1Oluvannyuma lwʼokufa kwa Yoswa, Abayisirayiri ne babuuza Mukama Katonda nti, “Ani mu ffe alisooka okwaŋŋanga Abakanani okubalwanyisa?”
2Mukama Katonda nʼabaddamu nti Yuda yalisooka, era laba mbawadde obuwanguzi ku Bakanani.
3Abasajja ba Yuda ne bagamba baganda baabwe abasajja ba Simyoni
4Yuda nʼalumba Abakanani nʼAbaperezi e Bezeki era Mukama nʼamuwa obuwanguzi nʼabattamu abasajja omutwalo mulamba.
5Ne bagwikiriza Adonibezeki mu Bezeki; ne bamulwanyisa era ne batta abasajja be.
6Naye Adonibezeki ne yeemulula, ne bamuwondera, ne bamukwata era ne bamusalako engalo ze ensajja nʼebigere ebisajja
7Adonibezeki ne yejjusa nʼagamba nti, “Nga bakabaka ensanvu abaasalibwako engalo zaabwe ensajja nʼebigere ebisajja, bwe baalondalondanga obukunkumuka wansi wʼemmeeza yange, nange bwe ŋŋenda okuba. Kye nakola bannange Katonda nange akintusizzaako.” Ne bamutwala e Yerusaalemi nʼafiira eyo.
8Abasajja ba Yuda ne balumba ekibuga Yerusaalemi ne bakiwamba ne batta abantu baamu nʼekitala, oluvannyuma ne bakyokya.
9Awo abasajja ba Yuda ne balumba Abakanani abaabeeranga mu nsozi ne mu biwonvu ne mu bukiika obwa ddyo.
10Ate Yuda nʼalumba Abakanani abaabeeranga e Kebbulooni (edda ekyayitibwanga Kiriasualuba), mu lutalo olwali eyo mwe battira Sesayi, Akimaani ne Talumaayi.
11Ate nʼavaayo nʼalumba abaabeeranga e Debiri edda ekyayitibwanga Kiriasuseferi.
12
13Osunieri, omwana wa Kenazi muto wa Kalebu nʼakiwamba bwʼatyo nʼaweebwa Akusa okumuwasa.
14Awo Osunieri bwe yamala okuwasa Akusa nʼamufukuutirira asabe kitaawe ennimiro; Akusa nʼaddayo eri kitaawe, bwe yali ava ku ndogoyi, Kalebe nʼamubuuza nti oyagala ki?
15Nʼamuddamu nti, “Wampa ensi nkalu eyʼobukiikaddyo naye kaakano nnyongera ekitundu ekirimu nʼenzizi ezʼamazzi.” Kalebu nʼamuwa ekitundu ekirimu enzizi ekyengulu nʼekyemmanga.
16Abazzukulu bʼOmukeeni, mukoddomi wa Musa ne bava mu kibuga ekyʼenkindu ne bagendera wamu nʼabasajja ba Yuda ne batuuka mu ddungu lya Yuda eryali mu bukiikaddyo obwa Aladi ne babeera wamu nʼabantu baayo.
17Awo Yuda nʼagenda ne muganda we Simyoni ne balumba Abakanani abaabeeranga e Zefasi, ne babazikiririza ddala era ne bakituuma erinnya Koluma.
18Era Yuda nʼawamba Gaza, Asukulooni ne Ekuloni nʼebitundu ebyetoolodde ebibuga bino.
19Mukama yali wamu ne Yuda nʼawangula abantu abaabeeranga mu nsozi okuggyako yalemwa okuwangula abantu abaabeeranga mu kiwonvu kubanga baalina amagaali agʼekyuma.
20Kebbulooni nʼekiweebwa Kalebu, nga Musa bwe yalagira, nʼakifuumulamu batabani ba Anaki abasatu.
21
22Nʼabasajja ba Yusufu ne balumba Beseri era Mukama yali wamu nabo.
23Abasajja ba Yusufu ne batuma abakessi okuketta ekibuga kyʼe Beseri edda ekyayitibwanga Luzi.
24Abakessi bwe baalaba omusajja ngʼava mu kibuga ne bamugamba nti tukwegayiridde tulage omulyango oguyingira mu kibuga naffe tunaakuyisa bulungi.
25Awo bwe yabalaga awayingirirwa, ne bazikiriza nʼekitala abantu bʼomu kibuga ekyo; ne batakola kabi konna ku musajja oyo nʼabʼomu nnyumba ye bonna.
26Omusajja oyo nʼasengukira mu nsi yʼAbakiiti, nʼazimbayo nʼekibuga nʼakituuma Luzi, nʼokutuusa kaakano bwe kiyitibwa.
27Ye Manase teyagoba bantu abaabeeranga mu Besuseani, ne mu Taanaki ne mu Poliyadde abaabeeranga mu Ibuleamu, ne mu Megiddo, nʼebyalo ebiriraanye ebibuga ebyo. Naye Abakanani ne bagaanira ddala okuva mu nsi eyo.
28Awo Abayisirayiri bwe beeyongera amaanyi ne bawaliriza Abakanani okubakoleranga emirimu mu kifo kyʼokugobwa mu nsi eyo.
29
30Era ne Zebbulooni teyagoba abantu abaabeeranga mu Kitulooni yadde abaabeeranga mu Nakaloli, naye Abakanani bano nʼabakkiriza okubeeranga awamu naye nga bwe bamusasula omusolo.
31Aseri teyagoba bantu abaabeeranga mu Akko yadde abʼomu Sidoni nʼabʼomu Alaba nʼabʼomu Akuziba nʼabʼomu Keruba nʼabʼomu Afiki yadde abʼomu Lekobu,
32naye Abakanani ne bakkirizibwa okubeera awamu nʼabantu ba Aseri.
33Nafutaali teyagoba bantu abaabeeranga mu Besusemesi ne mu Besuanasi naye nʼabakkirizanga okubeeranga awamu nʼabantu be nga bwe bamusasula omusolo.
34Bo abasajja ba Ddaani tebaasobola kuwamba nsi yʼAbamoli eyʼomu kiwonvu era Abamoli ne babafuumuula ne baabazaayo mu nsozi.
35Newaakubadde Abamoli baalwanirira nnyo okubeera ku lusozi Keresi, mu Ayalooni ne Saalubimu naye abʼomu kika kya Yusufu ne babafufuggaza era ne babawaliriza okubawanga omusolo.
36Ensalo yʼAbamoli yayitanga awo ngʼoyambuka Akulabbimu nʼokweyongerayo.