1Waliwo amawanga Mukama gaatazikiriza asobole okuyigiririzaako Abayisirayiri bonna abataamanya ntalo zonna ezʼomu Kanani;
2Kino kiyaambe Abayisirayiri abʼomulembe omuggya abatalwanangako okukuguka mu byʼentalo.
3Ge gano: Abakungu abataano abʼAbafirisuuti, Abakanani bonna, Abasidoni, nʼAbakiivi abaabeeranga ku lusozi Lebanooni, okuva ku lusozi Baalukerumoni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi.
4Era gaalekebwawo okugezesa Abayisirayiri obanga baligondera amateeka ga Mukama ge yalagira bajjajjaabwe ngʼayita mu Musa.
5Abayisirayiri ne babeeranga wamu nʼAbakanani, Abakiiti, Abamoli, Abakiivi nʼaba Yebusi.
6Ne bawasanga abawala abʼomu mawanga ago era ne bafumbizanga bawala baabwe eri abalenzi bʼomu mawanga ago ne basinzanga ne bakatonda baabwe.
7Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama, ne beerabira Mukama Katonda waabwe ne basinzanga Babaali ne Baasera.
8Noolwekyo Mukama nʼasunguwalira nnyo Abayisirayiri, kyeyava abawaayo okuwangulwa nʼokufugibwa kabaka Kusanurisasaimu owʼe Mesopotamiya okumala emyaka munaana.
9Naye Abayisirayiri bwe baalaajanira Mukama, kyeyava abawa omulwanyi omuzira okubanunula erinnya lye Osunieri azaalibwa Kenezi muto wa Kalebu.
10Osunieri nʼajjula Omwoyo wa Mukama nʼakulembera Abayisirayiri, nʼalumba Kusanurisaseyimu kabaka wʼe Mesopotamiya era nʼamuwangula kubanga Mukama yamuwaayo mu mikono gya Osunieri.
11Awo ne wayitawo emyaka ana ngʼAbayisirayiri bali mu mirembe okutuusa ddala Osunieri mutabani wa Kenazi lwe yafa.
12Ate era Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama; kyeyava awa Eguloni kabaka wa Mowaabu amaanyi okubawangula olwʼebibi byabwe.
13Ne yegatta nʼAbamoni nʼAbamaleki
14Abayisirayiri ne bafugibwa Egulooni kabaka wa Mowaabu emyaka kkumi na munaana.
15Naye Abayisirayiri bwe baalaajanira Mukama, kyeyava abawa omulwanyi omuzira okubanunula ayitibwa Ekudi owʼenkonokono mutabani wa Gera owʼomu kika kya Benyamini; era oyo Abayisirayiri gwe baatuma okutwala ekirabo kyabwe eri Egulooni kabaka wa Mowaabu.
16Ekudi ne yeewesezza ekitala ekirina obwogi erudda nʼerudda nga kiweza sentimita ana mu ttaano obuwanvu. Nʼakyesiba ku kisambi kye ekya ddyo munda mu ngoye ze.
17Nʼatwalira Egulooni kabaka wa Mowaabu ekirabo. Egulooni yali musajja munene nnyo.
18Awo bwe yamala okuwaayo ekirabo, nʼagobawo abajja bakyetisse.
19Ekudi nʼakoma awaali amayinja amoole kumpi ne Girugaali nʼaddayo eri Egulooni nʼamugamba nti nnina obubaka obwʼekyama gyʼoli. Kabaka nʼagobawo bonna be yali nabo era ne bamuviira.
20Awo kabaka bwe yali nga atudde bwʼomu mu nnyumba ye, mu kisenge ekya waggulu ekiweweevu, Ekudi nʼamusemberera era nʼamugamba nti “Nnina obubaka obuva eri Katonda gyʼoli.” Kabaka nʼasituka mu ntebe ye.
21Ekudi nʼasowolayo ekitala kye nʼomukono ogwa kkono ngʼakiggya ku kisambi kye ekya ddyo nʼakisogga kabaka mu lubuto;
22ekitala kyonna nʼekiti kyakyo ne kimubuliramu, amasavu ne gakibuutikira era nʼatayinza na kukisowolamu. Ebyenda bya kabaka ne biyiika.
23Ekudi nʼasibawo oluggi oluyingira mu kisenge ekya waggulu, nʼafulumira mu mulyango ogwʼemanju.
24Bwe yali nga yakafuluma abaweereza ba kabaka ne bajja. Bwe baalaba nga enzigi nsibe ne balowooza nti kabaka awummuddeko.
25Bwe baakoowa okulindirira ne baddira ekisumuluzo ne basumululawo, baagenda okulaba ngʼomulambo gwa mukama waabwe gugudde bugazi mu kisenge.
26Mu kiseera kye baamala ngabalindirira kabaka okuggulawo Ekudi mwe yaddukira nʼayita ku mayinja amoole nʼatuuka e Seyiri.
27Bwe yatuuka mu kitundu ekyʼensozi ekya Efulayimu nʼakiyitamu nga bwʼafuuwa ekkondeere, Abayisirayiri ne bamwegattako ye nga abakulembeddemu.
28Nʼabagamba nti mungoberere kubanga Mukama abawadde obuwanguzi ku balabe bammwe Abamowaabu. Ne bamugoberera ne bawamba ekifo awasomokerwa ekyali kyolekedde aba Mowaabu ku mugga Yoludaani; Abayisirayiri ne bataganya muntu yenna kusomoka.
29Ne batta ku basajja abalwanyi abazira aba Mowaabu mutwalo mulamba; teri nʼomu ku bo yasimattuka.
30Bwe batyo Abayisirayiri ne bajeemulula Abamowaabu ku lunaku olwo. Okuva ku olwo ensi nʼebaamu emirembe okumala emyaka kinaana.
31Omukulembeze eyaddira Ekudi mu bigere ye Samugali mutabani wa Anasi era naye yanunula Abayisirayiri. Ye wuuyo eyatta abasajja Abafirisuuti lukaaga nga yeeyambisa omuwunda gwe bagobesa ente nga zirima.