Ekyabalamuzi 11:1-40 LGCB2014 - Bible AI

1Yefusa Omugireyaadi yali mulwanyi wʼamaanyi; kitaawe yamuzaala mu malaaya.

2Mukazi wa Gireyaadi yali amuzaalidde abaana aboobulenzi, era abaana bʼomukazi oyo bwe baakula, ne bagobaganya Yefusa nga bagamba nti, “Tolisikira wamu naffe ku bintu bya kitaffe, kubanga kitaffe yakuzaala mu mukazi mulala.”

3Awo Yefusa nʼadduka baganda be, nʼagenda nʼabeera mu nsi ye Tobu. Abasajja abataaliko kigendererwa ne bakuŋŋaana gyʼali ne bamugoberera.

4Oluvannyuma lwʼebbanga abaana ba Amoni ne bakola olutalo ku Isirayiri.

5Awo abaana ba Amoni bwe baali nga balwana ne Isirayiri, abakadde abʼe Gireyaadi ne bagenda okukima Yefusa mu nsi ya Tobu.

6Ne bagamba Yefusa nti, “Jjangu otukulembere tulwanyise abaana ba Amoni.”

7Yefusa nʼagamba abakadde bʼe Gireyaadi nti, “Temwankyawa ne mungoba mu nnyumba ya kitange? Lwaki kaakano mujja gye ndi nga mulina ekizibu?”

8Abakadde bʼe Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti, “Tuzze gyʼoli kaakano, ojje ogende naffe, olwanyise abaana ba Amoni, nʼoluvannyuma onoobeera mukulembeze wʼabo bonna ababeera mu Gireyaadi.”

9Yefusa nʼabaddamu nti, “Singa munzizaayo ne nnwana nʼabaana ba Amoni, Mukama nʼabampangusiza, nʼabeera omukulembeze wammwe?”

10Abakadde bʼe Gireyaadi ne baddamu Yefusa nti, “Mukama ye mujulirwa waffe, bwe tutaatuukirize kigambo ekyo.”

11Awo Yefusa nʼagenda nʼabakadde bʼe Gireyaadi, abantu ne bamufuula omukulembeze waabwe era omuduumizi, nʼaddamu ebigambo byonna bye yayogera mu maaso ga Mukama mu Mizupa.

12Yefusa nʼatuma ababaka eri kabaka wʼabaana ba Amoni, ngʼamugamba nti, “Onnanga ki ggwe, okujja gye ndi, olwanyise eggwanga lyange?”

13Kabaka wʼabaana ba Amoni nʼaddamu ababaka ba Yefusa nti, “Kubanga Isirayiri bwe baali bava e Misiri baatwala ensi yange okuva ku Alunoni ne ku Yabboki nʼokutuukira ddala ku Yoludaani. Kaakano gituddize lwa mirembe.”

14Awo Yefusa nʼaddamu nʼaweereza ababaka eri kabaka wʼabaana ba Amoni

15ngʼagamba nti,

15“Yefusa bwʼati bwʼayogera nti, ‘Isirayiri teyatwala nsi ya Mowaabu newaakubadde ensi yʼabaana ba Amoni.

16Naye Isirayiri bwe baava mu Misiri ne baba nga bayita mu ddungu nga balaga ku Nnyanja Emyufu nʼe Kadesi,

17Isirayiri yatuma ababaka eri kabaka wa Edomu nga bamusaba bayitemu buyisi mu nsi ye. Naye ye teyabawuliriza. Isirayiri nʼatuma nʼababaka eri kabaka wa Mowaabu, naye nʼatabakkiriza kuyitamu. Isirayiri kyeyava asigala e Kadesi.

18Awo Isirayiri nʼalyoka ayita mu ddungu ne yeetooloola ensi ya Edomu nʼensi ya Mowaabu, nʼayita ku luuyi olwʼebuvanjuba obwʼensi ya Mowaabu, ne basiisira emitala wa Alumoni ku nsalo ya Mowaabu.

19Awo Isirayiri nʼatuma ababaka eri Sikoni kabaka wʼAbamoli era kabaka wʼe Kesuboni, ngʼamusaba ngʼagamba nti, Tukkirize tuyitemu tulage mu nsi yaffe.

20Naye Sikoni nʼateesiga Isirayiri kuyita mu nsalo ye, era Sikoni nʼakuŋŋaanya abantu be bonna, ne basiisira mu Yakazi, nʼalwanyisa Isirayiri.’

