Ekyabalamuzi 19:1-30 LGCB2014 - Bible AI

1Awo mu biro ebyo tewaali kabaka mu Isirayiri. Ne wabaawo Omuleevi eyabeeranga mu kyalo mu nsi eyʼensozi eya Efulayimu eyawasa omukazi mu Besirekemu mu Yuda.

2Naye mukazi we oyo nʼataba mwesigwa nʼanoba ku bba, nʼaddayo mu nnyumba ya kitaawe e Besirekemu mu Yuda nʼamalayo emyezi ena.

3Bba nʼagolokoka nʼagenda nʼomuweereza we nʼendogoyi bbiri okwogera ne mukazi we amukomyewo. Omukazi nʼamutwala mu nnyumba ya kitaawe era kitaawe wʼomuwala bwe yamulaba nʼasanyuka era nʼamwaniriza.

4Awo mukoddomi we, kitaawe wʼomuwala nʼamuwaliriza asigaleyo ennaku ssatu. Ne balya ne banywa ne basula eyo.

5Awo ku lunaku olwokuna ne bagolokoka mu makya, Omuleevi ne yeeteekateeka okugenda. Kyokka kitaawe wʼomuwala nʼagamba mukoddomi we nti, “Mwesanyuse mumale okulya ku mmere, mulyoke mugende.”

6Ne batuula ne balya era ne banywa bonna wamu. Kitaawe wʼomuwala nʼagamba omusajja nti, “Kaakano kkiriza osule, omutima gwo gusanyukeko.”

7Omusajja bwe yagolokoka okugenda, mukoddomi we nʼamuwaliriza okusigala era nʼasula ekiro ekyo.

8Ku lunaku olwokutaano, bwe yagolokoka mu makya okugenda, kitaawe wʼomuwala nʼamugamba nti, “Weesanyuse kaakano. Ojjira weesanyusa okutuusa obudde lwe bunaawungeera.” Ne balya bonna wamu.

9Omusajja bwe yagolokoka okugenda ne mukazi we nʼomugole we, mukoddomi we kitaawe wʼomuwala nʼamugamba nti, “Laba, kaakano obudde buzibye. Sula obudde buyise. Sigala wano weesanyuse, onoogolokoka enkya nʼoddayo ewuwo.”

10Naye omusajja nʼatakkiriza. Nʼasitula nʼagenda ne mukazi we, nʼendogoyi ze zombi nga zeetisse, ku luuyi olwʼe Yebusi, ye Yerusaalemi.

11Bwe baali bali kumpi ne Yebusi, nʼobudde nga buyise, omuweereza nʼagamba mukama we nti, “Jjangu tukyame tuyingire mu kibuga kino ekyʼAbayebusi tusule omwo.”

12Mukama we nʼamuddamu nti, “Tetuukyame kuyingira mu kibuga kyʼabatali baana ba Isirayiri, ekyʼabannaggwanga. Tujja kweyongerayo tulage e Gibea.”

13Nʼagamba omuweereza we nti, “Tusemberere ekimu ku bifo ebyo, tusule e Gibea oba mu Laama.”

14Ne beeyongerayo. Enjuba nʼegwa nga basemberera Gibea ekya Benyamini.

15Ne bakyama eyo mu Gibea, gye baba basula. Ne balaga mu kifo ekigazi ekyʼekibuga ne batuula eyo, kyokka ne wataba muntu nʼomu eyajja okubatwala ewuwe.

16Era laba, ne wajja omusajja omukadde eyali ava ku mirimu gye egyʼomu nnimiro akawungeezi, ngʼasibuka mu nsi eyʼensozi eya Efulayimu, ngʼabeera mu Gibea. Abantu bʼe Gibea baayitibwanga Babenyamini.

17Nʼayimusa amaaso ge nʼalaba omusajja omutambuze, ngʼali mu kifo ekigazi ekyʼekibuga. Omusajja nʼamubuuza nti, “Ova wa era olaga wa?”

18Nʼamuddamu nti, “Nva mu Besirekemu mu Yuda, ndaga mu byalo ebyʼensi eyʼensozi eya Efulayimu gye mbeera. Nva mu Besirekemu mu Yuda, nzirayo mu nnyumba ya Mukama, naye tewali anyannirizza mu nnyumba ye.”

19Wabula nnina essubi nʼemmere eyʼendogoyi zange, ate naffe abaweereza bo tulina emmere ne wayini ebitumala nze, nʼomuweereza wo omukazi, nʼomuvubuka.

20Omusajja omukadde nʼabagamba nti, “Mbanirizza ewange mwenna. Temwetaaga kusula mu kifo ekigazi ekyʼe kibuga.”

21Awo nʼabatwala mu nnyumba ye, nʼaliisa endogoyi ze, ne banaaba ku bigere[21], ne balya, ne banywa.

22Awo bwe baali nga beesanyusaamu, laba, abasajja abʼomu kibuga ekyo, abaana abʼobutali butuukirivu ne bazingiza ennyumba nga bwe bakoona oluggi. Ne bagamba nannyini nnyumba, omusajja omukadde nga bwe bawowoggana nti, “Fulumya omusajja oyo ayingidde mu nnyumba yo, tumusiyage.”

23Nannyini nnyumba nʼafuluma, nʼabagamba nti, “Nedda mikwano gyange, temubeera bagwenyufu. Olwʼokuba ngʼomusajja ono azze mu nnyumba yange, temukola kintu kya buswavu bwe kityo.

24Mulaba muwala wange wuuno, mbeerera, ate nʼomukazi wʼomusajja naye nzija kubamuwa. Baabo mubakole kye mwagala. Naye omusajja ono temumukola kintu kya buswavu bwe kityo.”

25Naye abasajja ne bagaana okumuwuliriza. Omusajja kyeyava addira mukazi we, nʼamufulumya, ne bamukwata ne bamusobyako ekiro kyonna, ne bamuta agende ngʼemmambya esala.

26Omukazi nʼaddayo nʼatuuka obudde nga bukya, nʼagwa ku luggi lwʼennyumba, mukama we gye yali asuze, nʼabeera awo okutuusa obudde bwe bwakya.

27Mukama we bwe yagolokoka mu makya, nʼaggulawo enzigi zʼennyumba ye nʼafuluma agende ku lugendo lwe, laba, mukazi we ngʼagudde mu maaso gʼennyumba, ngʼemikono gye gikunukkiriza omulyango.

28Nʼagamba mukazi we nti, “Golokoka tugende.” Kyokka ne wataba kanyego. Omusajja nʼamuteeka ku ndogoyi, nʼagenda ewuwe.

29 Bwe yatuuka ewuwe, nʼaddira akambe, nʼakwata mukazi we, nʼamusalaasalamu ebifi kkumi na bibiri, nʼabiweereza mu buli kitundu ekya Isirayiri.

30Awo buli muntu eyabirabangako nʼagamba nti, “Ekikolwa ekiri nga kino tekikolebwanga so tekirabibwanga okuva ku lunaku abaana ba Isirayiri lwe baayambukirako okuva mu nsi yʼe Misiri nʼokutuusa leero. Mukirowoozeeko, mukifumiitirizeeko era tulabe ekyʼokukola.”

>