1Ku lunaku olwʼomunaana Musa nʼayita Alooni ne batabani be nʼabakulembeze ba Isirayiri.
2Nʼagamba Alooni nti, “Ddira ennyana eya sseddume eweebwayo olwʼekibi, nʼendiga ennume olwʼekiweebwayo ekyokebwa, nga zombi teziriiko kamogo, oziweeyo ngʼekiweebwayo eri Mukama Katonda.
3Ogambe abaana ba Isirayiri nti, ‘Muddire embuzi ennume eweebwayo olwʼekibi, nʼennyana nʼomwana gwʼendiga, nga zino zombi zaakamala omwaka gumu obukulu era nga teziriiko kamogo, nga za kiweebwayo ekyokebwa;
4era nʼente eya sseddume nʼendiga ennume ebyʼebiweebwayo olwʼemirembe, nʼekiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke nga mulimu amafuta agʼomuzeeyituuni, byonna mubiweeyo nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda; kubanga ku lunaku lwa leero Mukama Katonda ajja kubalabikira.’ ”
5Bwe batyo ne baleeta byonna Musa bye yabalagira okuleeta mu maaso ga Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu. Abantu bonna, kye kibiina ekinene, ne basembera ne bayimirira awali Mukama Katonda.
6Musa nʼalyoka abagamba nti, “Kino kye kyo Mukama Katonda kye yabagambye okukola, era ekitiibwa kya Mukama kijja kubalabikira.”
7
8Awo Alooni nʼasembera ku kyoto, nʼatta ennyana eyʼekiweebwayo kye olwʼebyonoono bye.
9Batabani ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, nʼannyika olunwe lwe mu musaayi nʼagusiiga ku mayembe agʼoku kyoto, nʼafuka omusaayi ku ntobo yʼekyoto.
10Nʼaddira amasavu nʼensigo nʼebibikka ku kibumba ebyʼomu kiweebwayo olwʼekibi, nʼabyokera ku kyoto, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
11Ennyama nʼeddiba nʼabyokera mu muliro ebweru wʼolusiisira.
12Alooni nʼatta ekiweebwayo ekyokebwa; batabani be ne bamuleetera omusaayi, nʼagumansira ku kyoto okukyebungulula.
13Ne bamuleetera ebifi ebyʼekiweebwayo ekyokebwa nga nʼomutwe kweguli; byonna nʼabyokera ku kyoto.
14Nʼayoza ebyenda nʼamagulu, nʼabyokera wamu nʼekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto.
15Awo Alooni nʼaleeta ekiweebwayo olwʼabantu. Yaddira embuzi eyʼekiweebwayo olwʼebibi byʼabantu nʼagitta, nʼagiwaayo ngʼekiweebwayo kye olwʼekibi, kye yasooka olwʼebibi bye.
16Nʼaleeta ekiweebwayo ekyokebwa nʼakiwaayo ngʼetteeka bwe liragira.
17Nʼaleeta ekiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke, nʼayoolamu olubatu, nʼakyokya ku kyoto okuliraana nʼekiweebwayo ekyokebwa ekyʼomu makya.
18Ente ya sseddume nʼendiga ennume nazo nʼazitta, nga bye biweebwayo olwʼemirembe ebyʼabantu; batabani ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, nʼagumansira ku kyoto okukyebungulula enjuuyi zonna.
19Naye amasavu agʼente eya sseddume nʼago agʼendiga ennume, nʼamasavu agʼoku mukira, nʼago agabikka ku byenda, nʼensigo, nʼagabikka ku kibumba,
20ne bateeka amasavu gaabyo ku bifuba byʼensolo ezo, nʼayokya amasavu ago ku kyoto;
21naye ebifuba nʼekisambi ekya ddyo, Alooni nʼabiwuubawuuba mu maaso ga Mukama Katonda nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa eri Mukama Katonda, nga Musa bwe yalagira.
22
23Musa ne Alooni ne bayingira mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu. Bwe baafuluma ne basabira abantu omukisa, era ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kirabikira abantu bonna.
24Omuliro ne gujja nga guva eri Mukama Katonda ne gumalirawo ddala ekiweebwayo ekyokebwa nʼamasavu ebyali ku kyoto. Awo abantu bonna bwe baakiraba ne baleekaana ne bagalamira wansi ngʼamaaso gaabwe gali ku ttaka.