Ekyabalamuzi 18:1-31 LGCB2014 - Bible AI

1Mu biro ebyo Isirayiri teyalina kabaka. Era mu biro ebyo ekika kyʼAbadaani baali banoonya ekifo awʼokubeera kubanga mu bika bya Isirayiri baali tebafunanga kifo kya kubeeramu ngʼomugabo gwabwe.

2Kyebaava batuma abaana ba Ddaani bataano, abasajja abalwanyi, okuva mu kika kyabwe kyonna, okuva mu Zola ne mu Esutaoli, bagende bakette ensi. Ne babagamba nti, “Mugende mukebere ensi.”

2Ne batuuka mu nsi eyʼensozi eya Efulayimu mu nnyumba ya Mikka ne basula eyo.

3Bwe baali eyo okumpi nʼennyumba ya Mikka ne beetegereza eddoboozi lyʼomuvubuka Omuleevi, ne bakyama ne bamubuuza nti, “Ani eyakuleeta wano? Era okola ki wano? Era lwaki oli wano?”

4Nʼabategeeza Mikka bye yamukolera, nʼabagamba nti, “Yampangisa era ndi kabona we.”

5Ne bamugamba nti, “Tukwegayiridde, kaakano weebuuze ku Mukama, obanga olugendo lwe tugenda luliba nʼomukisa.”

6Awo kabona nʼabaddamu nti, “Mugende mirembe, kubanga Mukama Katonda asiimye mugende ku lugendo lwammwe.”

7Awo abasajja abataano ne bava awo, ne batuuka e Layisi, ne balaba ngʼabantu baayo bali mirembe ngʼAbasidoni bwe baali. Baali bakkakkamu, nga balina buli kye beetaaga mu nsi, era nga beesudde akabanga nʼAbasidoni, nga tewali muntu nʼomu gwe bakolagana naye.

8Awo abakessi bwe baddayo eri baganda baabwe e Zola nʼe Esutaoli, baganda baabwe ne bababuuza nti, “Bigenze bitya?”

9Ne baddamu nti, “Mugolokoke, tubalumbe. Tulabye ensi, era laba, nga nnungi nnyo. Temuyinza butagenda. Temulwa, tugende tulye ensi.

10Bwe mulituuka eyo muliraba abantu abakkakkamu ababeera mu nsi engazi, Katonda gyʼatadde mu mukono gwammwe, era nsi erimu buli kintu omuntu kye yeetaaga.”

11Awo ekika kyʼAbadaani ne basitula okuva e Zola nʼe Esutaoli, abasajja lukaaga nga balina ebyokulwanyisa.

12Ne bagenda ne basiisira okumpi ne Kiriyasuyalimu mu Yuda. Ekifo ekyo ne bakituuma Makanedani era kye kiyitibwa nʼokutuusa leero.

13Ne bava awo ne balaga mu nsi eyʼensozi eya Efulayimu ne batuuka ku nnyumba ya Mikka.

14Abasajja abataano abaagenda okuketta ensi ya Layisi ne bagamba baganda baabwe nti, “Mumanyi nga mu nnyumba zino mulimu Efodi nʼebifaananyi ebyole nʼekifaananyi ekisaanuuse? Kale nno mukole kye mugwanira okukola.”

15Ne bakyama ne bagenda mu nnyumba yʼomuvubuka Omuleevi eyali ewa Mikka ne bamulamusa.

16Abasajja olukaaga nga balina ebyokulwanyisa byabwe ne bayimirira ku mulyango.

17Awo abasajja abataano abaagenda okuketta ne bayingira ne baggyamu ekifaananyi ekyole, ne Efodi, ne balubaale abaali mu nnyumba nʼekifaananyi ekisaanuuse, nga kabona nʼabasajja olukaaga nga balina ebyokulwanyisa byabwe bayimiridde ku mulyango.

18Abasajja bwe bayingira mu nnyumba ya Mikka okuggyamu ekifaananyi ekyole, ne Efodi, ne balubaale abaali mu nnyumba nʼekifaananyi ekisaanuuse, kabona nʼababuuza nti, “Mukola ki?”

19Ne bamuddamu nti, “Sirika tonyega. Jjangu naffe obeere kitaffe era kabona waffe. Kiki ekisinga, ggwe okuba kabona wʼennyumba yʼomuntu omu, oba okuba kabona wʼekika kya Isirayiri?”

20Kabona nʼasanyuka, nʼatwala Efodi ne balubaale abaali mu nnyumba nʼekifaananyi ekyole nʼagenda nabo.

21Ne babaako we bakyama ne balekayo abaana baabwe abato nʼebisolo byabwe nʼebintu byabwe. Ne bagenda mu maaso.

22Bwe batambulako akabanga okuva ku nnyumba ya Mikka, abasajja abaabeeranga mu nnyumba eziriraanye ennyumba ya Mikka ne bakuŋŋaana ne bawondera abaana ba Ddaani.

23Bwe baali babakoowoola, abaana ba Ddaani ne bakyuka ne batunuulira Mikka ne bamubuuza nti, “Mutukoowoolera ki?”

24Nʼabaddamu nti, “Mututte balubaale bange be neekolera, ne kabona. Kiki kye nsigazza? Muyinza mutya okumbuuza kye mbadde?”

25Abaana ba Ddaani ne bamuddamu nti, “Sitwagala kuwulira ddoboozi lyo, si kulwa ngʼabasajja abakambwe abali mu ffe bakulumba nʼofiirwa obulamu bwo nʼobwʼabo abʼomu nnyumba yo.”

26Awo abaana ba Ddaani ne beetambulira. Awo Mikka bwe yalaba nga bamuyinze amaanyi, nʼakyuka nʼaddayo ewuwe.

27Ne batwala ebintu Mikka bye yali akoze, ne kabona gwe yalina, ne batuuka e Layisi omwali abantu abakkakkamu abatamanyiridde, ne bakilumba ne batta abantu baamu nʼekitala, nʼekibuga ne bakikumako omuliro.

28Tewaaliwo eyajja okubataasa kubanga ne Sidoni kyali wala nʼekibuga ekyo, ate nga tebalina nkolagana na muntu yenna. Ekibuga kyali mu kiwonvu ekiriraanye Besulekobu.

28Abaddaani ne bazimba buto ekibuga ne babeera omwo.

29Ekibuga ne bakikyusa erinnya okuva ku Layisi lye kyayitibwanga olubereberye ne bakituuma Ddaani, ngʼerinnya lya Ddaani jjajjaabwe eyazaalibwa Isirayiri bwe lyali.

30Awo abaana ba Ddaani ne beeterawo ekifaananyi ekyole, ne balonda Yonasaani mutabani wa Gerusomu, muzzukulu wa Musa, ne batabani be okuba bakabona eri ekika kyʼAbadaani okutuusa ensi lwe yawambibwa.

31Ne bassaawo ebifaananyi ebyole Mikka bye yali yeekoledde, ebbanga lyonna ennyumba ya Katonda we yabeerera mu Siiro.

>