyo kinaaliibwanga enkeera.

17Ennyama eyʼekiweebwayo eneefikkangawo nʼetuusa ku lunaku olwokusatu eneeyokebwanga mu muliro.

18Ennyama yʼekiweebwayo kyʼomuntu oyo olwʼemirembe bwʼeneeriibwanga ku lunaku olwokusatu, ekiweebwayo ekyo Mukama taakikkirizenga, nʼoyo akiwaddeyo tekiimubalirwengako kubanga tekiibenga kirongoofu, ne buli anaakiryangako anaabanga azzizza omusango.

19“ ‘Ennyama eneekoonanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu teeriibwenga, wabula eneeyokebwanga mu muliro; naye ku nnyama endala omuntu yenna omulongoofu anaayinzanga okulyako.

20Naye omuntu atali mulongoofu bwʼanaalyanga ku nnyama eyʼekiweebwayo eri Mukama olwʼemirembe, anaaboolebwanga nga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.

21Era omuntu yenna bwʼanaakwatanga ku kintu ekitali kirongoofu, obanga kivudde mu muntu oba mu nsolo, oba ekintu kyonna ekikyayibwa ekitali kirongoofu, ate nʼalya ku nnyama yʼekiweebwayo eri Mukama olwʼemirembe, omuntu oyo anaaboolebwanga, nga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.’ ”

22Mukama nʼagamba Musa nti,

23“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Temulyanga ku masavu ga nte, oba agʼendiga, oba agʼembuzi.

24Amasavu gʼensolo efudde obufi yokka, nʼamasavu gʼeyo etaaguddwataaguddwa ensolo endala munaagakozesanga ku bintu ebirala byonna ebyʼomugaso, naye tekabatandanga ne mugalyako.

25Kubanga buli muntu anaalyanga ku masavu agʼensolo eneevangako ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro, anaaboolebwanga, nga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.

26 Era buli kifo kyonna gye munaabeeranga, temuulyenga ku musaayi nʼakatono, ne bwe gunaabanga ogwʼebinyonyi oba ogwʼensolo.

27Omuntu yenna anaalyanga ku musaayi, omuntu oyo anaaboolebwanga, nga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.’ ”

28Mukama nʼagamba Musa nti,

29“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Omuntu anaaleetanga ekiweebwayo kye olwʼemirembe eri Mukama, anaawangayo eri Mukama Katonda ekitundu kyakyo.

30Anaakisitulanga nʼengalo ze nʼakireeta eri Mukama Katonda nga kye kiweebwayo kye ekyokeddwa mu muliro. Amasavu nʼekifuba nabyo anaabireetanga, nʼawuubawuuba ekifuba mu maaso ga Mukama, ngʼekyo kye kiweebwayo ekiwuubibwa.

31Amasavu kabona anaagokyanga ku kyoto, naye ekifuba kinaabanga kya Alooni ne batabani be.

32Ekisambi ekya ddyo kinaawebwanga kabona nga gwe mugabo gwe oguvudde ku kiweebwayo kyʼomuntu oyo olwʼemirembe.

33Mutabani wa Alooni anaabanga awaddeyo omusaayi nʼamasavu ebyʼekiweebwayo olwʼemirembe, yʼanaafunanga ekisambi ekya ddyo nga gwe mugabo gwe.

34Ku kiweebwayo olwʼemirembe ekyʼabaana ba Isirayiri, nzigyeko ekifuba ekiwuubibwawuubibwa nʼekisambi, ne mbiwa kabona Alooni ne batabani be, nga gwe gunaabanga omugabo gwabwe ogunaavanga mu baana ba Isirayiri emirembe gyonna.”

35Guno gwe mugabo nga guva ku biweebwayo eri Mukama Katonda ebyokeddwa mu muliro, ogwagerekerwa Alooni ne batabani be ku lunaku lwe baaleetebwa eri Mukama okumuweereza nga bakabona be.

36Ku lunaku lwe baafukibwako amafuta agʼomuzeeyituuni, Mukama Katonda yalagira nti Abaana ba Isirayiri babibawenga okubeeranga omugabo gwabwe, ogwʼenkalakkalira emirembe gyonna.

37Eryo lye tteeka nʼebiragiro ebifuga ebiweebwayo ebyokebwa, ebiweebwayo ebyʼemmere eyʼempeke, nʼebiweebwayo olwʼekibi, nʼebiweebwayo olwʼomusango, nʼebiweebwayo olwʼokwawulibwa, nʼebiweebwayo olwʼemirembe,

38Mukama Katonda bye yawa Musa ku lusozi Sinaayi ku lunaku lwe yalagirirako abaana ba Isirayiri okuleeta ebiweebwayo byabwe eri Mukama Katonda, mu ddungu lya Sinaayi.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>