4Mukama, bwe wava e Seyiri,bwe wava mu kitundu kya Edomu okutabaala,ensi nʼekankana, enkuba nʼeyiika okuva mu ggulu.Weewaawo, ebire ne bifukumuka amazzi.
5Ensozi ne zikankana awali Mukama, Oyo owa Sinaayi,ne lukankana mu maaso Mukama Katonda wʼAbayisirayiri.
5
6Ku mulembe gwa Samugali, mutabani wa Anasi,ne ku mulembe gwa Yayeeri abatambuze tebaayitanga, mu nguudo nnene,baatambuliranga mu mpenda.
7Abakulembeze mu Isirayiri baggwaawookutuusa nze Debola lwe nayimuka,nga nnyina wa bonna mu Isirayiri.
8Bwe beefunira bakatonda abalala,entalo ne ziryoka zibalukawo mu Isirayiri.Ku basajja Abayisirayiri emitwalo enakwaliko nʼomu eyalina effumu oba engabo?
9Omutima gwange guli eri abakulembeze bʼAbayisirayiri,nʼeri abantu abeewaayo nga baagala.Mutendereze Mukama.
9
10Mukyogereko mmwe,abeebagala ku ndogoyi enjeru,mmwe abatuula ku biwempe ebirungi ennyo,nammwe abatambulira mu kkubo.
11Wulira oluyimba lwʼabantu ku luzzi,nga batendereza obuwanguzi era nʼebikolwa bya Mukama ebyʼobutuukirivu,ebikolwa bye ebyʼobutuukirivu nga akulembera Abayisirayiri.
11Awo abantu ba Mukama ne baserengeta, ne bagenda ku miryango gyʼebibuga byabwe.
12Zuukuka, zuukuka Debolazuukuka, zuukuka, okulembere oluyimba;golokoka, Baraki okulembereabawambe bo nga basibiddwa, ggwe mutabani wa Abinoamu.
12
13Awo abakungu abaasigalawone baserengeta,abantu ba Mukama,ne baserengeta okulwanyisa owʼamaanyi.
14Awo abaava mu kitundu kya Efulayimu ne baserengeta mu kiwonvu,nga bakugoberera ggwe, Benyamini, nʼabʼekika kyo.Mu Makiri ne wavaayo abakulembeze, ne baserengeta,ne mu kitundu kya Zebbulooni ne wavaayo abaduumizi.
15Abalangira ba Isakaali baali wamu ne Debola;era Isakaali yali wamu ne Baraki.Ne bafubutuka okumugoberera mu kiwonvu.Olwʼenjawukana ezaali mu kika kya Lewubeeni,waaliwo okusooka okufumiitiriza ennyo mu mitima gyabwe.
16Kiki ekyakusigaza mu bisibo byo ebyʼendiga,okuwuliriza endere zebafuuyira endiga?Olwʼenjawukana ezaali mu kika kya Lewubeeni,waaliwo okusooka okufumiitiriza ennyo mu mitima gyabwe.
17Abʼekika kya Gireyaadi baasigala mitala wa Yoludaani.Nʼabʼekika kya Ddaani ekyabasigaza mu byombo kiki?Abʼekika kya Aseri; baasigala ku lubalama lwʼennyanja,ne babeera awali emyalo gyabwe.
22Awo embalaasi ne zijja nga zirigitaera nga bwe zisambirira ettaka, ensolo zaabwe ezo ezʼamaanyi.
23Malayika wa Mukama nʼagamba nti, “Mukolimire Merozi[5].Mukolimire nnyo ababeera e Merozi;kubanga tebeetaba mu lutalo lwa Mukama.Tebaalwetabaamu nga Mukama Katonda alwanyisa abʼamaanyi.”
23
24Nga wa mukisa Yayeeri okusinga abakazi bonna!Nga wa mukisa Yayeeri mukazi wʼOmukeeni Keberi,okusinga abakazi bonna ababeera mu weema!
25Bwe yasaba amazzi, yamuwa mata,era nʼamuleetera nʼomuzigo mu bbawulo eyʼekikungu.
26Yakwata enkondo ya weema mu mukono gwe ogwa kkono,nʼennyondo mu gwa ddyo,nʼakomerera Sisera enkondomu kyenyi nʼeyita namu.
27Amaanyi gaamuggwa nʼagwa;yagwa ku bigere bya Yayeerinʼalambaalawe yagwa we yafiira.
28Nnyina wa Sisera yalingiriza mu ddirisa;yayisa amaaso mu ddirisa, nʼaleekaanira waggulu nti“Kiki ekirwisizza eggaali lye okujja?Okuguluba kwʼeggaali lye nga sikuwulira?”
29Abazaana be abagezi baba tebanamuddamune yeddamu yekka.
30Tebazudde omunyago era tebali mu kugugabana,omuwala omu oba babiri buli musajja?Sisera tufunye omunyago ogwʼengoye enduke ezʼamabala?Eminagiro ebiri emiruke, egyʼamabala tegiibe gyange?
30
31Ayi Mukama Katonda abalabe bo bazikirirenga bwe batyo nga Sisera.Naye abo bonna abakwagala bamasemasenga ngʼenjubaeyʼakavaayo mu maanyi gaayo.
31Awo ne wayitawo emyaka ana nga Abayisirayiri bali mu mirembe.