1Awo oluvannyuma lwa Abimereki, ne wabaawo Toola mutabani wa Puwa, era muzzukulu wa Dodo, omusajja wa Isakaali eyajja okulokola Isirayiri, eyabeeranga mu Samiri mu nsi ya Efulayimu eyʼensozi.
2Nʼakulembera Isirayiri okumala emyaka amakumi abiri mu esatu, nʼaziikibwa mu Samiri.
3Oluvannyuma lwʼoyo ne wabaawo Yayiri Omugireyaadi, eyakulembera Isirayiri okumala emyaka amakumi abiri mu ebiri.
4Yalina abaana aboobulenzi amakumi asatu abeebagalanga endogoyi amakumi asatu, era baafuganga ebibuga amakumi asatu, mu nsi ya Gireyaadi ebiyitibwa Kavosuyayiri nʼokutuusa leero.
5Yayiri nʼafa nʼaziikibwa mu Kamoni.
6Abayisirayiri ne beeyongera okukola ebibi mu maaso ga Mukama, nga baweereza Babaali ne Asutoleesi ne bakatonda abʼe Busuuli, ne bakatonda abʼe Sidoni, ne bakatonda abʼe Mowaabu, ne bakatonda abʼabaana ba Amoni, ne bakatonda bʼAbafirisuuti, ne bava ku Mukama ne batamuweereza.
7Mukama Katonda nʼanyiigira Isirayiri, nʼabagabula mu mukono gwʼAbafirisuuti ne mu mukono gwʼabaana ba Amoni,
8abaanyigiriza abaana ba Isirayiri, era ne babajooga okumala emyaka kkumi na munaana. Baanyigiriza abaana ba Isirayiri bonna abaali emitala wa Yoludaani ku luuyi olwʼebuvanjuba mu nsi yʼAbamoli eri mu Gireyaadi.
9Abaana ba Amoni nabo ne basomoka Yoludaani okulwanyisa Yuda ne Benyamini, nʼennyumba ya Efulayimu. Isirayiri ne yeeraliikirira nnyo.
10Awo abaana ba Isirayiri ne bakaabira Mukama nga bagamba nti, “Ddala ddala twasobya, ne tuva ku Mukama Katonda waffe, ne tuweereza Babaali.”
11Mukama Katonda nʼaddamu abaana ba Isirayiri nti, “Abamisiri nʼAbamoli, nʼabaana ba Amoni, nʼAbafirisuuti,
12nʼAbasidoni, nʼAbamaleki, nʼAbamawoni
13Naye mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala, noolwekyo sigenda kubalokola nate.
14Mugende mukaabire bakatonda abo be mwasalawo okuweereza, babalokole mu nnaku yammwe.”
15Naye abaana ba Isirayiri ne bagamba Mukama Katonda nti, “Twayonoona. Tukole kyonna kyʼonoolaba nga kye kitusaanira. Kyokka tulokole kaakano.
16Ne baggya wakati mu bo bakatonda abalala, ne baweereza Mukama Katonda. Mukama nʼalumwa olwʼennaku ya Isirayiri.”
17Awo abaana ba Amoni ne basiisira mu Gireyaadi, nʼabaana ba Isirayiri nabo ne basiisira mu Mizupa.
18Abakulembeze bʼabantu mu Gireyaadi ne bagambagana nti, “Omusajja anaasooka okulumba abaana ba Amoni, ye anaabeera omukulembeze wʼabatuuze bʼomu Gireyaadi.”