Ekyabalamuzi 15:1-20 LGCB2014 - Bible AI

1Awo ebbanga bwe lyayitawo, ngʼebiro ebyʼokukungula eŋŋaano bituuse, Samusooni nʼagenda okukyalira mukazi we ngʼamutwalidde akabuzi akato. Nʼayogera nti, “Nnaagenda eri mukazi wange mu kisenge.” Naye kitaawe wʼomukazi nʼatamukkiriza kugenda yo[14].

2Kitaawe wʼomukazi nʼagamba Samusooni nti, “Nze nalowooza nti wamukyayira ddala, kyennava mugabira mukwano gwo. Muganda we omuto amusinga okulabika obulungi. Kaakano gwʼoba otwala mu kifo kyʼoli.”

3Samusooni nʼabagamba nti, “Ku mulundi guno sirina musango, Abafirisuuti bwe nnaabakola akabi.”

4Awo Samusooni nʼagenda nʼakwata ebibe ebikumi bisatu, nʼasiba bibiri bibiri emikira, nʼakwataganya emikira, nʼaddira ebitawuliro nʼateeka ekitawuliro wakati wʼemikira kinneebirye.

5Nʼakoleeza ebitawuliro, nʼata ebibe okugenda mu nnimiro zʼAbafirisuuti. Nʼayokya ebinywa nʼeŋŋaano eyali tennakungulwa, nʼennimiro zʼemizeyituuni.

6Awo Abafirisuuti bwe baabuuza akoze bwe kityo, ne boogera nti, “Ye Samusooni mukoddomi wʼOmutimuna, kubanga Omutimuna yaddira mukazi wa Samusooni, nʼamuwa mukwano gwa Samusooni.” Abafirisuuti ne bagenda ne bookya omukazi ne kitaawe omuliro.

7Samusooni nʼabagamba nti, “Olwʼokuba nga mweyisizza bwe mutyo, sirirekayo okuggyako nga mbawalanyeeko eggwanga.”

8Nʼabalumba nʼatta bangi nnyo ku bo, nʼagenda nʼabeera mu mpuku eyʼomu lwazi lwʼe Etamu.

9Abafirisuuti ne bayambuka ne basiisira mu Yuda, ne basaasaana okumpi ne Leki.

10Abantu ba Yuda ne bababuuza nti, “Lwaki mutulumbye?” Abafirisuuti ne babaddamu nti, “Tuzze okuwamba Samusooni tumutwale nga musibe, tumwesasuze nga bwe yatukola.”

11Awo abasajja enkumi ssatu okuva mu Yuda ne bagenda ku mpuku yʼolwazi lwʼe Etamu ne bagamba Samusooni nti, “Tewamanya ngʼAbafirisuuti be batufuga? Kaakano kiki kino kyʼotukoze?” Nʼabaddamu nti, “Nneesasuzza kye bankola.”

12Ne bamuddamu nti, “Tuzze okukusiba tukuweeyo mu mukono gwʼAbafirisuuti.” Samusooni nʼabagamba nti, “Mundayirire nga temunzitte mmwe mwennyini.”

13Ne bamuddamu nti, “Tukkiriziganyizza. Tujja kukusiba busibi, tukuweeyo mu mukono gwabwe, naye tetujja kukutta.” Ne bamusiba emiguwa ebiri emiggya ne bamuggyayo mu mpuku.

14Bwe yali asemberera Leki Abafirisuuti ne bajja gyʼali nga baleekaana. Awo Omwoyo wa Mukama Katonda nʼamukkako, emiguwa egyali gimusibye emikono ne giba ngʼobugoogwa obwokeddwa omuliro, ne gisumulukuka okuva ku mikono gye.

15Nʼalaba oluba lwʼendogoyi olutannavunda, nʼalukwata, nʼakuba abasajja lukumi.

16Samusooni nʼalyoka ayogera nti, “Nkozesezza oluba lwʼendogoyi okukola entuumu bbiri; nkozesezza oluba lwʼendogoyi okutta abasajja lukumi.”

17Bwe yamala okwogera ekyo, nʼakanyuga oluba nʼalusuula, ekifo ekyo nʼakituuma Lamasuleki.

18Nʼalumwa nnyo ennyonta, nʼakabira Mukama Katonda ngʼagamba nti, “Omuddu wo omuwadde obuwanguzi olwʼamaanyi; ne kaakano nfe, ngwe mu mukono gwʼabatali bakomole?”

19Katonda nʼakola ekinnya mu Leki, ne muvaamu amazzi, kwe yanywa nʼaddamu amaanyi, nʼaba mulamu. Ekifo ekyo kyeyava akituuma Enkakkole, era kikyaliyo mu Leki nʼokutuusa leero.

20Samusooni nʼakulembera Isirayiri mu biro byʼAbafirisuuti, okumala emyaka amakumi abiri.

>