Ekyabalamuzi 14:1-20 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Samusooni nʼaserengeta e Timuna[12] nʼalaba omukazi mu bawala abʼAbafirisuuti.

2Nʼaddayo eka, nʼategeeza kitaawe ne nnyina ngʼagamba nti, “Nalabye omukazi ku bawala abʼAbafirisuuti mu Timuna. Kale mumumpasize kaakano.”

3Awo kitaawe ne nnyina ne bamugamba nti, “Tewali mukazi nʼomu mu baganda bo newaakubadde mu Bantu bange gwʼoyinza kuwasa, olyoke ogende ofune omukazi okuva mu Bafirisuuti abatali bakomole?” Naye Samusooni nʼaddamu kitaawe nti, “Mpasiza oyo kubanga ye gwe nsiimye.”

4Kitaawe ne nnyina tebaamanya ekyo nga kyava eri Mukama Katonda, kubanga Mukama yali anoonya ensonga ku Bafirisuuti. Mu biro ebyo Abafirisuuti be baafuganga Isirayiri.

5Awo Samusooni ne kitaawe ne nnyina ne bagenda e Timuna. Bwe baali basemberedde ennimiro zʼemizabbibu egyʼomu Timuna, empologoma ento nʼewuluguma nga bwʼemulumba.

6Awo Omwoyo wa Mukama Katonda nʼamukkako, nʼayuzaayuza empologoma nʼemikono gye ngʼayuzaayuza akabuzi akato, naye nʼatabaako kyʼategeeza kitaawe newaakubadde nnyina.

7Samusooni nʼaserengeta nʼagenda nʼanyumya nʼomukazi era nʼamusiima.

8Ebbanga bwe lyayitawo, nʼaddayo okumuwasa, naye aba ali ku lugendo, nʼakyama okulaba omulambo gwʼempologoma, era laba, nga mu mulambo gwʼempologoma mulimu enjuki nʼomubisi gwʼenjuki.

9Nʼatoola ku mubisi nʼengalo ze, nʼatambula nʼagenda. Bwe yasiŋŋaana kitaawe ne nnyina nabo nʼabawaako ne balya, wabula nʼatabagamba nti omubisi ogwo gwe balya aguggye mu mulambo gwʼempologoma.

10Awo nʼaserengeta ne kitaawe eri omukazi, era Samusooni nʼakolerayo embaga ngʼempisa yʼabawasa bwe yali.

11Abafirisuuti bwe bajja okulaba Samusooni, ne bamuwa bannaabwe amakumi asatu okumuwerekerako.

12Awo Samusooni nʼabagamba nti, “Kaakano ka mbakokkolere ekikokko. Bwe mulikivvuunula ennaku omusanvu ezʼembaga nga tezinnaggwaako, ndibawa ebyambalo ebya linena amakumi asatu, nʼemiteeko gyʼengoye amakumi asatu.

13Naye bwe kinaabalema okuddamu, muteekwa okumpa ebyambalo ebya linena amakumi asatu, nʼemiteeko gyʼengoye amakumi asatu.” Ne bamugamba nti, “Kokkola ekikokko kyo tukiwulire.”

14Nʼabagamba nti, “Mu muli mwavaamu ekyokulya Mu wʼamaanyi mwavaamu ekiwoomerera.” Ennaku ssatu ne ziyitawo nga bakyalemeddwa okuvvuunula ekikokko.

15Awo ku lunaku olwokuna ne bagamba mukazi wa Samusooni nti, “Sendasenda balo atuvvuunulire ekikokko. Bwe kitaabe bwe kityo tujja kukwokya omuliro ggwe nʼennyumba ya kitaawo. Mwatuyita kutunyaga, si bwe kiri?”

16Mukazi wa Samusooni nʼagenda gyʼali ngʼakaaba amaziga, ngʼagamba nti, “Ddala ddala onkyawa so tonjagala. Wakokkolera abasajja bʼomu bantu bange ekikokko, naye nʼotakivvuunula.”

16Nʼamuddamu nti, “Laba sinnakivuunulira kitange newaakubadde mmange, noolwekyo lwaki nkikuvuunulira?”

17Nʼamukaabirira okumala ebbanga eryo lyonna eryʼembaga, olwo nʼalyoka akimuvuunulira, kubanga yamwetayirira nnyo. Nʼoluvannyuma omukazi nʼannyonnyola abasajja bʼomu bantu be ekikokko.

18Awo ku lunaku olwʼomusanvu enjuba nga tennagwa abasajja abʼomu kibuga ne bagamba Samusooni nti, Nʼabaddamu nti, “Singa temwalimya nnyana yange, temwandivuunudde kikokko kyange.”

18“Kiki ekisinga omubisi gwʼenjuki okuwoomerera? Kiki ekisinga empologoma amaanyi?”

19Awo Omwoyo wa Mukama Katonda nʼamukkako, nʼaserengeta e Asukulooni[13] nʼatta abasajja amakumi asatu, nʼabambulamu ebyambalo byabwe, engoye zaabwe nʼaziwa abavvuunula ekikokko. Nʼanyiiga nnyo, nʼayambuka nʼaddayo ewa kitaawe.

20Mukazi wa Samusooni ne bamuwa mukwano gwe, eyabeeranga ne Samusooni.

>