1Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,
2
3okuŋŋaanyize abantu bonna ku mulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.”
4Musa nʼakola nga Mukama Katonda bwe yamulagira; abantu ne bakuŋŋaanira mu kibiina kinene ku mulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.
5Awo Musa nʼagamba ekibiina nti, “Kino Mukama Katonda kyʼatulagidde okukola.”
6Bwʼatyo Musa nʼaleeta Alooni ne batabani be nʼabanaaza nʼamazzi.
7Nʼayambaza Alooni ekkooti, nʼamusiba olwesibyo, nʼamwambaza omunagiro, nʼamwambaza nʼekyambalo ekya efodi, nʼamusibya olwesibyo lwa efodi olwalukibwa nʼamagezi amangi, nʼamunyweza.
8Nʼamuteekako ekyomukifuba, era mu kyomukifuba nʼateekamu Ulimu ne Sumimu.
9Nʼamusiba ekitambaala ku mutwe, ne mu maaso ku kitambaala nʼassaako ekipande ekya zaabu, nga ye ngule entukuvu, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
10
11Nʼamansira agamu ku mafuta ku kyoto emirundi musanvu, nʼayawula ekyoto ne byonna ebikozesebwako, nʼebbensani ne mwʼetuula, okubitukuza.
12Nʼafuka agamu ku mafuta agʼokwawula ku mutwe gwa Alooni, nʼamwawula, okumutukuza.
13Awo Musa nʼaleeta batabani ba Alooni nʼabambaza amakooti, nʼabasiba eneesibyo, nʼabambaza enkuufiira, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
14Awo nʼaleeta seddume eyʼekiweebwayo olwʼekibi; Alooni ne batabani be ne bakwata ku mutwe gwayo.
15Musa nʼagitta, nʼaddira omusaayi gwayo nʼagusiiga nʼolugalo lwe ku mayembe agʼoku kyoto okukyebungulula, nʼatukuza ekyoto. Omusaayi ogwasigalawo nʼaguyiwa wansi wʼekyoto, nʼakitukuza, okukitangiririra.
16Musa nʼaddira amasavu gonna agaali ku byenda, nʼagaali gabisse ku kibumba, nʼensigo zombi nʼamasavu gaazo, byonna nʼabyokera ku kyoto.
17Naye seddume, nʼeddiba lyayo, nʼennyama yaayo, nʼobusa bwayo, nʼabyokera mu muliro ebweru wʼolusiisira, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
18Awo nʼaleeta endiga ennume eyʼekiweebwayo ekyokebwa; Alooni ne batabani be ne bakwata ku mutwe gwayo.
19Musa nʼagitta, nʼamansira omusaayi gwayo buli wantu ku kyoto.
20Awo endiga ngʼewedde okusalwasalwa mu bifi, Musa nʼayokya ebifi ebyo nʼomutwe gwayo nʼamasavu.
21Ebyenda nʼamagulu nga biwedde okunaazibwa nʼamazzi, Musa nʼalyoka ayokya endiga yonna ku kyoto. Ekyo nga kye kiweebwayo ekyokye ekyʼakawoowo akasanyusa, nga kiweerwayo ku muliro eri Mukama, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
22Awo Musa nʼaleeta endiga ennume eyookubiri, nga yʼendiga eyʼekiweebwayo olwʼokwawulibwa; Alooni ne batabani be ne bagikwata ku mutwe gwayo.
23Musa nʼalyoka agitta, nʼaddira ku musaayi gwayo nʼagusiiga ku kasongezo kʼokutu kwa Alooni okwa ddyo, ne ku kinkumu ekyʼengalo ye eyʼomukono ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja ekyʼokugulu okwa ddyo.
24Batabani ba Alooni nabo ne baleetebwa, Musa nʼasiiga omusaayi ku busongezo bwʼamatu gaabwe aga ddyo, ne ku binkumu ebyʼengalo zaabwe ezʼemikono gyabwe egya ddyo, ne ku bigere ebisajja ebyʼamagulu gaabwe aga ddyo. Musa nʼaddira omusaayi nʼagumansira buli wantu ku kyoto okukyebungulula.
25Nʼaddira amasavu nʼomukira ogwo omusava, nʼamasavu gonna agaali ku byenda, nʼagaali gabisse ku kibumba, nʼensigo zombi nʼamasavu gaazo, nʼekisambi ekya ddyo;
26nʼalaba mu kibbo omubeera emigaati egitali mizimbulukuse egibeera mu maaso ga Mukama Katonda, nʼaggyamu akagaati kamu akatali kazimbulukuse, nʼakagaati akaakolebwa nʼamafuta agʼomuzeeyituuni, nʼakasukuuti akʼoluwewere kamu, nʼabiteeka ku masavu ne ku kisambi ekya ddyo;
27ebyo byonna nʼabikwasa Alooni ne batabani be mu ngalo zaabwe, ne babiwuubawuuba mu maaso ga Mukama Katonda, nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa.
28Awo Musa ebyo byonna nʼabibaggyako, nʼabyokera ku kyoto awamu nʼekiweebwayo ekyokebwa, nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda ekyʼokwawulibwa, ekyokebwa mu muliro ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa.
29Era Musa nʼaddira ekifuba nʼakiwuubawuuba, nga kye kiweebwayo eri Mukama ekiwuubibwa. Guno nga gwe mugabo gwa Musa ku ndiga ennume eyʼokwawulibwa, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
30Awo Musa nʼaddira ku mafuta agʼokwawula ne ku musaayi ogwali ku kyoto, nʼamansira ku Alooni ne ku byambalo bye, ne ku batabani be awamu ne ku byambalo byabwe. Bwʼatyo nʼatukuza Alooni nʼebyambalo bye awamu ne batabani be nʼebyambalo byabwe.
31Musa nʼagamba Alooni ne batabani be nti, “Ennyama mugifumbire awo ku mulyango gwʼEweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, era awo we muba mugiriira awamu nʼemigaati egiri mu kibbo omuli ebiweebwayo olwʼokwawulibwa, nga bwe nabalagira nga ŋŋamba nti, ‘Alooni ne batabani be baligirya.’
32Ebifisseewo ku nnyama ne ku migaati mujja kubyokya mu muliro.
33Era temufulumanga okuva ku mulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu okumala ennaku musanvu, okutuusa ngʼennaku zammwe ezʼokwawulibwa zituukiridde, kubanga okubaawula kugenda kumala ennaku musanvu.
34Mukama Katonda alagidde nti Nga bwe kikoleddwa leero bwe kinaakolebwanga bwe kityo okubatangiririra.
35Mujja kubeera ku mulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu emisana nʼekiro okumala ennaku musanvu, nga mukola ebyo Mukama byʼabalagidde, si kulwa nga mufa; bwe ntyo bwe ndagiddwa.”
36Bwe batyo Alooni ne batabani be ne bakola ebyo byonna Mukama Katonda bye yalagira ngʼabiyisa mu Musa.