1Awo Malayika wa Mukama nʼava e Bokimu nʼajja e Girugaali, nʼagamba nti, “Nabaggya mu nsi yʼe Misiri ne mbaleeta mu nsi gye nalayira okuwa bajjajjammwe; ne ŋŋamba nti, Endagaano yange gye nalagaana nammwe sirigimenya emirembe gyonna;
2
3Kaakano kyenva ŋŋamba nti Siibafubutule mu maaso gammwe, naye banaaba balabe bammwe ne bakatonda baabwe banaaba nkonge gye muli.
4Malayika wa Mukama bwe yamala okugamba Abayisirayiri bonna ebigambo bino ne balyoka batema emiranga.
5Ekifo ekyo ne bakituuma erinnya Bokimu; ne baweera eyo Ssaddaaka eri Mukama.
6Awo Yoswa bwe yamala okulagira Abayisirayiri baabuke, buli omu ku bo nʼagenda okugabana ekitundu kye yasuubizibwa.
7Abayisirayiri ne baweerezanga Mukama mu kiseera kyonna ekya Yoswa era ne mu kiseera kyonna ekyʼabakulembeze abaawangaala okusinga Yoswa era abaalaba ebikolwa ebyʼamaanyi Mukama bye yakolera Abayisirayiri.
8Awo omuweereza wa Mukama Yoswa mutabani wa Nuuni nʼafa. We yafiira ngʼaweza emyaka kikumi mu kkumi.
9Ne bamuziika e Timunasukeresi
10Awo abʼomulembe gwa Yoswa bonna bwe baafa ne baggwaawo ne waddawo omulembe gwʼabataamanya Mukama yadde ebikolwa ebyʼamaanyi bye yakolera Abayisirayiri.
11Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama era ne basinza Babayaali.
12Ne banyiiza Mukama kubanga baagoberera era ne basinza bakatonda abalala abamawanga agaali gabeetoolodde ne beerabira Mukama Katonda wa bajjajjaabwe eyabaggya mu nsi ye Misiri.
13Ne bava ku Mukama ne basinza ba Baali ne Asutoleesi.
14Mukama nʼasunguwalira nnyo Abayisirayiri: Kyeyava abawaayo mu mikono gyʼabanyazi ne babanyanga era ne batasobola na kwerwanako okuva mu mikono gyʼabalabe baabwe ababeetoolodde kubanga Mukama yali amaze okubawaayo.
15Buli gye baatabaalanga ne bawangulwa kubanga Mukama yabavaako olwʼekibi kyabwe nga bwe yabalayirira; ne bawotookerera nnyo.
16Mukama nʼabawa abakulembeze abaabalwaniriranga ne babawonya abanyazi.
17Naye tebaawuliriza bakulembeze baabwe ne bagoberera era ne basinza bakatonda abalala. Tebaakola nga bajjajjaabwe abaagobereranga nʼokuwuliranga ebiragiro bya Mukama.
18Buli Mukama lwe yabawanga omukulembeze yamuyambanga era nʼanunulanga Abayisirayiri okuva mu mikono gyʼabalabe baabwe ekiseera ekyʼomukulembeze oyo. Olwʼokusindanga nʼokweraliikirizibwa abalabe baabwe abaabajooganga, Mukama kyeyava abakwatirwa ekisa.
19Naye omukulembeze olwafanga ne baddamu okweyisanga obubi okukira ne bajjajjaabwe, ne bagobereranga ne baweerezanga era nʼokuvuunamiranga bakatonda abalala ne banywerera ku mpisa zaabwe embi olwʼemputtu yaabwe.
20Mukama nʼasunguwalira nnyo Abayisirayiri nʼagamba nti, “Olwʼokuba nga abantu bano bamenye endagaano gye nalagaana ne bajjajjaabwe, so tebagondedde ddoboozi lyange,
21Siifubutule mu maaso gaabwe wadde eggwanga nʼerimu ku ago Yoswa ge yafa bawangudde.
22Wabula nzija kukozesa amawanga gano okugezesa Abayisirayiri okulaba obanga banaafaayo okunywerera mu kkubo lya Mukama nga bajjajjaabwe bwe baakola, oba nedda.”
23Bwʼatyo Mukama nʼaleka amawanga gali mu nsi eyo, nʼatagawaayo mu mikono gya Yoswa yadde okugafubutula mu nsi eyo nga Yoswa yaakafa.