Ekyabalamuzi 17:1-13 LGCB2014 - Bible AI

1Waaliwo omusajja eyabeeranga mu nsi eyʼensozi Efulayimu, erinnya lye Mikka.

2Nʼagamba nnyina nti, “Ebitundu bya ffeeza olukumi mu ekikumi[18] ebyakubulako, nʼokukolima nʼokolima, nga mpulira, laba, effeeza eyo nze njirina. Nze nagitwala.”

2Awo nnyina nʼamugamba nti, “Mwana wange, Mukama Katonda akuwe omukisa.”

3Awo bwe yakomyawo ebitundu bya ffeeza ebyo olukumi mu ekikumi, eri nnyina, nnyina nʼamugamba nti, “Mpaayo effeeza eno eri Mukama Katonda, okuva mu mukono gwange ku lwʼomwana wange, ekolebwemu ekifaananyi ekyole nʼekifaananyi ekisaanuuse, era ndimuzza gyʼoli.”

4Awo bwe yazza effeeza, nnyina nʼaddira ebitundu ebikumi bibiri ebya ffeeza[19], nʼabiwa omuweesi wa ffeeza, nʼabikolamu ekifaananyi ekyole nʼekifaananyi ekisaanuuse. Ne biteekebwa mu nnyumba ya Mikka.

5Omusajja oyo Mikka yalina essabo. Nʼakola efodi, nʼebifaananyi ebyole nʼayawula omu ku batabani be okuba kabona we.

6Mu biro ebyo tewaaliwo kabaka mu Isirayiri, era buli muntu yakolanga nga bwʼalaba.

7Ne wabaawo omuvubuka owʼomu kika kya Yuda nga Muleevi, eyabeeranga mu Besirekemuyuda.

8Nʼava mu kibuga kya Besirekemuyuda nʼatandika okunoonya gyʼanaabera, nʼatuuka mu nsi eyʼensozi eya Efulayimu mu nnyumba ya Mikka. Wabula yali akyali ku lugendo ngʼakyanoonya awʼokubeera.

9Mikka nʼamubuuza nti, “Ova wa?” Omuleevi nʼamuddamu nti, “Nva mu Besirekemuyuda, era nnoonya we nnyinza okubeera.”

10Mikka nʼamugamba nti, “Beera nange, obeere kitange era kabona, nange ndikuwa ebitundu bya ffeeza kkumi[20] ngʼempeera, era ne nkuwa nʼengoye nʼemmere.” Omuleevi nʼabeera naye.

11Awo Omuleevi nʼakkiriza okubeera nʼomusajja oyo, era omuvubuka nʼaba gyʼali ngʼomu ku batabani be.

12Awo Mikka nʼayawula Omuleevi, era omuvubuka oyo nʼabeera kabona we nʼabeera mu nnyumba ya Mikka.

13Mikka nʼayogera nti, “Kaakano mmanyi nga Mukama Katonda anankoleranga ebirungi, kubanga nnina Omuleevi nga kabona wange.”

>