21Mukama Katonda wa Isirayiri nʼagabula Sikoni nʼabantu be bonna mu mukono gwa Isirayiri, nʼabawangula, era Isirayiri nʼatwala ensi yonna eyʼAbamoli.

22Ne bawamba ensalo yonna eyʼAbamoli okuva ku Alumoni okutuuka ku Yabboki, nʼokuva ku ddungu okutuuka ku Yoludaani.

23Kaakano obanga Mukama Katonda wa Isirayiri yagoba Abamoli mu maaso gʼabantu be Isirayiri, ggwe ani okulwanyisa Isirayiri?

24Lwaki totwala ensi lubaale wo Kemosi gye yakuwa, naffe ne tutwala eyo Mukama Katonda waffe gye yatuwa?

25Ddala ddala osinga Balaki mutabani wa Zipoli kabaka wa Mowaabu? Yali akaayanyizza Isirayiri wadde okubalwanyisa?

26Isirayiri emaze emyaka ebikumi bisatu mu Kesuboni nʼebyalo byayo, ne mu Aloweri nʼebyalo byayo, ne mu bibuga byonna ebiri ku lubalama lwa Alunoni. Kiki ekyabalobera okubyeddiza mu kiseera ekyo?

27Kaakano sirina kye nkusobezza naye ggwe onnumbye okulwana nange. Kale Mukama, Omulamuzi, leero alamule wakati wʼabaana ba Isirayiri nʼabaana ba Amoni.”

28Naye kabaka wʼabaana ba Amoni nʼatassaayo mwoyo ku bubaka Yefusa bwe yamutumira.

29Awo Omwoyo wa Mukama Katonda nʼajja ku Yefusa; Yefusa nʼasomoka Gireyaadi ne Manase, nʼayita ne mu Mizupa ekyʼe Gireyaadi, era mu Mizupa ekyʼe Gireyaadi gye yava okulumba abaana ba Amoni.

30Yefusa ne yeeyama eri Mukama Katonda ngʼagamba nti, “Bwʼonogabula abaana ba Amoni mu mukono gwange,

31ekintu kyonna ekirifuluma mu nzigi zʼennyumba yange nga nkomyewo mu buwanguzi, ne kinyaniriza nga nva mu baana ba Amoni, ndikiwaayo ngʼekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.”

32Awo Yefusa nʼalumba abaana ba Amoni nʼabalwanyisa, era Mukama Katonda nʼabagabula mu mukono gwe.

33Nʼabakuba okuva ku Aloweri okutuuka e Minnisi, byʼebibuga amakumi abiri, nʼokutuukira ddala ku Aberukeramimu; nʼabakubira ddala era abaana ba Isirayiri ne bawangulira ddala abaana ba Amoni.

34Awo Yefusa bwe yakomawo e Mizupa mu maka ge, laba muwala we nʼajja okumukulisaayo ngʼakuba ebitaasa era ngʼamuzinira. Ye mwana yekka gwe yalina.

35Yefusa bwe yamulaba, nʼayuza engoye ze, nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Zinsaze muwala wange. Onnakuwazizza nnyo, era ondeetedde ennaku, kubanga neeyama eri Mukama Katonda, so siyinza kukimenyawo.”

36Awo muwala we nʼamugamba nti, “Kitange weeyama eri Mukama. Kola ekyo kye weeyama eri Mukama Katonda, kubanga awooledde eggwanga ku balabe bo, abaana ba Amoni.”

37Nʼagamba kitaawe nti, “Nkusaba ekintu kimu kyokka, onzikirize ŋŋende ne mikwano gyange mu nsozi okumala emyezi ebiri, ne kaabireko kubanga ndi mbeerera.”

38Nʼamugamba nti, “Genda.” Nʼagenda nʼamala emyezi ebiri mu nsozi ngʼali ne bawala banne nga yeekaabirako olwʼokuba yali mbeerera.

39Oluvannyuma lwʼemyezi ebiri, omuwala nʼakomawo eri kitaawe, era kitaawe nʼamuwaayo eri Mukama, nga bwe yeeyama.

39Yali muwala mbeerera, ngʼempisa bwe yabanga mu Isirayiri.

40Kyafuuka mpisa okuva mu biro ebyo, nti abawala mu Isirayiri bajjukira muwala wa Yefusa Omugireyaadi okumala ennaku nnya buli mwaka.

>