1Samusooni nʼalaga e Gaza nʼalabayo omukazi malaaya, nʼayingira gyʼali.
2Awo abantu abʼe Gaza ne bategeezebwa nga Samusooni bwʼali mu kifo ekyo. Ne bamuzingiza ne bamuteegera ku wankaaki wʼekibuga ekiro kyonna. Ne basiriikirira ekiro kyonna nga bagamba nti, “Obudde bwe bunaaba nga bunaatera okukya tunaamutta.”
3Naye Samusooni ne yeebaka okutuusa ettumbi, nʼagolokoka mu ttumbi, nʼakwata enzigi ebbiri eza wankaaki wʼekibuga, nʼemifuubeeto gyombi, nʼabisimbula okuva mu bifo byabyo, nʼagyawo nʼekisiba, nʼabiteeka ku bibegaabega bye nʼabitwala ku ntikko yʼolusozi olutunuulidde Kebbulooni.
4Awo oluvannyuma lwʼebyo nʼaganza omukazi mu kiwonvu kyʼe Soleki, erinnya lye Derira.
5Abakulembeze bʼAbafirisuuti
6Awo Derira nʼagamba Samusooni nti, “Kaakano mbuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka, era nʼekiyinza okukusiba okukujeeza.”
7Samusooni nʼamugamba nti, “Bwe bansiba enkolokolo embisi musanvu, ezitakaze, olwo nnaanafuwa ne mbeera ngʼomuntu omulala yenna.”
8Abakulembeze bʼAbafirisuuti ne baleetera omukazi enkolokolo musanvu embisi ezitakaze, nʼazimusibya.
9Waaliwo abasajja abaali beekwese mu kisenge omwo omukazi mwe yali. Awo omukazi nʼakoowoola Samusooni ngʼagamba nti, “Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko.” Nʼakutula enkolokolo, ngʼomuntu bwe yandikutudde omuguwa oguyise mu muliro. Bwe kityo ensibuko yʼamaanyi ge nʼetazuulibwa.
10Awo Derira nʼagamba Samusooni nti, “Laba, onduulidde, era onnimbye. Kaakano mbuulira ekiyinza okukusiba.”
11Nʼamugamba nti, “Bwe bansibya emiguwa emiggya egitakozesebwangako, nnaanafuwa, ne mbeera ngʼomuntu omulala yenna.”
12Awo Derira nʼaddira emiguwa emiggya, nʼamusiba, nga mu kisenge mulimu abasajja abeekwese. Nʼalyoka amukoowoola ngʼagamba nti, “Samusooni, Abafirisuuti bakuguddeko.” Nʼagyekutulako ku mikono ngʼewuzi.
13Awo Derira nʼagamba Samusooni nti, “Okutuusa kaakano onduulidde era onnimbye. Mbuulira ekiyinza okukusiba.” Nʼamugamba nti, “Bwʼonooluka emivumbo musanvu egiri ku mutwe gwange, nʼengoye, nʼobinyweza nzija kunafuwa, mbeere ngʼomuntu omulala yenna.”
14nʼabinyweza nʼolubambo. Nʼamukoowoola ngʼagamba nti, “Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko.” Nʼagolokoka okuva mu tulo, ne yeetakkuluza ku lubambo lwʼomuti ogulukirwako nʼengoye ezirukiddwa.
15Awo Derira nʼamugamba nti, “Oyinza otya okugamba nti onjagala, ate ngʼomutima gwo teguli nange? Gino emirundi esatu onduulidde, nʼotontegeeza amaanyi go amangi mwe gasibuka.”
16Bwʼatyo omukazi nʼamusendasendanga nʼebigambo bye ennaku zonna ngʼamubuuza okutuusa lwe yamwetamwa.
17Awo Samusooni nʼamubuulira ebyali ku mutima gwe byonna. Nʼamugamba nti, “Simwebwangako nviiri, kubanga ndi muwonge eri Katonda okuva mu lubuto lwa mmange. Bwe mwebwako enviiri, olwo amaanyi gange gananvaako, ne nnafuwa, ne mbeera ngʼomuntu omulala yenna.”
18Awo Derira bwe yalaba ngʼamutegeezezza byonna ebyali ku mutima gwe, nʼatumira abakulembeze bʼAbafirisuuti ngʼagamba nti, “Mukomeewo omulundi guno gwokka, kubanga yantegeezezza ebiri mu mutima gwe byonna.” Awo Abafirisuuti ne bakomawo nga baleese ezaabu.
19Nʼamwebasa ku maviivi ge, nʼayita omusajja nʼamumwa emivumbo omusanvu egyali ku mutwe gwe, nʼatandika okujeeza, amaanyi ge ne gamuvaako.
20Nʼamukoowoola ngʼagamba nti, “Samusooni, Abafirisuuti bakuguddeko.” Nʼagolokoka okuva mu tulo ngʼagamba nti, “Nzija kwetakkuluza ŋŋende nga bulijjo.” Naye teyamanya nga Mukama Katonda amulese.
21Awo Abafirisuuti ne bakwata Samusooni, ne bamuggyamu amaaso, ne bamuserengesa e Gaza nga musibe mu njegere ezʼekikomo, ne bamuteeka mu kkomera mu nnyumba omuseerebwa obuwunga.
22Kyokka bwe yamala okumwebwa, enviiri ze ne zitandika okumera.
23Awo abakulembeze bʼAbafirisuuti ne bakuŋŋaana okuwaayo ssaddaaka eri lubaale waabwe Dagoni
24Abantu bwe baalaba Samusooni, ne batendereza lubaale waabwe nga bwe boogera nti,
25Awo bwe baasanyuka ennyo, ne bawowoggana nga bwe bagamba nti, “Mutuyitire Samusooni atusanyuseemu.”
26Awo Samusooni nʼagamba omuweereza eyali amukutte ku mukono nti, “Leka nkwate ku mpagi eziwaniridde essabo, nsobole okuzeesigama.”
27Mu ssabo mwalimu ekibiina kinene ekyʼabasajja nʼabakazi nga mulimu nʼabakulembeze bonna abʼAbafirisuuti. Ne waggulu ku kasolya kwaliko abantu ngʼenkumi ssatu abaali batunuulira Samusooni ngʼabasanyusaamu.
28Awo Samusooni nʼasaba eri Mukama ngʼagamba nti, “Mukama Katonda onzijukire kaakano, ompe amaanyi. Omulundi guno gwokka, ayi Katonda mpalane eggwanga ku Bafirisuuti olwʼamaaso gange abiri.”
29Samusooni nʼakwata empagi zombi ezaali wakati mu ssabo we yali ayimiridde, nʼazeesigamako, omukono gwe ogwa ddyo nga guli ku mpagi emu, nʼomukono ogwa kkono nga guli ku ndala.
30Samusooni nʼayogera nti, “Leka nfiire wamu nʼAbafirisuuti.” Nʼasindika nʼamaanyi ge gonna, essabo ne ligwa ku bakulembeze, nʼabantu bonna abaalimu naye, era nʼatta bangi mu kufa kwe okusinga ne be yatta nga mulamu.
31Awo baganda be nʼennyumba yonna eya kitaawe ne bagenda ne baggyayo omulambo gwe, ne bagutwala ewaabwe, ne bamuziika mu ntaana ya kitaawe Manowa eyali wakati wʼe Zola ne Esutaoli. Yali akulembedde Isirayiri okumala emyaka amakumi abiri.