1Awo abaana ba Isirayiri ne beeyongera okukola ebibi mu maaso ga Mukama. Mukama Katonda kyeyava abagabula mu mukono gwʼAbafirisuuti okumala emyaka amakumi ana.
2Ne wabaawo omusajja owʼe Zola, owʼomu kika kyʼAbadaani, erinnya lye Manowa, eyalina mukazi we nga mugumba.
3Malayika wa Mukama Katonda nʼalabikira omukazi nʼamugamba nti, “Laba, kaakano, oli mugumba era atazaalanga ku mwana, naye oliba olubuto nʼozaala omwana wabulenzi.
4Laba nga tonywa wayini, newaakubadde ekitamiiza kyonna, wadde okulya ekintu kyonna ekitali kirongoofu.
5Kubanga, laba, oliba olubuto nʼozaala omwana wabulenzi, era tamwebwangako nviiri, kubanga omulenzi aliba Muwonge wa Katonda ngʼakyali mu lubuto lwa nnyina, era yalitanula okulokola Isirayiri okuva mu mukono gwʼAbafirisuuti.”
6Awo omukazi nʼagenda nʼategeeza bba, ngʼagamba nti, “Omusajja wa Katonda yandabikidde mu kifaananyi kya malayika wa Katonda, era natidde nnyo. Simubuuzizza gyʼavudde, ate era naye tambulidde linnya lye.
7Wabula yaŋŋambye nti, ‘Laba oliba olubuto era olizaala omwana wabulenzi. Tonywanga wayini newaakubadde ekitamiiza kyonna, wadde okulya ekintu kyonna ekitali kirongoofu. Kubanga omulenzi aliba Muwonge eri Katonda ngʼakyali mu lubuto lwa nnyina, era bwʼatyo bwʼaliba ennaku ezʼobulamu bwe zonna.’ ”
8Awo Manowa ne yeegayirira Mukama Katonda ngʼagamba nti, “Ayi Mukama, omusajja wa Katonda gwe watutumidde, akomewo. Ajje atuyigirize kye tuteekwa okukolera omulenzi anaatuzaalirwa.”
9Katonda nʼawulira eddoboozi lya Manowa, malayika wa Katonda nʼakomawo eri omukazi, nʼamusanga mu nnimiro, naye nga Manowa bba tali naye.
10Awo omukazi nʼayanguwa nʼadduka nʼategeeza bba ngʼagamba nti, “Laba omusajja eyandabikira olulala azze.”
11Manowa nʼagolokoka nʼagoberera mukazi we. Bwe yatuuka awali omusajja nʼamugamba nti, “Ggwe musajja eyayogera eri mukazi wange?” Malayika nʼamuddamu nti, “Ye nze.”
12Manowa nʼamubuuza nti, “Ebigambo byo bwe birituukirira, biragiro ki bye tuligoberera nga tukuza omulenzi?”
13Malayika wa Mukama Katonda nʼaddamu Manowa nti, “Ebyo byonna bye nagamba mukazi wo ateekwa okubikola.
14Mukazi wo tateekwa kulya kibala ekiva mu zabbibu, newaakubadde okunywa wayini, newaakubadde okunywa ekitamiiza, wadde okulya ekintu kyonna ekitali kirongoofu. Ateekwa okukola buli kintu kye namulagira.”
15Awo Manowa nʼagamba malayika wa Mukama Katonda nti, “Sigala wano naffe, tukuteekereteekere akabuzi akato.”
16Malayika wa Mukama Katonda nʼagamba Manowa nti, “Ne bwe nnaasigala nammwe, sijja kulya ku mmere yammwe. Wabula bwe munaateekateeka ekiweebwayo ekyokebwa, mukiweeyo eri Mukama.” Mu kiseera ekyo Manowa teyamanya nga gwe yali ayogera naye yali malayika wa Mukama.
17Awo Manowa nʼabuuza malayika wa Mukama Katonda nti, “Erinnya lyo ggwe ani, ekigambo kyʼoyogedde bwe kirituukirira tulyoke tukuseemu ekitiibwa?”
18Malayika wa Mukama Katonda nʼamuddamu nti, “Obuuliza ki erinnya lyange? Lisukka okutegeera.”
19Awo Manowa nʼaddira akabuzi akato, nʼekiweebwayo ekyʼempeke, nʼabiwaayo nga ssaddaaka ku lwazi eri Mukama Katonda. Ne wabaawo ekyʼekyewuunyo nga Manowa ne mukazi we balaba.
20Omuliro bwe gwava mu Kyoto okugenda eri eggulu, malayika wa Mukama Katonda nʼakkira mu muliro gwʼekyoto. Manowa ne mukazi we bwe baamulaba, ne bagwa wansi ne bavuunama ngʼobwenyi bwabwe butuukira ddala ku ttaka.
21Malayika wa Mukama bwʼataddayo kweraga gye bali, Manowa ne mukazi we ne bategeera ngʼabadde malayika wa Mukama Katonda.
22Manowa nʼagamba mukazi we nti, “Tugenda kufa kubanga tulabye Katonda.”
23Naye mukazi we nʼamugamba nti, “Singa Mukama Katonda yabadde wa kututta, teyandisiimye kiweebwayo ekyokebwa nʼekiweebwayo ekyʼempeke okuva gye tuli, newaakubadde okutulaga ebintu bino byonna, wadde okututegeeza kino.”
24Awo omukazi nʼazaala omwana wabulenzi, nʼamutuuma Samusooni. Omwana nʼakula, Mukama Katonda nʼamuwa omukisa.
25Omwoyo wa Mukama Katonda nʼatandika okukolera mu Samusooni ngʼali mu Makanedani ekiri wakati wʼe Zola ne Esutaoli.