1Ekudi bwe yamala okufa Abayisirayiri ne bakola nate ebibi eri Mukama.
2Mukama nʼabawaayo mu mikono gya Yabini Kabaka wa Kanani, eyabeeranga e Kazoli; omuduumizi wʼeggye lye nga ye Sisera eyabeeranga e Kalosesi ekyʼabamawanga.
3Yabini yalina amagaali agʼekyuma lwenda, era nʼajoogera Abayisirayiri emyaka amakumi abiri, kyebaava balaajaanira Mukama abayambe.
4Awo Nnabbi Debola mukazi wa Leppidosi ye yali akulembera Abayisirayiri mu kiseera ekyo.
5Era bulijjo yatuulanga wansi wʼolukindu olwayitibwanga olwa Debola wakati wʼe Lama ne Beseri mu kitundu kya Efulayimu ekyʼensozi: Abayisirayiri ne bajjanga gyali okubalamula.
6Nʼatumya Baraki mutabani wa Abinoamu ave mu Kedesi ekitundu kya Nafutaali, nʼamugamba nti “Mukama Katonda wʼAbayisirayiri akulagidde nti, ‘Ggenda okuŋŋaanyize abasajja bo ku lusozi Taboli, obalondemu omutwalo gumu okuva mu kika ekya Nafutaali nʼekya Zebbulooni.
7Ndisindika gyʼoli ku mugga Kisoni, Sisera omuduumizi wʼeggye lya Yabini, nʼamagaali ge nʼabalwanyi be era ndibawaayo mu mikono gyo.’ ”
8Baraki nʼamuddamu nti, “Kale nnaagenda bwʼonokkiriza ŋŋende naawe, naye bwʼotokkirize nange siigende.”
9Debola nʼamugamba nti, “Wewaawo nnaagenda naawe, naye ekitiibwa nʼobuwanguzi tebiibe bibyo, kubanga Mukama aliwaayo Sisera awangulwe mu mikono gyʼomukazi.” Baraki nʼaddayo ne Debola e Kedesi.
10Baraki nʼayita abʼekika kya Zebbulooni nʼekya Nafutaali bakuŋŋaanire e Kedesi, abasajja omutwalo gumu ne bamugoberera awamu ne Debola.
11Keberi Omukeeni
12Awo Sisera bwe yamanya nga Baraki mutabani wa Abinoamu atuuse ku Lusozi Taboli,
13nʼakuŋŋaanya amagaali ge gonna lwenda agʼekyuma, nʼabalwanyi be bonna okuva ku Kalosesi ekyʼabamawanga okutuuka ku mugga Kisoni.
14Debola nʼagamba Baraki nti, “Mukama si yʼakukulembedde! Noolwekyo situkiramu kubanga olwa leero Mukama awaddeyo Sisera mu mikono gyo.” Awo Baraki nʼava ku lusozi Taboli nʼabalwanyi be omutwalo gumu.
15Mukama nʼafufuggaza nʼekitala Sisera nʼamagaali gonna nʼeggye lye lyonna nga Baraki alaba; Sisera nʼabuuka mu ggaali lye, nʼadduka.
16Baraki nʼafubutula eggye lya Sisera nʼamagaali gaalyo okutuuka e Keloseesi ekyʼamawanga; era nʼabatta nʼekitala obutalekaawo yadde nʼomu.
17Naye Sisera nʼaddukira eri eweema ya Yayeeri mukazi wʼOmukeeni Keberi: Kubanga waaliwo enkolagana wakati wa kabaka wʼe Kazoli, Yabini nʼabʼomu maka gʼOmukeeni Keberi.
18Yayeeri nʼafuluma okusisinkana Sisera; nʼamugamba nti Mukama wange yingira mu weema yange, totya. Sisera nʼayingira mu weema. Yayeeri nʼamubikkako omunagiro.
19Namwegayirira nti “Mpa kutuzzi nnyweko kubanga ennyonta enzita.” Nʼasumulula eddiba omufukibwa amata nʼamunywesa oluvannyuma nʼamubikkako.
20Sisera nʼagamba Yayeeri nti yimirira mu mulyango gwa weema eno, omuntu yenna bwʼajja nʼakubuuza obanga muno mulimu omusajja yenna, omuddamu nti temuli.
21Awo Sisera bwe yali nga ali mu tulo tungi, Yayeeri mukazi wa Keberi nʼaddira enkondo ya weema nʼennyondo nʼamusooberera nʼamukomerera enkondo mu kyenyi, nʼeyitamu nʼekwata nʼettaka nʼafa.
22Awo Baraki bwe yali nga anoonya Sisera, Yayeeri nʼafuluma okumusisinkana, nʼamugamba nti, “Jjangu nkulage omusajja gwʼonoonya. Baraki nʼayingira mu weema nʼalaba omulambo ggwa Sisera nga gukubiddwamu enkondo mu kyenyi.”
23Ku lunaku olwo Katonda nʼawa Abayisirayiri obuwanguzi ku Yabini kabaka wa Kanani.
24Abayisirayiri ne beeyongera okufufuggaza Yabini kabaka wa Kanani okutuusa lwe bamuzikiririzza ddala.